bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Exodus 22
Exodus 22
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 23 →
1
“Omuntu bw'anabbanga ente oba endiga n'agitta, oba n'agitunda, ente emu anaagisasulangamu ente ttaano, n'endiga emu anaagisasulangamu endiga nnya.
2
Anaaliyiriranga kye yabba. Bw'aba nga talina kantu, anaatundibwanga abe omuddu, okuliyirira kye yabba. Ensolo gye yabba, k'ebe nte oba ndogoyi oba ndiga, bw'anaasangibwanga nayo nga nnamu, emu anaagisasulangamu bbiri. “Omubbi bw'anaakwatibwanga ng'amenya ennyumba ekiro, n'attibwa, amusse taavunaanibwenga musango gwa butemu. Naye bw'anattibwanga emisana, amusse anaavunaanibwanga omusango ogw'obutemu.
5
“Omuntu bw'anaalekanga ensolo ze okuliira mu lusuku oba mu nnimiro y'emizabbibu, ne zigenda ne zirya ebirime mu nnimiro y'omuntu omulala, anaasasuliranga ebirime ebyo ng'aggya mu by'omu lusuku olulwe, ne ku by'omu nnimiro eyiye ey'emizabbibu.
6
“Omuntu bw'anaakoleezanga omuliro ne gulanda, ne gukwata ennimiro y'omuntu omulala, ne gwokya eŋŋaano ekyakula oba ne gwokya ennimiro yonna, oyo eyakoleezezza omuliro ogwo anaaliwanga.
7
“Omuntu bw'anakkirizanga okuterekera munne ensimbi oba ebintu, ne babibbira mu nnyumba ye, omubbi bw'anaazuulibwanga, anaaliwanga emirundi ebiri.
8
Omubbi bw'anaabanga tazuuliddwa, nnannyini nnyumba anaaleetebwanga mu Ssinzizo n'alayira nga teyabba bintu bya munne.
9
“Buli nkaayana ku bintu, oba ku nte, oba ku ndogoyi, oba ku ndiga, oba ku ngoye, oba ku kintu ekirala kyonna ekibuze, bombiriri abakikaayanira banaaleetebwanga mu Ssinzizo. Oyo Katonda gw'anaasaliranga omusango okumusinga, anaaliyiriranga munne emirundi ebiri.
10
“Omuntu bw'anakkirizanga okukuumira munne endogoyi, oba ente, oba endiga, oba ensolo endala, ensolo eyo n'efa oba n'etuukibwako akabi, oba n'enyagibwa nga tewali akiwaako bujulizi,
11
anaagendanga n'alayirira mu Ssinzizo nga teyabba nsolo ya munne. Nnannyiniyo anakkirizanga, era munne taaliwenga.
12
Naye bw'eba nga yamubbibwako, aliyiranga nnannyiniyo.
13
Bw'enettibwanga ensolo enkambwe, anaaleetanga ebitundu ebisigaddewo okukakasa. Taaliwenga olw'eyo ettiddwa ensolo enkambwe.
14
“Omuntu bw'aneeyazikanga ensolo ku muntu omulala, ensolo eyo n'etuukibwako akabi, oba n'efa, nga nnannyiniyo taliiwo, anaamuliyiranga.
15
Naye nnannyiniyo bw'anaabeerangawo, eyagyeyazika taaliwenga. Bw'eba nga yali mpangise, eba esasuliddwa omuwendo ogwagipangisa.
16
“Omusajja bw'anaasendasendanga omuwala embeerera atannayogerezebwa, n'amwonoona, anaawangayo ebintu eby'obuko, omuwala oyo alyoke abe mukazi we.
17
Naye kitaawe w'omuwala bw'anaagaananga okumumuwa, omusajja anaaliwanga ebintu ebyenkanankana n'ebyo ebiweebwayo okwogereza omuwala embeerera.
18
“Onottanga omukazi omulogo.
19
“Omuntu aneebakanga ku nsolo anattibwanga.
20
“Buli muntu anaawangayo ekitambiro eri balubaale, n'atakiwa nze nzekka Mukama, anaazikirizibwanga.
21
“Omugwira tomuyisanga bubi, wadde okumulumya, kubanga nammwe mwali bagwira mu nsi ey'e Misiri.
22
Temuubonyaabonyenga nnamwandu n'omu, wadde mulekwa.
23
Bwe munaababonyaabonyanga, ne bansaba okubayamba, siiremenga kubayamba.
24
Era mmwe nnaabasunguwaliranga nnyo, ne mbattira mu lutalo, ne bakazi bammwe ne bafuuka bannamwandu, n'abaana bammwe ne baba bamulekwa.
25
“Bw'onoowolanga ensimbi omu ku bantu bange abaavu, tomubanjanga ng'omuwozi w'ensimbi bw'abanja, n'omusaba amagoba.
26
Munno bw'anaakusingiranga ekyambalo kye, okimuddizanga ng'enjuba tennagwa,
27
kubanga kye kyokwebikka kyokka ky'alina ekimubugumya. Kiki ekirala ky'aneebikka? Bw'anansabanga okumuyamba, nnaamuyambanga, kubanga ndi musaasizi.
28
“Toyogeranga bubi ku Katonda, era tokolimiranga mukulembeze w'abantu bo.
29
“Tolwangawo kuntonera birabo ku bibala by'obazizza, ne ku mwenge gwo ogw'emizabbibu. “Omuggulanda mu baana bo omumpanga.
30
Onookolanga kye kimu ne ku nte zo, ne ku ndiga zo. Ennume nnyina waayo gy'esookerako okuzaala, eneemalanga ennaku musanvu ne nnyina waayo, ku lunaku olw'omunaana n'ogimpa.
31
“Munaabanga bantu bange abatukuvu. N'olwekyo temuulyenga nnyama ya nsolo ettiddwa ensolo enkambwe. Munaagisuuliranga mbwa.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40