bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Exodus 39
Exodus 39
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 38
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 40 →
1
Ne bakozesa ewuzi eza langi eya bbululu n'eya kakobe, n'Emmyufu, okukola ebyambalo ebirukiddwa obulungi, eby'okwambalibwanga bakabona, nga baweereza mu Kifo Ekitukuvu. Ne bakolera Arooni ebyambalo ebitukuvu, nga Mukama bwe yalagira Musa.
2
Ne bakola ekkanzu mu lugoye olulukiddwa obulungi n'amagezi mu wuzi eza langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'Emmyufu, era n'eza zaabu.
3
Ne baweesa zaabu, ne bamufuula ow'oluwewere, ne bamusalamu obutundu obuli ng'obuwuzi, okubutunga mu lugoye olwa bbululu n'olwa kakobe n'olumyufu, n'olweru, mu ngeri ey'amagezi.
4
Ne bakola ku bibegabega by'ekkanzu obuwuzi bubiri obugatta enjuyi zaayo zombi: olw'omu maaso n'olw'emabega.
5
Olukoba olulukiddwa obulungi n'amagezi mu lugoye lwe lumu nga yo, ne lutungirwa ddala ku yo, nga Mukama bwe yalagira Musa.
6
Ne bateekateeka amayinja ag'omuwendo agayitibwa onika, ne bagateeka mu mbu za fuleemu eza zaabu, nga bagoozeeko amannya ga batabani ba Yisirayeli.
7
Ne bagateeka ku buwuzi obw'oku bibegabega by'ekkanzu, okujjuukirirangako batabani ba Yisirayeli, nga Mukama bwe yalagira Musa.
8
Ne bakola ekyambalo eky'omu kifuba, mu nkola ye emu ey'amagezi nga gye baakolamu ekkanzu: mu lugoye olulukiddwa obulungi mu wuzi eza langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'Emmyufu, era n'eza zaabu.
9
Kyali kyenkanankana enjuyi zonna era nga kifunyiddwamu wabiri: sentimita amakumi abiri mu bbiri obuwanvu, ne sentimita amakumi abiri mu bbiri obugazi.
10
Baakiteekamu ennyiriri nnya ez'amayinja ag'omuwendo. Olunyiriri olusooka lwali lwa sarudiyo ne topaazi ne safiro ne karubunkulo.
11
Olunyiriri olwokubiri lwali lwa emeraludo ne safiro ne dayamondi.
12
Olunyiriri olwokusatu lwali lwa yakinto ne agate ne ametisto.
13
N'olunyiriri olwokuna lwali lwa berulo ne onika ne yasipero, nga gateekeddwa mu mbu za fuleemu eza zaabu.
14
Buli limu ku mayinja ago ekkumi n'abiri, ne lyolebwako erinnya limu limu ku mannya ga batabani ba Yisirayeli, okujjukiranga ebika bya Yisirayeli ekkumi n'ebibiri.
15
Ne bakola emikuufu egya zaabu omulungi, egy'oku kyambalo eky'omu kifuba, nga girangiddwa ng'emiguwa.
16
Ne bakola embu bbiri eza fuleemu eza zaabu n'empeta bbiri eza zaabu. Empeta ezo ebbiri ne baziteeka ku nsonda zombi eza waggulu ez'ekyambalo eky'omu kifuba.
17
Ne bateeka emikuufu gyombi egya zaabu mu mpeta ebbiri ku nsonda zombi ez'ekyambalo eky'omu kifuba.
18
N'enkomerero endala ez'emikuufu gyombi, ne bazisiba ku mbu ebbiri eza fuleemu. Bwe batyo ekyambalo eky'omu kifuba ne bakigatta ku buwuzi obw'ekibegabega ky'ekkanzu, ku ludda lwayo olw'omu maaso.
19
Ne bakola empeta bbiri eza zaabu, ne baziteeka ku nsonda zombi eza wansi ez'ekyambalo eky'omu kifuba, ku ludda lwakyo olwomunda, okuliraana ekkanzu.
20
Ne bakola empeta endala bbiri eza zaabu, ne baziteeka ku buwuzi bwombi obw'oku bibegabega by'ekkanzu, mu kitundu kyabwo ekya wansinsi, ku ludda lw'ekkanzu olw'omu maaso, okumpi ne we yeeyasizaamu, waggulu w'olukoba olw'ekkanzu oluluke obulungi.
21
Nga Mukama bwe yalagira Musa, ne baddira akawuzi aka langi eya bbululu, ne basiba empeta z'ekyambalo eky'omu kifuba, ku mpeta z'ekkanzu, ekyambalo eky'omu kifuba kiryoke kibeere ku lukoba lw'ekkanzu olulukiddwa obulungi, era kireme kusumululwangako.
22
Ne bakola omunagiro gw'oku kkanzu ogulukiddwa nga gwa langi ya bbululu gwonna.
23
Ekituli omutwe mwe guyita, ne kinywezebwa n'olukugiro okukyetooloola, kireme kuyuzibwa.
24
Ne bakola ku birenge by'omunagiro amakomamawanga ag'olugoye olulukiddwa obulungi mu langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'Emmyufu.
25
Ne bakola n'endege eza zaabu omulungi, ne baziteeka wakati w'amakomamawanga,
26
nga batobeka endege n'ekkomamawanga, n'endege n'ekkomamawanga, okwetooloola ebirenge by'omunagiro ogw'okwambalanga mu kuweereza, nga Mukama bwe yalagira Musa.
27
Ne bakolera Arooni ne batabani be amasaati, mu lugoye olulukiddwa obulungi.
28
Ne babakolera n'ekiremba eky'oku mutwe, n'enkuufiira, n'empale ennyimpi, byonna eby'engoye ezirukiddwa obulungi,
29
n'olukoba olw'olugoye olulukiddwa obulungi mu langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'Emmyufu, era okutungiddwa omudalizo, nga Mukama bwe yalagira Musa.
30
Ne bakola akapande aka zaabu omulungi, akabonero akategeeza okuweebwayo, ne bakoolako ebigambo bino nti: “AWEEREDDWAYO ERI MUKAMA.”
31
Ne bakasiba n'akawuzi aka langi eya kakobe mu maaso g'ekiremba eky'oku mutwe, nga Mukama bwe yalagira Musa.
32
Bwe gutyo omulimu gwonna ogw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama ne guggwa. Abayisirayeli ne bakola buli kintu nga Mukama bwe yalagira Musa.
33
Ne baleetera Musa Eweema Entukuvu n'ebintu byayo, byonna: amalobo gaayo, embaawo zaayo, emikiikiro gyayo, ebikondo byayo, n'ebinnya byayo,
34
eky'okugibikkako eky'amaliba g'embuzi, n'olutimbe olugyawulamu;
35
Essanduuko y'Endagaano n'emisituliro gyayo, n'entebe ey'obusaasizi;
36
emmeeza n'ebintu byayo byonna, n'emigaati egiweebwayo eri Katonda;
37
ekikondo ky'ettaala, ekya zaabu omulungi, ettaala zaakyo, n'ebintu byakyo byonna, n'amafuta g'ettaala;
38
alutaari eya zaabu, omuzigo ogusiigibwa, obubaane obuwunya akawoowo, n'olutimbe olw'omu mulyango gw'Eweema Entukuvu,
39
alutaari ey'ekikomo, n'ekitindiro kyayo eky'ekikomo, emisituliro gyayo, n'ebintu byayo byonna, ebbenseni ne ky'etuulako;
40
entimbe ez'okutimba oluggya n'ebikondo byazo, n'ebinnya; olutimbe olw'omu mulyango gw'oluggya, n'emiguwa gyalwo, n'enkondo zaalwo; n'ebintu byonna eby'okukozesa mu Weema Entukuvu ey'okusisinkanirangamu Mukama;
41
ebyambalo ebirungi ebya bakabona eby'okuweererezangamu mu Kifo Ekitukuvu. Ebyo bye byambalo ebitukuvu, Arooni ne batabani be bye bambala nga baweereza mu bwakabona.
42
Abayisirayeli baakola omulimu gwonna nga Mukama bwe yalagira Musa.
43
Musa n'akebera omulimu gwonna, n'alaba nga bagumalirizza, era nga bagukoledde ddala nga Mukama bwe yalagira. Musa n'abasabira omukisa.
← Chapter 38
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 40 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40