bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Exodus 4
Exodus 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 5 →
1
Musa n'addamu nti: “Naye tebalinzikiriza, era tebaliwuliriza kye mbagamba, kubanga baligamba nti: ‘Mukama teyakulabikira!’ ”
2
Mukama n'amugamba nti: “Kiki ky'okutte mu ngalo zo?” Musa n'addamu nti: “Muggo.”
3
Mukama n'agamba nti: “Gusuule wansi.” Musa n'agusuula wansi, ne gufuuka omusota, n'agudduka.
4
Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Golola omukono gwo, ogukwate akawuuwo.” Musa n'agolola omukono gwe, n'akwata omusota, ne gufuuka omuggo mu ngalo ze.
5
Mukama n'agamba nti: “Kola ekyo balyoke bakkirize nti Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, Katonda wa Aburahamu, Katonda wa Yisaaka, era Katonda wa Yakobo, akulabikidde.”
6
Mukama n'agamba nti: “Teeka omukono gwo mu kikondoolo kyo.” Musa n'ateeka omukono gwe mu kikondoolo kye. Bwe yaguggyaamu, nga guliko ebigenge, nga mweru ng'omuzira.
7
Mukama n'agamba nti: “Omukono gwo guzzeemu mu kikondoolo kyo.” Musa n'aguzzaamu. Bwe yaguggyaamu, nga mulamu ng'ebitundu ebirala eby'omubiri gwe.
8
Mukama n'agamba nti: “Bwe batalikukkiriza, oba bwe batalimatizibwa kyamagero ekisoose, balikkiriza kino ekyokubiri.
9
Awo bwe batalikkiriza byamagero bino byombiriri, era bwe baligaana okuwuliriza by'ogamba, olisena ku mazzi g'omugga n'ogayiwa ku lukalu. Amazzi ago galifuuka omusaayi ku lukalu.”
10
Musa n'agamba Mukama nti: “Ayi Mukama, sibangako mwogezi mulungi okuva ddi na ddi, wadde okuva lwe watandise okwogera nange, kubanga soogera mangu, era ntamattama.”
11
Mukama n'amugamba nti: “Ani yakola akamwa k'omuntu? Ani amufuula kasiru, oba kiggala? Ani amuwa okulaba oba okuba muzibe? Si ye Nze Mukama?
12
Kale kaakano genda, ndikusobozesa okwogera, era ndikutegeeza by'olyogera.”
13
Musa n'agamba nti: “Ayi Mukama, nkwegayiridde, tuma omuntu omulala.”
14
Awo Mukama n'asunguwalira Musa, n'agamba nti: “Muganda wo Arooni Omuleevi taliiwo? Mmanyi ng'ayinza okwogera obulungi. Era wuuyo ajja okukusisinkana, era bw'anaakulaba, ajja kusanyuka.
15
Kale ggwe onooyogeranga naye, n'omutegeeza by'anaayogeranga. Nange nnaabasobozesanga mwembiriri okwogera, era nnaabategeezanga bye munaakolanga.
16
Arooni ye anaabeeranga omwogezi wo, anaakwogereranga eri abantu. Naawe ku lulwe oliba nga Katonda, ng'omutegeeza ky'anaayogera.
17
Twala omuggo guno, gw'olikozesa ebyamagero.”
18
Awo Musa n'addayo eri Yetero kitaawe wa mukazi we, n'amugamba nti: “Nkwegayiridde, ka nzireyo eri baganda bange mu Misiri, ndabe oba nga bakyali balamu.” Yetero n'agamba Musa nti: “Genda mirembe.”
19
Musa bwe yali ng'akyali mu Midiyaani, Mukama n'amugamba nti: “Ddayo mu Misiri, kubanga abo bonna abaali baagala okukutta, bafudde.”
20
Musa n'atwala mukazi we n'abaana be, n'abeebagaza ku ndogoyi, n'addayo nabo mu nsi y'e Misiri, ng'akutte omuggo, Katonda gwe yamugamba okutwala.
21
Musa bwe yali ng'addayo mu Misiri, Mukama n'amugamba nti: “Tolemanga kukolera mu maaso ga kabaka ebyamagero byonna bye nkuwaddeko obuyinza okukola. Naye ndikakanyaza omutima gwa kabaka, n'ataleka bantu kugenda.
22
Olimugamba nti Nze Mukama ŋŋamba nti: ‘Yisirayeli ye mwana wange omuggulanda.
23
Nkugambye nti leka omwana wange agende ampeereze, naye ggwe n'ogaana. Kale nja kutta mutabani wo omuggulanda.’ ”
24
Mu lugendo nga basiisidde we banaasula, Mukama n'asisinkana Musa, n'ayagala okumutta.
25
Awo Zippora muka Musa, n'akwata ejjinja ery'obwogi, n'asalako ekikuta ky'omwana we, n'akiyisa ku bigere bya Musa, n'agamba nti: “Onfuukidde baze ow'omusaayi!”
26
Mukama n'aleka Musa. Olw'omukolo ogwo ogw'okukomola, Zippora kyeyava agamba Musa nti: “Onfuukidde baze ow'omusaayi!”
27
Mukama n'agamba Arooni nti: “Genda mu ddungu osisinkane Musa.” N'agenda n'amusisinkana ku lusozi olutukuvu, n'amunywegera.
28
Musa n'abuulira Arooni ebyo byonna Mukama bye yamutuma, n'ebyamagero byonna, bye yamulagira okukola.
29
Musa ne Arooni ne bagenda, ne bakuŋŋaanya abakulembeze bonna ab'Abayisirayeli.
30
Arooni n'ayogera byonna Mukama bye yagamba Musa, Musa n'akola ebyamagero mu maaso g'abantu.
31
Abakulembeze ne bakkiriza, era bwe baawulira nti Mukama yajja eri Abayisirayeli n'alaba okubonaabona kwabwe, ne bakutamya ku mitwe gyabwe, ne basinza.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40