bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Exodus 10
Exodus 10
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 11 →
1
Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Genda eri kabaka, kubanga nkakanyazizza omutima gwe, n'omutima gw'abakungu be, ndyoke nkole ebyamagero byange bino mu bo,
2
ggwe osobole okubuulira abaana bo ne bazzukulu bo bye nkoze Abamisiri, n'ebyamagero bye nkoze ku bo, mulyoke mumanye nga Nze MUKAMA.”
3
Musa ne Arooni ne bagenda eri kabaka, ne bamugamba nti: “Mukama Katonda w'Abeebureeyi agamba nti: ‘Olituusa wa okugaana okwetoowaza mu maaso gange? Leka abantu bange bagende bampeereze.
4
Naye bw'onoogaana okuleka abantu bange okugenda, enkya nja kuleeta enzige mu nsi yo,
5
zibikkire ddala ensi ereme okulabika. Zijja kulya byonna, omuzira bye gutaazikiriza, n'emiti gyonna egiri mu nnimiro zammwe.
6
Era zijja kujjuza ennyumba zo n'ennyumba z'abakungu bo, n'ez'Abamisiri bonna. Enzige ezo zijja kuba mbi okusinga ezo bakitammwe ne bajjajjammwe ze baali balabyeko mu biseera byabwe n'okutuusa kaakano.’ ” Musa n'akyuka n'ava awali kabaka.
7
Abakungu ba kabaka ne bamugamba nti: “Omusajja ono alituusa wa okututawaanya? Leka abantu bagende baweereze Mukama Katonda waabwe. Tonnamanya nga Misiri ezikiridde?”
8
Awo Musa ne Arooni ne bazzibwa mu maaso ga kabaka, n'abagamba nti: “Kale mugende muweereze Mukama Katonda wammwe. Naye b'ani abanaagenda?”
9
Musa n'addamu nti: “Ffenna tujja kugenda wamu n'abaana baffe abato, n'abantu baffe abakadde, n'abaana baffe ab'obulenzi n'ab'obuwala. Era tujja kutwala endiga zaffe n'ente zaffe, kubanga tuteekwa okukolera Mukama embaga.”
10
Kabaka n'abagamba nti: “Ndayira Mukama nti sijja kubaleka kugenda na bakazi bammwe na baana bammwe. Kirabika nga mulina olukwe lwe mutegeka.
11
Nedda, abasajja mwekka mmwe muba mugenda muweereze Mukama, kubanga ekyo kye mwagala.” Musa ne Arooni ne bagobebwa mu maaso ga kabaka.
12
Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Golola omukono gwo ku nsi ey'e Misiri, enzige zijje zizinde ensi ey'e Misiri, zirye buli kimera kyonna ekyawonawo mu muzira.”
13
Musa n'agolola omuggo gwe ku nsi ey'e Misiri, Mukama n'aleeta embuyaga eyava ebuvanjuba, n'ekunta ku nsi, emisana n'ekiro ku lunaku olwo. Bwe bwakya enkya, embuyaga eyo n'ereeta enzige.
14
Enzige ennyingi bwe zityo zaali tezirabibwangako era teziriddayo kulabibwa nate.
15
Zaabikka ensi yonna ey'e Misiri, ne zigiddugaliza ddala. Ne zirya buli kimera kyonna, n'ebibala eby'oku miti ebyawonawo mu muzira, ne watasigala kikoola na kimu ekibisi ku muti, wadde ku kimera ekirala kyonna, mu nsi yonna ey'e Misiri.
16
Kabaka n'ayita mangu Musa ne Arooni, n'agamba nti: “Nkoze ekibi mu maaso ga Mukama ne mu maaso gammwe.
17
Kale kaakano mbeegayiridde munsonyiwe ekibi kyange omulundi gumu gwokka, era musabe Mukama Katonda wammwe, anzigyeko olumbe luno.”
18
Musa n'ava awali kabaka, n'asaba Mukama.
19
Mukama n'aleeta embuyaga ey'amaanyi ennyo eyava ebugwanjuba, n'etwala enzige, n'ezisuula mu Nnyanja Emmyufu, ne watasigala nzige n'emu mu nsi yonna ey'e Misiri.
20
Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa kabaka, n'ataleka Bayisirayeli kugenda.
21
Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Golola omukono gwo eri eggulu, ekizikiza ekikutte bezzigizigi kibe ku nsi ey'e Misiri.”
22
Musa n'agolola omukono gwe eri eggulu, ekizikiza ekikutte ne kibikka ensi yonna ey'e Misiri, okumala ennaku ssatu.
23
Abamisiri ne batasobola kulabagana, era tewali yava mu kifo mwe yali, okumala ennaku ssatu. Naye Abayisirayeli baalina ekitangaala ewaabwe gye baabeeranga.
24
Kabaka n'ayita Musa n'agamba nti: “Mugende muweereze Mukama. Abaana bammwe abato nabo bagende nammwe. Endiga n'embuzi ze ziba zisigala.”
25
Musa n'agamba nti: “Era oteekwa okutuwa ensolo ez'okutambira, n'ez'okuwaayo nga nnamba eri Mukama Katonda waffe.
26
Amagana gaffe nago gateekwa okugenda naffe, tewali nsolo n'emu gye tunaaleka, kubanga tuteekwa okulondamu ensolo ezeetaagibwa mu kuweereza Mukama Katonda waffe. Era tetumanyi nsolo ziryetaagibwa mu kuweereza Mukama, okutuusa lwe tulimala okutuukayo.”
27
Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa kabaka, n'atabaleka kugenda.
28
N'agamba Musa nti: “Va we ndi! Weekuume, oleme kudda mu maaso gange mulundi mulala, kubanga ku lunaku lw'olirabika mu maaso gange, ogenda kufa.”
29
Musa n'agamba nti: “Oyogedde bulungi. Sijja kuddayo kulabika mu maaso go.”
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
Recommended Reading
Commentary
Exodus Commentaries
→
Devotional
Exodus Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→