bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Kings 16
2 Kings 16
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 17 →
1
Mu mwaka ogw'ekkumi n'omusanvu nga Peka mutabani wa Remaaliya ye kabaka wa Yisirayeli, Ahazi mutabani wa Yotamu, n'afuuka kabaka wa Buyudaaya
2
nga wa myaka amakumi abiri, n'afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemu. N'atakola birungi ebisanyusa Mukama, Katonda we, nga jjajjaawe Dawudi bwe yakolanga.
3
Kyokka n'agoberera empisa embi eza bassekabaka ba Yisirayeli, era n'ayokya ne mutabani we mu muliro ng'ekitambiro, nga bwe yali empisa eyenyinyalwa ab'amawanga amalala, Mukama be yagoba mu nsi eyo ng'Abayisirayeli banaatera okutuuka.
4
N'awangayo ebitambiro, era n'anyookerezanga obubaane mu bifo ebigulumivu bye baasinzizangamu, ne ku nsozi, ne wansi wa buli muti ogw'amakoola.
5
Awo Rezini kabaka wa Siriya, ne Peka mutabani wa Remaaliya era kabaka wa Yisirayeli, ne bajja okulumba Yerusaalemu. Ne bazingiza Ahazi, kyokka ne batayinza kuwangula.
6
Mu kiseera ekyo Rezini kabaka wa Siriya mwe yawangulira Elati, ne kiba kya Siriya, n'akigobamu Abayudaaya abaakirimu, Abassiriya ne babeera mu Elati n'okutuusa kati.
7
Awo Ahazi n'atumira Tigulati Pileseri kabaka wa Assiriya ababaka ng'agamba nti: “Nze ndi muweereza wo era mwana wo. Jjangu omponye kabaka wa Siriya ne kabaka wa Yisirayeli abannumbye.”
8
Awo Ahazi n'aggyayo ffeeza ne zaabu eyasangibwawo mu Ssinzizo ne mu ggwanika ly'olubiri lwa kabaka, n'amuweereza kabaka wa Assiriya, nga kye kirabo ky'amuwadde.
9
Kabaka wa Assiriya n'akkiriza, n'alumba Ekibuga Damasiko, n'akiwamba, n'atta Kabaka Rezini, n'atwala abaayo e Kiri nga basibe.
10
Awo kabaka Ahazi n'agenda e Damasiko okusisinkana Tigulati Peleseri kabaka wa Assiriya. Ahazi n'alaba alutaari eyali e Damasiko, n'aweereza Wuriya kabona ekifaananyi ky'alutaari eyo, ekiraga engeri yonna gye yakolebwamu.
11
Wuriya kabona n'azimba alutaari ng'agoberera ebyo byonna Kabaka Ahazi bye yamuweereza ng'asinziira e Damasiko. Bw'atyo bwe yagikola, n'agimaliriza nga Kabaka Ahazi tannakomawo okuva e Damasiko.
12
Kabaka bwe yakomawo ng'ava e Damasiko, n'alaba alutaari eyo, n'agisemberera, n'aweerayo ku yo ekitambiro.
13
N'ayokerako ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba, n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, n'ayiwako ekiweebwayo eky'ebyokunywa, n'amansirako omusaayi gw'ekiweebwayo olw'okutabagana.
14
Alutaari ey'ekikomo eyali ewongeddwa Mukama yali wakati w'alutaari empya n'ennyumba eyoomunda mu Ssinzizo. Ahazi n'agiggyawo, n'agiteeka ku ludda olw'ebukiikakkono obw'alutaari empya.
15
Awo Kabaka Ahazi n'alagira Wuriya Kabona nti: “Ku alutaari eno ennene kw'obanga oyokera ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekya buli kawungeezi, n'ebiweebwayo ebyokebwa nga kiramba, n'ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke ebya kabaka n'eby'abantu bonna mu ggwanga, n'ebiweebwayo byabwe eby'ebyokunywa. Era kw'onoomansiranga omusaayi gw'ensolo zonna ezitambiddwa. Naye alutaari ey'ekikomo eneebanga yange ya kwebuulizaako eri Mukama.”
16
Wuriya kabona n'akola byonna nga Kabaka Ahazi bwe yamulagira.
17
Kabaka Ahazi n'asalako emigo ku bikondo ebyali bikozesebwa mu Ssinzizo, n'aggyamu ebbenseni ezaali ku byo. Era n'aggya ogutanka ogw'ekikomo ku bifaananyi by'ente ekkumi n'ebbiri eby'ekikomo n'aguteeka ku musingi ogw'amayinja amaaliire.
18
Olukuubo olusereke olw'okuyitamu ku Sabbaato olwali luzimbiddwa munda w'olubiri, n'omulyango Kabaka gwe yayingirirangamu mu Ssinzizo, n'abiziba okusanyusa kabaka wa Assiriya.
19
N'ebirala byonna Ahazi bye yakola, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya.
20
Ahazi n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu masiro gaabwe mu Kibuga kya Dawudi, mutabani we Heezeekiya n'amusikira ku bwakabaka.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25