bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Exodus 32
Exodus 32
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 33 →
1
Awo abantu bwe baalaba nga Musa aluddewo okukka okuva ku lusozi, ne bakuŋŋaanira awali Arooni, ne bamugamba nti: “Tetumanyi kyatuuka ku Musa, eyatuggya mu nsi y'e Misiri. Kale tukolere balubaale abanaatukulemberangamu.”
2
Arooni n'abagamba nti: “Muggyeeko empeta eza zaabu eziri ku matu ga bakazi bammwe, n'ag'abaana bammwe ab'obulenzi n'ab'obuwala, muzindeetere.”
3
Awo abantu bonna ne baggyako empeta zaabwe eza zaabu ezaali ku matu gaabwe, ne bazireetera Arooni.
4
N'azibaggyako, n'azisaanuusa, zaabu n'amuyiwa mu lutiba, n'akolamu ennyana. Abantu ne bagamba nti: “Yisirayeli, bano be balubaale abaakuggya mu nsi y'e Misiri.”
5
Arooni bwe yalaba ennyana eyo, n'azimba alutaari mu maaso gaayo, n'alangirira nti: “Enkya wanaabeerawo embaga okussaamu Mukama ekitiibwa.”
6
Enkeera ne bazuukuka mu makya, ne bawaayo ebitambiro eby'okwokya, n'ebirala ebiriirwa awamu olw'okutabagana. Abantu ne batuula ne balya era ne banywa, ne basituka okuzina.
7
Mukama n'agamba Musa nti: “Serengeta oddeyo, kubanga abantu bo, be waggya mu nsi y'e Misiri, boonoonye.
8
Bavudde mangu mu kkubo lye nabalagira okutambulirangamu. Beekoledde ennyana mu zaabu, ne bagiwa ebitambiro, ne bagamba nti: ‘Yisirayeli, bano be balubaale abaakuggya mu nsi y'e Misiri.’ ”
9
Mukama n'agamba Musa nti: “Abantu bano mbalabye nga ba mitima mikakanyavu.
10
Kale kaakano ndeka, mbamalireko obusungu bwange, era mbazikirize. Naye ggwe, ndikufuula eggwanga eddene.”
11
Naye Musa ne yeegayirira Mukama Katonda we, n'agamba nti: “Mukama lwaki omalira obusungu bwo ku bantu bo, be waggya mu nsi y'e Misiri, ng'okozesa amaanyi amangi era n'obuyinza?
12
Lwaki okuleka Abamisiri okugamba nti: ‘Yabaggya mu Misiri, ng'agenderedde okubattira mu nsozi, n'okubasaanyizaawo ddala ku nsi?’ Leka obusungu bwo obukambwe. Weerowooze, oleme kutuusa kabi ako ku bantu bo.
13
Jjukira abaweereza bo Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo, ggwe wennyini be weerayirira n'ogamba nti: ‘Ndibawa abazzukulu bangi ng'emmunyeenye ez'oku ggulu, n'ensi eno yonna gye mbasuubizza mmwe, ndigiwa bazzukulu bammwe, ebe yaabwe emirembe gyonna!’ ”
14
Mukama ne yeerowooza, n'atatuusa ku bantu be kabi, ke yali agambye okubatuusaako.
15
Musa n'avaayo, n'aserengeta okuva ku lusozi, ng'akutte mu ngalo ze, ebipande by'amayinja ebibiri, ebiwandiikiddwako ebiragiro ku njuyi zaabyo zombi.
16
Katonda yennyini ye yakola ebipande ebyo eby'amayinja, era ye yawandiika ebiragiro ng'abyolako.
17
Yoswa bwe yawulira abantu nga baleekaana, n'agamba Musa nti: “Mpulira abantu mu lusiisira, nga baleekaana ng'abalwana.”
18
Musa n'agamba nti: “Eryo si ddoboozi ly'abaleekaana olw'obuwanguzi oba ery'abakaaba olw'okuwangulwa naye ddoboozi ly'abayimba lye mpulira.”
19
Musa bwe yasemberera olusiisira, n'alaba ennyana n'abazina, n'asunguwala nnyo, n'akasuka ebipande by'amayinja bye yali akutte mu ngalo ze, n'abyasiza wansi w'olusozi.
20
N'addira ennyana gye baali bakoze, n'agisaanuusa n'omuliro, n'agisekulasekula, n'efuuka ng'enfuufu, n'agitabula mu mazzi, n'aginywesa Abayisirayeli.
21
N'agamba Arooni nti: “Abantu bano baakukola ki, olyoke obaleke okukola ekibi ekyenkanidde awo obunene?”
22
Arooni n'addamu nti: “Mukama wange, tonsunguwalira, omanyi ng'abantu bano bulijjo balowooza kukola bibi.
23
Baŋŋamba nti: ‘Tukolere balubaale abanaatukulemberamu, kubanga tetumanyi kyatuuka ku Musa, eyatuggya mu nsi y'e Misiri.’
24
Nze ne mbagamba nti: ‘Buli alina zaabu amuleete.’ Ne bamumpa, ne mmuteeka mu muliro, ne muvaamu ennyana eno.”
25
Awo Musa bwe yalaba nga Arooni alese abantu okujeema ne basekererwa abalabe baabwe,
26
n'ayimirira mu mulyango gw'olusiisira, n'agamba nti: “Buli ali ku ludda lwa Mukama ajje gye ndi.” Abaleevi bonna ne bakuŋŋaanira w'ali.
27
N'abagamba nti: “Mukama Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Buli omu ku mmwe akwate ekitala kye, ayiteeyite mu lusiisira, okuva ku mulyango ogumu, okutuuka ku mulyango omulala, atte baganda be ne mikwano gye, ne baliraanwa be.’ ”
28
Abaleevi ne bakola nga Musa bwe yalagira: ne batta abantu ng'enkumi ssatu ku lunaku olwo.
29
Musa n'agamba Abaleevi nti: “Olwaleero mwewaddeyo okuweereza Mukama, wadde nga mufiiriddwa abaana bammwe ne baganda bammwe, Mukama alyoke abawe mmwe omukisa.”
30
Enkeera Musa n'agamba abantu nti: “Mukoze ekibi kinene nnyo! Kaakano ka nnyambuke eri Mukama, oboolyawo nnaabafunira ekisonyiwo olw'ekibi kyammwe.”
31
Awo Musa n'addayo eri Mukama, n'agamba nti: “Kitalo! Abantu bano bakoze ekibi kinene nnyo: beekoledde balubaale aba zaabu.
32
Nkwegayiridde, basonyiwe ekibi kyabwe. Naye bw'otoobasonyiwe, nsangula mu kitabo mwe wawandiika abantu bo.”
33
Mukama n'agamba Musa nti: “Buli akoze ekibi mu maaso gange, gwe nnaasangula mu kitabo kyange.
34
Kaakano genda, otwale abantu mu kifo kye nakutegeezaako. Kale malayika wange anaakukulemberanga. Naye ekiseera kijja kutuuka mbonereze abantu bano olw'ekibi kyabwe.”
35
Mukama n'abonereza abantu, kubanga baasinza ennyana, Arooni gye yakola.
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 33 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40