bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Exodus 36
Exodus 36
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 35
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 37 →
1
“Bezaleeli ne Oholiyaabu n'abakozi abalala, Mukama b'awadde amagezi n'okutegeera, era abamanyi okukola buli kintu ekyetaagibwa okuzimba Eweema Entukuvu, bajja kukola byonna nga Mukama bwe yalagira.”
2
Musa n'ayita Bezaleeli ne Oholiyaabu n'abalala bonna abakugu, Mukama be yawa amagezi abaali baagala okukola.
3
Musa n'abakwasa ebirabo byonna, Abayisirayeli bye baaleeta okuzimba Eweema Entukuvu. Era abantu ne bongera buli nkya okuleetera Musa ebiweebwayo, awatali kuwalirizibwa.
4
Awo abakugu bonna abaali ku mulimu ogw'okuzimba Eweema Entukuvu, ne bavaayo,
5
ne bagamba Musa nti: “Abantu baleeta bingi, ebisukkiridde ku byetaagibwa okumala omulimu, Mukama gwe yalagira okukola.”
6
Musa n'alagira ne balangirira mu lusiisira lwonna nti: “Abasajja n'abakazi balekere awo okuwaayo eby'okukola ku Weema Entukuvu.” Abantu ne bayimirizibwa okuleeta ebintu,
7
kubanga ebyali bireeteddwa, byali bingi okusinga ebyali byetaagibwa okumaliriza omulimu gwonna.
8
Abakozi abaali basingira ddala okumanya omulimu, be baakola Eweema Entukuvu. Baagikola mu mitanda kkumi egikoleddwa mu lugoye olulungi, olulukiddwa mu langi eya bbululu n'eya kakobe, n'Emmyufu, ne bagitungako bakerubi.
9
Emitanda gyonna gyali gyenkanankana: nga buli gumu gwa mita kkumi na bbiri obuwanvu, mita bbiri obugazi.
10
Emitanda etaano ne bagigatta gyokka, n'emitanda emirala etaano ne bagigatta gyokka.
11
Ne bakola eŋŋango ez'olugoye olwa bbululu ku lukugiro lwa buli mutanda ogw'oku mabbali w'emitanda emigatte.
12
Ne bateeka eŋŋango amakumi ataano ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali ku buli mitanda emigatte, eŋŋango ez'oludda olumu nga zitunuuliraganye n'ez'oludda olulala.
13
Ne bakola ebikwaso amakumi ataano ebya zaabu, ne bagatta wamu emitanda gyombi, ne bakolamu Eweema Entukuvu emu.
14
Ate ne bakola eweema ya mitanda kkumi na gumu, egy'olugoye olukoleddwa mu byoya by'embuzi, ebikke ku Weema Entukuvu.
15
Emitanda ekkumi n'ogumu gyali gyenkanankana: nga buli gumu gwa mita kkumi na ssatu obuwanvu, ne mita bbiri obugazi.
16
Emitanda etaano ne bagigatta wamu gyokka.
17
Ne bakola eŋŋango amakumi ataano ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali, ku buli mitanda emigatte.
18
Ne bakola ebikwaso amakumi ataano eby'ekikomo, bigatte Eweema ebeere emu.
19
Ne bakolayo n'eby'okubikka ku Weema ebirala bibiri: ekimu nga kya maliba ga ndiga eza sseddume, amannyike amamyufu, n'ekirala ekyokungulu, nga kya maliba ga mbuzi.
20
Ne bakola embaawo z'Eweema Entukuvu ez'obusimba, ez'omuti ogwa akasiya.
21
Buli lubaawo lwali lwa mita nnya obuwanvu, ne sentimita nkaaga mu mukaaga obugazi;
22
nga luliko ennimi bbiri, embaawo kwe zisobola okugattirwa.
23
Baakola embaawo amakumi abiri, ez'oludda olw'ebukiikaddyo.
24
Era ne bakola ebinnya amakumi ana ebya ffeeza wansi waazo, ebinnya bibiri wansi wa buli lubaawo, omw'okuteeka ennimi zaalwo ebbiri.
25
Ne bakola embaawo amakumi abiri ez'oludda olw'ebukiikakkono obw'Eweema Entukuvu,
26
n'ebinnya amakumi ana ebya ffeeza, ebinnya bibiri wansi wa buli lubaawo.
27
Ez'oku ludda olw'Eweema Entukuvu olw'emabega mu bugwanjuba, ne bakola embaawo mukaaga,
28
n'embaawo bbiri ez'omu nsonda.
29
Ezo zombi baazigatta okuva wansi okutuukira ddala waggulu, ne bazisiba n'empeta emu. Bwe batyo bwe baakola embaawo zombi ez'omu nsonda ebbiri.
30
Zaali embaawo munaana n'ebinnya byazo kkumi na mukaaga, bibiri wansi wa buli lubaawo.
31
Era baakola emikiikiro kkumi n'etaano egy'omuti ogwa akasiya, etaano ku mbaawo ez'oku ludda olumu olw'Eweema Entukuvu,
32
etaano ku mbaawo ez'oku ludda olw'emabega olw'ebugwanjuba.
33
Omukiikiro ogwa wakati w'embaawo baaguyisaamu erudda n'erudda.
34
Embaawo ne bazibikkako zaabu, era ne baziteekako empeta eza zaabu, ez'okusiba emikiikiro, era nagyo ne bagibikkako zaabu.
35
Ne bakola olutimbe mu lugoye olulungi, olulukiddwa mu langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'Emmyufu, ne balutungako bakerubi.
36
Ne bakola empagi nnya ez'omuti ogwa akasiya, okuwanirira olutimbe, ne bazibikkako zaabu, era ne baziteekako amalobo aga zaabu. Ne bazikolera ebinnya bina ebya ffeeza.
37
Omulyango oguyingira mu Weema Entukuvu ne bagukolera olutimbe, mu lugoye olulungi, olulukiddwa mu langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'Emmyufu, era olutungiddwako omudalizo.
38
Olutimbe olwo ne balukolera empagi ttaano. Amalobo gaazo n'emitwe gyazo, n'emiziziko gyazo, ne babibikkako zaabu. Ne bazikolera ebinnya bitaano eby'ekikomo.
← Chapter 35
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 37 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40