bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Exodus 40
Exodus 40
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 39
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
1
Mukama n'agamba Musa nti:
2
“Ku lunaku olubereberye olw'omwezi ogusooka, olisimba Eweema ey'okunsisinkanirangamu.
3
Oligiteekamu Essanduuko ey'Endagaano, era olitimba olutimbe mu maaso gaayo.
4
Oliyingiza emmeeza n'oteekateeka ebintu ebigiriko. Era oliyingiza ekikondo eky'ettaala, n'oteekako ettaala zaakyo.
5
Alutaari eya zaabu ey'okwoterezangako obubaane, oligiteeka mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano, n'otimba olutimbe mu mulyango gw'Eweema Entukuvu.
6
Oliteeka mu maaso g'omulyango gwayo alutaari, ey'okwokerangako ebiweebwayo.
7
Oliteeka ebbenseni wakati w'Eweema eyo n'alutaari, n'ogiteekamu amazzi.
8
Olisiba oluggya okwetooloola, n'otimba olutimbe mu mulyango gw'oluggya.
9
“Awo olitukuza Eweema n'ebintu byonna ebirimu, n'obisiigako omuzigo omutukuvu, olwo erifuuka ntukuvu.
10
Era oligusiiga ku alutaari ey'okwokerangako ebiweebwayo, n'ogusiiga ne ku bintu byayo byonna, n'ogitukuza. Olwo erifuuka ntukuvu nnyo.
11
Era oligusiiga ku bbenseni n'ekikondo kyayo, n'ogitukuza.
12
“Olwo olireeta Arooni ne batabani be ku mulyango gw'Eweema ey'okunsisinkanirangamu, n'obanaaza n'amazzi,
13
n'oyambaza Arooni ebyambalo ebitukuvu, n'omusiigako omuzigo, n'omutukuza, ampeerezenga mu bwakabona.
14
Era olireeta batabani be n'obambaza amasaati,
15
n'obasiigako omuzigo nga bw'osiize ku kitaabwe, bampeerezenga mu bwakabona. Era okusiigibwako omuzigo, kulibafuula bakabona obulamu bwabwe bwonna.”
16
Musa n'akola byonna nga Mukama bwe yamulagira.
17
Awo ku lunaku olubereberye olw'omwezi ogusooka mu mwaka ogwokubiri okuva lwe baava e Misiri, Eweema Entukuvu n'esimbibwa.
18
Musa n'ateekawo ebinnya byayo, n'asimba embaawo zaayo, n'agatta emikiikiro gyayo, n'awangiza empagi zaayo.
19
N'ayanjuluza eky'okugibikkako, era n'agiteekako n'eky'okugibikkako ekyokungulu, nga Mukama bwe yalagira.
20
N'atwala ebipande by'amayinja ebibiri, n'abiteeka mu Ssanduuko ey'Endagaano. N'ateeka emisituliro mu mpeta z'Essanduuko, era n'ateeka kungulu w'Essanduuko, entebe ey'obusaasizi.
21
N'ayingiza Essanduuko ey'Endagaano, nga Mukama bwe yamulagira.
22
N'ateeka emmeeza mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, ku ludda lwa Weema eyo olw'ebukiikakkono, ebweru w'olutimbe.
23
N'agiteekako emigaati egiweebwayo eri Mukama, nga Mukama bwe yamulagira.
24
N'ateeka ekikondo ky'ettaala mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, mu maaso g'emmeeza, ku ludda lwa Weema eyo olw'ebukiikaddyo.
25
N'akoleeza ettaala mu maaso ga Mukama, nga Mukama bwe yamulagira.
26
N'ateeka alutaari eya zaabu mu Weema eyo, mu maaso g'olutimbe,
27
n'agyoterezaako obubaane obuwunya akawoowo, nga Mukama bwe yamulagira.
28
N'ateekawo olutimbe mu mulyango gwa Weema Entukuvu.
29
N'ateeka ku mulyango gwa Weema eyo, alutaari ey'okwokerangako ebiweebwayo, n'aweerayo ku yo ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, nga Mukama bwe yamulagira.
30
N'ateeka ebbenseni wakati wa Weema eyo n'alutaari, n'agiteekamu amazzi ag'okunaaba.
31
Musa, Arooni ne batabani be, ne banaabirangamu engalo zaabwe n'ebigere byabwe
32
buli lwe baasembereranga alutaari, nga Mukama bwe yalagira Musa.
33
Musa n'akola oluggya okwetooloola Weema Entukuvu n'alutaari, era n'atimba olutimbe mu mulyango gw'oluggya. Bw'atyo n'amaliriza omulimu gwe.
34
Awo ekire ne kibikka ku Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, era ekitiibwa kya Mukama ne kijjula mu yo.
35
Musa n'atayinza kuyingira mu Weema eyo.
36
Mu lugendo lwabwe lwonna ekire bwe kyavanga ku Weema Entukuvu, Abayisirayeli ne balyoka batambula.
37
Naye ekire bwe kitaavangawo, tebaatambulanga, okutuusa lwe kyavangawo.
38
Abayisirayeli mu lugendo lwabwe lwonna, baalabanga ekire kya Mukama nga kiri waggulu w'Eweema Entukuvu mu budde obw'emisana. Ate mu budde obw'ekiro, baalabanga omuliro nga gwakira waggulu waayo.
← Chapter 39
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40