bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Kings 10
2 Kings 10
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 11 →
1
Ahabu yalina batabani be wamu ne bazzukulu be ab'obulenzi nsanvu mu kibuga Samariya. Yeehu n'awandiika ebbaluwa, n'aziweereza mu Samariya, era n'aziwaako abafuzi b'e Yezireeli, abakungu, n'abakuza b'abalangira abasibuka mu Ahabu, ng'agamba nti:
2
“Nga bwe mulina batabani ba mukama wammwe era ne bazzukulu be ab'obulenzi, n'amagaali n'embalaasi n'ebyokulwanyisa, n'ebibuga ebiriko ebigo ebigumu, ebbaluwa eno olubatuukako bw'eti,
3
mulabe ku batabani n'abazzukulu ba mukama wammwe abo, omu asinga obulungi n'okusaanira, mumufuule kabaka, mulwanirire ab'ennyumba ya mukama wammwe.”
4
Bwe baasoma ebbaluwa eyo, ne batya nnyo, ne bagamba nti: “Bakabaka abo ababiri Yehoraamu ne Ahaaziya we bataasoboledde kumwaŋŋanga, ffe tunaasobola tutya?”
5
Awo akulira ab'omu lubiri, n'omukulu w'ekibuga, n'abakungu, n'abakuza, ne batumira Yeehu nga bagamba nti: “Tuli baweereza bo, era tujja kukola byonna by'onootulagira. Tetujja kubaako n'omu gwe tufuula kabaka. Ggwe kola kyonna ky'osiima.”
6
Yeehu n'abawandiikira ebbaluwa endala ng'agamba nti: “Oba nga muli ku ludda lwange, era nga mukkirizza okuba abawulize gye ndi, mutemeko emitwe batabani ba mukama wammwe ne bazzukulu be ab'obulenzi, mugindeetere e Yezireeli enkya mu budde nga buno.” Batabani ba kabaka Ahabu wamu ne bazzukulu be ensanvu baali n'abakulembeze b'omu kibuga abaabalabiriranga.
7
Ebbaluwa ya Yeehu bwe yabatuukako, ne batwala abalangira bonna ensanvu abasibuka mu Ahabu ne babatta, ne bateeka emitwe gyabwe mu bisero, ne bagiweereza Yeehu e Yezireeli.
8
Omubaka n'ajja n'ategeeza Yeehu nti: “Baleese emitwe gy'abalangira.” Yeehu n'alagira nti: “Mugituume entuumu bbiri ku wankaaki w'ekibuga, gibeere awo okutuusa enkya.”
9
Enkeera ku makya, n'afuluma n'ayimirira ebweru w'ekibuga, n'agamba abantu bonna abaali awo nti: “Mmwe temuliiko musango. Nze nakola olukwe ne nzita mukama wange. Naye ani yasse bano bonna?
10
Mutegeere nno nga buli kimu Mukama kye yayogera ku b'ennyumba ya Ahabu, tekiireme kutuukirira. Mukama akoze ekyo kye yayogera ng'ayita mu muweereza we Eliya.”
11
Awo Yeehu n'atta n'abalala bonna ab'ennyumba ya Ahabu abaali mu Yezireeli n'abakungu ba Ahabu bonna, mikwano gye enfiirabulago, ne bakabona be yateekawo, n'atalekaawo n'omu nga mulamu.
12
Awo Yeehu n'ava e Yezireeli okugenda e Samariya. Bwe yali ng'ali mu kkubo, ku nnyumba y'abasumba esalirwamu ebyoya by'endiga,
13
n'asisinkana baganda ba Ahaaziya eyali kabaka wa Buyudaaya, n'ababuuza nti: “Mmwe b'ani?” Ne bamuddamu nti: “Tuli baganda ba Ahaaziya. Tugenda Yezireeli okulamusa ku baana ba kabaka n'abaana ba Nnamasole Yezebeeli.”
14
Yeehu n'alagira basajja be nti: “Mubakwate nga balamu!” Ne babakwata, ne babattira ku bunnya bw'ennyumba esalirwamu ebyoya by'endiga. Baali abasajja amakumi ana mu babiri, n'atalekaawo n'omu ku bo.
15
Yeehu bwe yava awo, n'asanga Yehonadaabu mutabani wa Rekabu ng'ajja okumusisinkana. Yeehu n'amulamusa, n'amugamba nti: “Ggwe nange tuli ba ndowooza emu?” Yehonadaabu n'addamu nti: “Ddala bwe kiri.” Yeehu n'agamba nti: “Oba bwe kiri, kale nsika mu mukono.” Yehonadaabu n'amusika mu mukono. Yeehu n'amulinnyisa mu ggaali lye.
16
N'amugamba nti: “Jjangu tugende ffenna, olabe nga bwe nneewaddeyo okutuukiriza ebya Mukama.” Awo ne bagenda bonna mu ggaali lye.
17
Bwe baatuuka e Samariya, Yeehu n'atta ab'ennyumba ya Ahabu bonna abaali bakyasigaddewo mu Samariya, nga Mukama bwe yagamba Eliya.
18
Awo Yeehu n'ayita abantu bonna ne bakuŋŋaana, n'abagamba nti: “Ahabu yasinzanga lubaale Baali katono, naye nze nja kumusinza nnyo.
19
Kale nno mumpitire abalaguzi bonna aba Baali, n'abamusinza bonna, ne bakabona be bonna, waleme kubulawo n'omu, kubanga nnina ekitambiro ekikulu kye ŋŋenda okuwaayo eri Baali. Buli anaabulawo ku bo ajja kuttibwa.” Kyokka Yeehu yakola bw'atyo ng'asala lukwe, alyoke azikirize bonna abaali basinza Baali.
20
Awo Yeehu n'alagira nti: “Mulangirire olukuŋŋaana olw'okusinzizaamu Baali.” Ne balulangirira.
21
Yeehu n'atumya mu Yisirayeli yonna, bonna abasinza Baali. Ne bajja, ne watasigalayo n'omu. Ne bayingira mu ssabo lya Baali, lyonna ne lijjula,
22
Yeehu n'agamba oyo akulira etterekero ly'ebyambalo nti: “Bonna abasinza Baali baggyiireyo ebyambalo.” N'abibaggyirayo.
23
Yeehu ne Yehonadaabu mutabani wa Rekabu ne bayingira mu ssabo lya Baali, Yeehu n'agamba abasinza Baali nti: “Mwetegereze mulabe nga tewali n'omu mu mmwe wano asinza Mukama, wabula abasinza Baali bokka.”
24
Awo ne bayingira okuwaayo ekitambiro n'ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba. Era Yeehu yali ataddewo abasajja kinaana ebweru w'essabo, ng'abagambye nti: “Oyo anaabaako gw'aleka okutoloka ku bantu be nnaabakwasa mmwe, ye anattibwa mu kifo kye.”
25
Bwe baamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Yeehu n'agamba abakuumi n'abakungu nti: “Muyingire, mubatte, waleme kubaawo n'omu atoloka.” Ne basowola ebitala ne babatta, emirambo ne bagisuula ebweru. Olwo abakuumi n'abakungu ne bayingira munda ddala mu ssabo lya Baali.
26
Ne baggyamu ebifaananyi bya balubaale ebyalimu ne babyokya.
27
Ne bamenyawo ekifaananyi kya Baali n'essabo lye, we lyali ne bafuulawo ekifo eky'okweteewululizaamu, era bwe kiri n'okutuusa kati.
28
Bw'atyo Yeehu bwe yazikiriza okusinza Baali, n'akumalirawo ddala mu Yisirayeli.
29
Wabula naye yakola ebibi ng'ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, ebyaleetera Yisirayeli ekibi eky'okusinza ennyana eza zaabu ezaali mu Beteli ne mu Daani.
30
Mukama n'agamba Yeehu nti: “Nga bw'okoze obulungi bye nsiima, n'otuukiriza ku b'ennyumba ya Ahabu byonna bye nayagala bakolebweko, ab'ezzadde lyo okutuusa ku bannakana balituula ku ntebe y'obwakabaka bwa Yisirayeli.”
31
Kyokka Yeehu n'atassaayo mwoyo kukoleranga ku mateeka ga Mukama, Katonda wa Yisirayeli n'omutima gwe gwonna, n'asigala ng'akola ebibi ng'ebya Yerobowaamu bye yakola n'aleetera Yisirayeli okwonoona.
32
Mu kiseera ekyo, Mukama n'atandika okukendeeza ku nsi ya Yisirayeli: Hazayeeli kabaka wa Siriya n'awangula ekitundu kya Yisirayeli kyonna eky'oku nsalo,
33
okuva ku Mugga Yorudaani okudda ebuvanjuba, ensi y'e Gileyaadi ey'Abagaadi, n'Abarewubeeni, n'Abamanasse, okuva ku kibuga Aroweri okumpi n'Omugga Arunoni, kye kitundu kyonna eky'e Gileyaadi ne Basani.
34
N'ebirala byonna Yeehu bye yakola, omuli n'ebikolwa bye eby'obuzira, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli.
35
Yeehu n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu Samariya, mutabani we Yehoyahaazi n'amusikira ku bwakabaka.
36
Yeehu yali afugidde Yisirayeli mu Samariya, okumala emyaka amakumi abiri mu munaana.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25