bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Kings 3
2 Kings 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 4 →
1
Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana nga Yehosafaati ye kabaka wa Buyudaaya, Yehoraamu mutabani wa Ahabu n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira mu Samariya emyaka kkumi n'ebiri.
2
N'akola ebibi n'anyiiza Mukama, wabula teyali mubi kwenkana kitaawe, wadde okwenkana Yezebeeli nnyina, kubanga yamenyawo empagi ya lubaale Baali, kitaawe gye yakola.
3
Kyokka, ne Yehoraamu, okufaanana nga Yerobowaamu, mutabani wa Nebaati, n'akola ebibi ebyaleetera Yisirayeli okwonoona, era n'atabivaamu.
4
Meesa kabaka wa Mowaabu yali mulunzi wa ndiga. Buli mwaka yawangayo eri kabaka wa Yisirayeli omusolo gwa ndiga ento emitwalo kkumi, n'ebyoya by'endiga ebyavanga ku ndiga ennume emitwalo kkumi.
5
Kyokka Kabaka Ahabu, kabaka wa Yisirayeli, bwe yakisa omukono, Meesa kabaka wa Mowaabu n'ajeemera kabaka wa Yisirayeli.
6
Kabaka Yehoraamu n'ava mu Samariya, n'akuŋŋaanya eggye lye mu Yisirayeli yonna.
7
N'atumira Yehosafaati kabaka wa Buyudaaya n'agamba nti: “Kabaka wa Mowaabu anjeemedde. Ononneegattako mu lutalo okumulwanyisa?” Kabaka Yehosafaati n'addamu nti: “Weewaawo, nja kukwegattako. Nze naawe ffe bamu, abantu bange be bamu n'ababo, era n'embalaasi zange ze zimu n'ezizo.”
8
N'ababuuza nti: “Tunaakwata kkubo ki okulumba?” Yehoraamu n'addamu nti: “Kkubo ery'omu ddungu lya Edomu.”
9
Awo kabaka wa Yisirayeli n'agenda wamu ne kabaka wa Buyudaaya, ne kabaka wa Edomu. Ne batambula olugendo lwa nnaku musanvu nga bagenda beetooloola. Ne wataba mazzi ga kuwa ggye wadde ensolo ze baali nazo.
10
Kabaka wa Yisirayeli n'agamba nti: “Zitusanze! Mukama atukuŋŋaanyizza ffe bakabaka abasatu okutugabula mu mikono gya Mowaabu.”
11
Yehosafaati kabaka wa Buyudaaya n'abuuza nti: “Tewali wano mulanzi wa Mukama gwe tuyinza kuyitamu okwebuuza ku Mukama?” Omu ku bakungu ba kabaka wa Yisirayeli n'addamu nti: “Elisa mutabani wa Saafati eyali omuweereza wa Eliya, w'ali wano.”
12
Kabaka Yehosafaati n'agamba nti: “Katonda ayogera ng'ayita mu oyo.” Awo Kabaka owa Yisirayeli, ne Yehosafaati kabaka wa Buyudaaya, ne kabaka wa Edomu ne bagenda eri Elisa.
13
Elisa n'agamba kabaka wa Yisirayeli nti: “Nnina nkolagana ki naawe? Genda mu balaguzi ba kitaawo, ne mu balaguzi ba nnyoko.” Kyokka kabaka wa Yisirayeli n'addamu nti: “Nedda, sijja kugenda eyo, kubanga Mukama ye ayise bakabaka bano abasatu okubawaayo mu mikono gya Mowaabu.”
14
Elisa n'agamba nti: “Mu mazima ga Katonda Nnannyinimagye era omulamu, gwe mpeereza, ddala singa si kafansonyi ke nkwatirwa Yehosafaati, kabaka wa Buyudaaya, sandikufuddeko, era sandikulabye.
15
Naye kaakano, ndeetera omukubi w'ennanga.” Omukubi w'ennanga bwe yakuba, amaanyi ga Mukama ne gajja ku Elisa.
16
N'agamba nti: “Mukama agamba nti: ‘Ekiwonvu ekikalu nja kukijjuza enzizi z'amazzi.’ ”
17
Mukama ayongera n'agamba nti: “Temujja kulaba ku mbuyaga, era temujja kulaba ku nkuba. Naye ekiwonvu ekyo kinajjula amazzi, munywe mmwe n'ensolo zammwe.
18
Ate nno ekyo kitono nnyo mu maaso ga Mukama. Era ajja kuwaayo Abamowaabu mu mikono gyammwe.
19
Mujja kumenya buli kibuga ekiriko ekigo ekigumu, na buli kibuga ekirabika obulungi, ne mutema buli muti omulungi, ne muziba enzizi zonna ez'amazzi, era ne mujjuza amayinja mu buli musiri omulungi mugwonoone.”
20
Enkeera, mu kiseera eky'okuwaayo ekitambiro, baalabira awo ng'amazzi gajja nga gava ku ludda lwa Edomu, amazzi ne gajjula mu kitundu ekyo kyonna.
21
Abamowaabu bonna bwe baawulira nga bakabaka abasatu bazze okubalwanyisa, ne bakuŋŋaanya bonna abakulu n'abato abaali bayinza okubagalira ebyokulwanyisa, ne baleetebwa ku nsalo.
22
Abamowaabu bwe baagolokoka enkeera mu makya, enjuba n'eyaka ku mazzi agaboolekedde, ne balaba nga gamyuse ng'omusaayi.
23
Ne bagamba nti: “Guno musaayi! Mazima bakabaka baalwanaganye, abantu baabwe bonna ne battiŋŋana. Abange Abamowaabu, mugire tugende ku munyago!”
24
Naye bwe baatuuka ku lusiisira lwa Yisirayeli, Abayisirayeli ne basituka ne bakuba Abamowaabu ne babatwala misinde. Abamowaabu ne badduka, Abayisirayeli ne babawondera okubatuusiza ddala mu nsi yaabwe nga bagenda babatta.
25
Abayisirayeli ne bazikiriza ebibuga, buli omu n'akasuka ejjinja mu bulime obulungi okutuusa nga babujjuzza amayinja. Ne baziba enzizi zonna ez'amazzi, ne batema emiti gyonna emirungi. Mu Kiruhareseti mwokka mwe baaleka amayinja gaamu, kyokka ab'envuumuulo ne bakyetooloola, ne bakiwangula.
26
Kabaka wa Mowaabu bwe yalaba ng'olutalo lumugendedde bubi, n'atwala abasajja lusanvu abalwanyisa ebitala, bawaguze batuuke ku kabaka wa Edomu, kyokka ne batayinza.
27
Awo n'addira mutabani we asinga obukulu eyali ow'okumusikira ku bwakabaka, n'amuwaayo okuba ekiweebwayo nga kiramba n'ayokerwa ku kisenge ekyetooloola ekibuga. Abayisirayeli ne basunguwalirwa nnyo, ne balekera awo okumulwanyisa, ne baddayo mu nsi y'ewaabwe.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25