bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Exodus 24
Exodus 24
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 25 →
1
Mukama n'agamba Musa nti: “Yambuka ku lusozi gye ndi, ggwe ne Arooni ne Nadabu ne Abihu, n'abakulembeze ensanvu aba Yisirayeli, era musinze nga mukyali walako.
2
Ggwe wekka, ggwe onoosembera we ndi, naye abalala, tebasembera. Abantu baleme kwambuka ku lusozi wamu naawe.”
3
Musa n'ajja, n'ategeeza abantu byonna Mukama by'agambye ne by'alagidde. Abantu bonna ne baddiramu wamu nga bagamba nti: “Ebyo byonna Mukama by'ayogedde tujja kubikola.”
4
Musa n'awandiika byonna Mukama by'ayogedde. N'agolokoka enkya mu makya, n'azimba alutaari wansi w'olusozi, n'empagi kkumi na bbiri, olw'ebika ekkumi n'ebibiri ebya Yisirayeli.
5
N'atuma abavubuka Abayisirayeli, ne bawaayo eri Mukama ebitambiro, era ne batambira ente eziriirwa awamu olw'okutabagana.
6
Musa n'addira ekitundu ekimu eky'omusaayi, n'akiteeka mu bibya, ekitundu ekirala n'akimansira ku alutaari.
7
N'akwata ekitabo eky'endagaano, n'akisoma ng'abantu bawulira. Abantu ne bagamba nti: “Byonna Mukama by'ayogedde tujja kubikola era tunaabanga bawulize.”
8
Awo Musa n'addira omusaayi oguli mu bibya, n'agumansira ku bantu, n'agamba nti: “Guno gwe musaayi ogukakasa endagaano Mukama gy'akoze nammwe mu bigambo byonna by'ayogedde.”
9
Awo Musa ne Arooni, ne Nadabu, ne Abihu, n'abakulembeze ensanvu aba Yisirayeli ne bambuka ku lusozi,
10
ne balaba Katonda wa Yisirayeli. Wansi w'ebigere bye ne waba ng'omwaliiro ogw'amayinja aga safiro, nga ga bbululu omutangaavu ng'eggulu.
11
Katonda n'atakola kabi ku bakulembeze abo aba Yisirayeli. Baalaba Katonda, ne balya era ne banywa.
12
Mukama n'agamba Musa nti: “Yambuka ku lusozi gye ndi, era ng'oli eno, nja kukuwa ebipande eby'amayinja, okuli amateeka n'ebiragiro, bye mpandiise olw'okuyigiriza abantu.”
13
Awo Musa n'asituka ne Yoswa omuweereza we. Bwe yali ng'anaatera okwambuka ku lusozi olutukuvu,
14
n'agamba abakulembeze nti: “Mutulindire wano, okutuusa lwe tunaakomawo gye muli. Arooni ne Kuri bali wamu nammwe. Buli alina enkaayana, agende gye bali.”
15
Musa n'ayambuka ku lusozi, ekire ne kimubikka,
16
ekitiibwa kya Mukama ne kibeera ku Lusozi Sinaayi, ekire ne kirubikka okumala ennaku mukaaga. Ku lunaku olw'omusanvu, Mukama n'ayita Musa ng'asinziira mu kire wakati.
17
Ekitiibwa kya Mukama ne kifaananira Abayisirayeli ng'omuliro ogwakira ku ntikko y'olusozi.
18
Musa n'ayita mu kire, n'ayambuka ku ntikko y'olusozi, n'amalayo ennaku amakumi ana emisana n'ekiro.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
Recommended Reading
Commentary
Exodus Commentaries
→
Devotional
Exodus Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→