bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Exodus 7
Exodus 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 8 →
1
Mukama n'agamba Musa nti: “Kale nja kuteekawo muganda wo Arooni akwogerere. Ye alibuulira kabaka ebyo by'oyagala okumutegeeza.
2
Olitegeeza Arooni muganda wo buli kye nkulagira, ye n'ategeeza kabaka, aleke Abayisirayeli bave mu nsi ye.
3
Naye nze ndikakanyaza omutima gwa kabaka, ne bwe ndyongera okukola ebyamagero n'ebyewuunyo mu nsi y'e Misiri, kabaka talibawuliriza.
4
Ndibonereza nnyo Misiri, ne nzigya ebika by'abantu bange Abayisirayeli mu nsi eyo.
5
N'Abamisiri balimanya nga Nze Mukama, bwe ndibonereza Misiri, ne nzigyayo Abayisirayeli mu bo.”
6
Musa ne Arooni ne bakola nga Mukama bwe yabalagira.
7
Ekiseera kye baayogereramu ne kabaka, Musa yali aweza emyaka kinaana, ate Arooni yali wa myaka kinaana mu esatu egy'obukulu.
8
Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti:
9
“Kabaka bw'alibagamba nti: ‘Mukoleewo ekyamagero,’ ggwe Musa oligamba Arooni nti: ‘Ddira omuggo gwo ogusuule wansi mu maaso ga kabaka gufuuke omusota.’ ”
10
Awo Musa ne Arooni ne bagenda eri kabaka, ne bakola nga Mukama bwe yalagira. Arooni n'asuula omuggo gwe wansi mu maaso ga kabaka n'ag'abakungu be, ne gufuuka omusota.
11
Kabaka n'ayita abagezigezi n'abalogo Abamisiri, nabo ne bakola ekintu kye kimu, mu magezi gaabwe ag'ekyama.
12
Buli omu n'asuula wansi omuggo gwe, ne gufuuka omusota. Naye omuggo gwa Arooni ne gumira egyabwe.
13
Kabaka n'asigala ng'akyakakanyazizza omutima gwe, n'atawuliriza Musa ne Arooni, nga Mukama bwe yali agambye.
14
Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Omutima gwa kabaka mukakanyavu, agaanye okuleka abantu okugenda.
15
Kale genda omusisinkane ku makya, ng'afuluma okulaga ku mugga. Twala omuggo ogwafuuka omusota, omulindirire ku lubalama lw'omugga.
16
Omugambe nti: ‘Mukama Katonda w'Abayisirayeli antumye gy'oli okukugamba nti: Leka abantu bange bagende bampeereze mu ddungu. Naye n'okutuusa kaakano towulira.
17
N'olwekyo Mukama agamba bw'ati nti: Ku kino kw'olimanyira nga Nze MUKAMA. Laba, omuggo gwe nkutte, nja kugukuba ku mazzi agali mu mugga, gafuuke omusaayi.
18
Ebyennyanja bijja kufa, omugga guwunye, Abamisiri batamwe okunywa amazzi ag'omu mugga.’ ”
19
Mukama n'agamba Musa nti: “Gamba Arooni nti: ‘Twala omuggo gwo, ogugolole ku mazzi ag'omu Misiri: ku migga ne ku myala, ne ku bidiba, ne ku nzizi zaabwe zonna ez'amazzi, amazzi gafuuke omusaayi, gubeere mu nsi yonna ey'e Misiri, okutuukira ddala ne mu ntiba ez'emiti ne mu nsuwa ez'amayinja.’ ”
20
Musa ne Arooni ne bakola nga Mukama bwe yalagira. Arooni n'agolola omuggo, n'akuba ku mazzi ag'omu mugga, nga kabaka n'abakungu be balaba, amazzi gonna ag'omu mugga ne gafuuka omusaayi.
21
Ebyennyanja eby'omu mugga ne bifa, omugga ne guwunya. Abamisiri ne batayinza kunywa mazzi gaamu. Ne waba omusaayi mu nsi yonna ey'e Misiri.
22
Naye abasawo Abamisiri nabo ne bakola ekintu kye kimu, mu magezi gaabwe ag'ekyama. Kabaka n'asigala ng'akyakakanyazizza omutima gwe, n'atawuliriza Musa ne Arooni, nga Mukama bwe yali agambye.
23
Kabaka n'akyuka n'addayo mu nnyumba ye, nga ne bino tabifuddeeko n'akatono.
24
Abamisiri bonna ne basima okumpi n'omugga, bafune amazzi ag'okunywa, kubanga baali tebayinza kunywa mazzi ga mu mugga.
25
Ne wayitawo ennaku musanvu Mukama ng'amaze okukuba omugga.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40