bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Exodus 20
Exodus 20
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 21 →
1
Katonda n'ayogera, era byonna bye yayogera bye bino:
2
“Nze MUKAMA Katonda wo eyakuggya mu nsi ey'e Misiri, gye wafugirwanga obuddu.
3
“Tobanga na Katonda mulala okuggyako nze.
4
“Teweekoleranga kifaananyi kya kintu na kimu eky'omu ggulu, oba eky'oku nsi, oba eky'omu mazzi agali wansi w'ettaka.
5
Toovuunamirenga bifaananyi ebyo, era toobisinzenga, kubanga Nze Mukama Katonda wo, sivuganyizibwa. Mbonereza abaana n'abazzukulu bannakasatwe ne bannakana, olw'ebibi bya bajjajjaabwe abankyawa.
6
Naye nsaasira abantu enkumi n'enkumi abanjagala era abakuuma ebiragiro byange.
7
“Tomalanga gakozesa linnya lyange, kubanga Nze Mukama, Katonda wo, ndibonereza buli muntu amala gakozesa erinnya lyange.
8
“Ojjukiranga okukuuma olunaku lwa Sabbaato nga lutukuvu.
9
Olina ennaku mukaaga okukolerangamu emirimu gyo gyonna.
10
Naye olunaku olw'omusanvu ye Sabbaato, luweereddwayo nga lwange, Nze Mukama, Katonda wo. Ku lunaku olwo, tokolerangako mulimu na gumu, ggwe n'abaana bo ab'obulenzi n'ab'obuwala, n'abaddu bo n'abazaana bo, n'ebisolo byo, wadde abagwira abali omumwo.
11
Kubanga mu nnaku omukaaga, Nze Mukama mwe nakolera eggulu n'ensi n'ennyanja, n'ebintu byonna ebirimu, ne mpummulira ku lunaku olw'omusanvu. Nze Mukama kyennava mpa omukisa olunaku olwo olwa Sabbaato, ne ndutukuza.
12
“Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, olyoke owangaale mu nsi Nze Mukama Katonda gye nkuwa.
13
“Tottanga.
14
“Toyendanga.
15
“Tobbanga.
16
“Towaayirizanga muntu munno.
17
“Teweegombanga nnyumba ya muntu mulala, teweegombanga mukazi we, newaakubadde omuddu we, oba omuzaana we, oba ente ye, oba endogoyi ye, wadde ekintu kye ekirala.”
18
Abantu bonna bwe baawulira okubwatuka kw'eggulu n'eddoboozi ery'eŋŋombe, era bwe baalaba okumyansa, n'olusozi nga lunyooka omukka, ne bakankana, ne bayimirira wala.
19
Ne bagamba Musa nti: “Ggwe oba oyogera naffe, tujja kuwulira. Naye Katonda bw'anaayogera naffe, tujja kufa.”
20
Musa n'agamba abantu nti: “Muleme kutya, kubanga Katonda azze kubageza bugeza, mulyoke mumuwulirenga, mulemenga kwonoona.”
21
Naye abantu ne basigala nga bayimiridde wala. Musa n'asemberera ekire ekikwafu, Katonda kye yalimu.
22
Mukama n'agamba Musa nti: “Gamba Abayisirayeli nti: ‘Mulabye bwe nsinzidde mu ggulu ne njogera nammwe.
23
Temwekoleranga balubaale aba ffeeza oba aba zaabu okubageraageranya ku nze.
24
Munkolere alutaari ey'ettaka, era ku yo mutambirireko endiga zammwe n'ente zammwe ez'okwokya nga nnamba, era n'ezo eziriirwa awamu olw'okutabagana. Mu buli kifo kye ndibalondera okunsinzizangamu, ndijja gye muli, ne mbawa omukisa.
25
Bwe munkoleranga alutaari ey'amayinja, temugizimbisanga mayinja gatemeddwa, kubanga ebyuma bye mukozesa okugatema, bigafuula agatasaanira.
26
Temulinnyanga madaala okutuuka ku alutaari yange, sikulwa nga mwebikkulirako mu ngeri etesaana.’
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40