bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Kings 25
2 Kings 25
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
1
Ku lunaku olw'ekkumi mu mwezi ogw'ekkumi mu mwaka ogw'omwenda bukya Zeddeekiya afuuka kabaka, Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya n'ajja n'eggye lye lyonna okulumba Yerusaalemu, n'asiisira okukyetooloola, ne bakizimbako ekigo enjuyi zonna,
2
ne kizingizibwa okutuusa mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu bukya Zeddeekiya afuuka kabaka.
3
Ku lunaku olw'omwenda olw'omwezi ogwokuna, enjala n'enyiikira mu kibuga, abantu nga tebakyalina kye balya.
4
Ne bakuba ekituli mu kigo ky'ekibuga. Abasajja bonna abaserikale ne babomba ekiro, newaakubadde ng'Abakaludaaya baali bazingizizza ekibuga enjuyi zonna. Ne bakwata ekkubo eriyita ku nnimiro ya kabaka, ne bayita mu mulyango ogugatta ebisenge ebibiri, Kabaka n'agenda nabo ng'ayolekedde Ekiwonvu kya Yorudaani.
5
Naye ab'eggye ly'Abakaludaaya ne bawondera Kabaka Zeddeekiya, ne bamutuukako mu nsenyi z'e Yeriko, eggye lye lyonna ne lisaasaana, ne limwabulira.
6
Ne bamuwamba ne bamutwala eri kabaka wa Babilooniya e Ribula, ne bamusalira omusango okumusinga.
7
Ne batta batabani ba Zeddeekiya mu maaso ge ng'alaba. Ne bamuggyamu amaaso, ne bamusiba mu njegere, ne bamutwala e Babilooni.
8
Ku lunaku olw'omusanvu olw'omwezi ogw'omwenda mu mwaka ogw'ekkumi n'omwenda bukya Nebukadunezzari afuuka kabaka wa Babilooniya, Nebuzaradaani, omukungu omukulu w'abakuumi ba Kabaka wa Babilooniya, n'ajja e Yerusaalemu.
9
N'ayokya Essinzizo, n'olubiri lwa Kabaka, n'ebizimbe byonna ebinene eby'omu Yerusaalemu.
10
N'eggye lye ery'Abakaludaaya ne limenyaamenya ekigo kya Yerusaalemu enjuyi zonna.
11
Abantu abaali basigaddewo mu kibuga, n'abo abaali beewaddeyo ne badda ku ludda lwa kabaka wa Babilooniya awamu n'abalala bonna, Nebuzaradaani omukulu w'abakuumi ba kabaka n'abatwala e Babilooni nga basibe.
12
Kyokka n'aleka mu Buyudaaya abaavu lunkupe, okulimanga n'okulabiriranga ennimiro z'emizabbibu.
13
Abakaludaaya ne bamenyaamenya n'empagi ez'ebikomo ezaali mu Ssinzizo, n'ebikondo ebiriko nnamuziga, n'ogutanka ogunene, eby'ekikomo, ne balyoka batwala ekikomo kyabyo e Babilooni.
14
Ne batwala n'ekitamu, n'ebiyoola evvu, ne makansi ezisalako ebisiriiza ku ttaala, n'ebijiiko n'ebintu ebirala byonna eby'ekikomo ebyakozesebwanga mu kuweereza mu Ssinzizo.
15
Na buli kintu ekyakolebwa mu zaabu oba mu ffeeza, omuli n'ebyoterezo n'ebbakuli, Nebuzaradaani n'akitwala.
16
Empagi zombi, ogutanka ogunene, n'ebikondo ebiriko nnamuziga, Solomooni bye yakolera Essinzizo lya Mukama, obuzito bw'ekikomo kyabyo tebwapimibwa.
17
Empagi emu yali ya mita munaana obugulumivu, ng'eriko omutwe ogw'ekikomo, obugulumivu bwagwo, mita emu n'obutundu busatu. Era yaliko ebifaananyi by'emikuufu n'eby'amakomamawanga, nga biri ku mutwe okwetooloola, nga byonna byakikomo. N'empagi eyookubiri nayo yali ekoleddwa mu ngeri ye emu.
18
Nebuzaradaani era n'akwata Seraya Ssaabakabona, ne Zefaniya kabona amuddirira, n'abaggazi b'Essinzizo abasatu.
19
Ne mu kibuga, n'aggyamu omukungu eyali akulira ab'amagye, n'abasajja bataano ku abo abaatuukiriranga kabaka okumuwa amagezi abaali bakyali mu kibuga, n'omuwandiisi omukulu, eyawandiikanga abaserikale mu ggye mu ggwanga, n'abasajja nkaaga ku bantu abatutumufu mu ggwanga, abaali bakyali mu kibuga.
20
Nebuzaradaani n'abatwala eri kabaka wa Babilooniya, e Ribula,
21
mu nsi y'e Hamati. Kabaka oyo n'abakuba n'abattira eyo. Bwe batyo Abayudaaya bwe baggyibwa mu nsi yaabwe nga basibe, ne bawaŋŋangusibwa.
22
Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya n'ateekawo Gedaliya, mutabani wa Ahikaamu, era muzzukulu wa Safani, okuba omufuzi w'abantu abaasigala mu Buyudaaya, kabaka oyo be yalekamu.
23
Abakulu bonna mu magye ga Buyudaaya ne basajja baabwe abaali bateewaddeeyo, bwe baawulira nga kabaka wa Babilooniya awadde Gedaliya obufuzi, ne bajja eri Gedaliya oyo e Mizupa. Abajja be bano: Yisimayeli mutabani wa Netaniya, ne Yohanaani, mutabani wa Kareya, ne Seraya, mutabani wa Tanuhumeti, ow'e Netofa, ne Yaazaniya mutabani w'omusajja ow'e Maaka.
24
Gedaliya n'abalayirira, bo ne basajja baabwe, n'abagamba nti: “Temutya bakungu Abakaludaaya. Musigale mu nsi eno, muweereze kabaka wa Babilooniya, mujja kuba bulungi.”
25
Kyokka mu mwezi ogw'omusanvu Yisimayeli mutabani wa Netaniya era muzzukulu wa Elisaama ow'olulyo olulangira n'ajja wamu n'abasajja kkumi e Mizupa, ne batta Gedaliya. Ne batta n'Abayudaaya n'Abakaludaaya abaali naye eyo.
26
Awo abantu bonna, abato n'abakulu, n'abakulu mu magye ne beesitula ne baddukira e Misiri, nga batidde Abakaludaaya.
27
Evilumerodaaki mu mwaka mwe yafuukira kabaka wa Babilooniya, n'akwatirwa Kabaka Yehoyakiini owa Buyudaaya ekisa, n'amuggya mu kkomera, ku lunaku olw'amakumi abiri mu omusanvu, olw'omwezi ogw'ekkumi n'ebiri, mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omusanvu, okuva Yehoyakiini kabaka wa Buyudaaya lwe yasibibwa.
28
Evilumerodaaki n'amuyisa bulungi, n'amusukkulumya ku bakabaka abalala abaali naye mu buwaŋŋanguse mu Babilooni.
29
Yehoyakiini n'aggyibwa mu byambalo by'ekkomera, era okuva olwo n'aliiranga ku lujjuliro lwa Kabaka obulamu bwe bwonna.
30
Kabaka n'alagira bamuwenga omugabo ogwa buli lunaku, ebbanga lyonna lye yamala nga mulamu.
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25