bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Kings 12
2 Kings 12
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 13 →
1
Mu mwaka ogw'omusanvu nga Yeehu ye kabaka wa Yisirayeli, Yowaasi n'afuuka kabaka wa Buyudaaya, n'afugira emyaka amakumi ana mu Yerusaalemu. Nnyina erinnya lye yali Zibiya ow'e Beruseba.
2
Yowaasi n'akola ebisiimibwa Mukama, ebbanga lyonna Yehoyaada kabona lye yamuyigiririzaamu.
3
Wabula ebifo ebigulumivu bye basinzizaamu tebyaggyibwawo, abantu ne bongera okuweerangayo ebitambiro n'okwoterereza obubaane mu bifo ebyo.
4
Awo Yowaasi n'agamba bakabona nti: “Ensimbi zonna eziva mu bintu ebiwongerwa Mukama ne zireetebwa mu Ssinzizo, n'ensimbi buli muntu z'agerekerwa okuwa, wamu n'ezo omuntu z'aba yeetemye yekka okuwa,
5
zikwasibwenga bakabona, buli kabona ng'akwasibwa ez'abo b'akolamu, bazikozese okuddaabiriza Essinzizo buli we liba lyetaaga okuddaabirizibwa.”
6
Naye n'okutuusa mu mwaka ogw'amakumi abiri mu esatu nga Yowaasi ye kabaka, bakabona baali tebannaddaabiriza Ssinzizo.
7
Awo Kabaka Yowaasi n'ayita Yehoyaada kabona ne bakabona abalala, n'abagamba nti: “Kiki ekibalobera okuddaabiriza Essinzizo? Kale okuva kati temwongera kuggya nsimbi ku bantu ne muzisigaza, naye muziweeyo zikozesebwe okuddaabiriza Essinzizo.”
8
Bakabona ne bakkiriza obutayongera kuggya nsimbi ku bantu, wadde bo bennyini okuddaabiriza Essinzizo.
9
Awo Yehoyaada kabona n'addira essanduuko ennene, n'awummula ekituli mu kisaanikira kyayo, n'agiteeka ku mabbali ga alutaari, ku ludda olwa ddyo omuntu ng'ayingira mu Ssinzizo.
10
Bwe baalabanga nga mu ssanduuko muwezeemu ensimbi nnyingi, omuwandiisi wa kabaka ne Ssaabakabona bajjanga ne babala ensimbi ezo ze basanze mu Ssinzizo, ne bazisiba mu bisawo.
11
Ensimbi ezo ezibaliddwa, ne bazikwasa abo abalabirira omulimu gw'okuddaabiriza Essinzizo, bano ne basasula ababazzi, n'abazimbi abakola ku Ssinzizo,
12
n'abazimbisa amayinja era n'abagakomola. Ne bagula emiti n'amayinja amakomole bikozesebwe mu kuddaabiriza Essinzizo. Ne basasulira n'ebirala byonna ebyetaagisa ku mulimu ogwo.
13
Naye ebikopo ebya ffeeza n'ebisalako ebisiriiza ku ttaala, n'ebbakuli, n'amakondeere, n'ebintu ebirala byonna ebya zaabu oba ebya ffeeza ebikozesebwa mu Ssinzizo, tebyakolebwako na nsimbi ezo ezaaletebwa mu Ssinzizo.
14
Zonna zaakozesebwa kusasula bakozi na kugula byonna ebyakozesebwa mu kuddaabiriza Essinzizo.
15
Era abantu be baakwasanga ensimbi okusasula abakozi tebaabasabanga kunnyonnyola ngeri gye bazikozesezzaamu, kubanga abantu abo baazikozesanga na bwesigwa.
16
Ensimbi ezaaweebwangayo nga za mutango olw'emisango oba nga za kiweebwayo olw'ebibi, tebaazireetanga mu Ssinzizo. Zaabanga za bakabona.
17
Mu kiseera ekyo Hazayeeli kabaka wa Siriya n'alumba Ekibuga Gaati n'akiwangula, n'akyukira ne Yerusaalemu okukirwanyisa.
18
Yowaasi kabaka wa Buyudaaya, n'addira ebintu byonna Yehosafaati ne Yehoraamu ne Ahaaziya, bajjajjaabe bassekabaka ba Buyudaaya bye baawongera Mukama, era n'ebyo ye yennyini Yowaasi bye yali awonze, ne zaabu yenna eyasangibwa mu ggwanika ly'Essinzizo ne mu ly'olubiri lwa kabaka, n'abiweereza Hazayeeli kabaka wa Siriya, Hazayeeli n'alekayo okulumba Yerusaalemu, n'agenda.
19
N'ebirala byonna Yowaasi bye yakola, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya.
20
Abakungu be ne bakola olukwe, ne bamuttira mu nnyumba ey'omu kifo ekyajjuzibwamu ettaka olw'okwerinda, ekiyitibwa Millo, ku kkubo erigenda e Silla.
21
Abakungu be, Yozakaari mutabani wa Simeyaati, ne Yehozabbaali mutabani wa Someeri, be baamufumita n'akisa omukono. Yowaasi yaziikibwa mu masiro ga bajjajjaabe, mu kibuga kya Dawudi, mutabani we Amaziya n'amusikira ku bwakabaka.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25