bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Exodus 12
Exodus 12
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 13 →
1
Mukama n'agamba Musa ne Arooni mu nsi ey'e Misiri nti:
2
“Omwezi guno munaagubalanga nga gwe mukulu mu myezi, era nga gwe mubereberye mu mwaka gwammwe.
3
Mutegeeze ekibiina kyonna ekya Yisirayeli nti ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi guno, buli ssemaka alonde endiga ento olw'ab'omu maka ge, endiga ento emu buli maka.
4
Ab'omu maka ge bwe baba abatono nga tebaamaleewo ndiga nto eyo, beegatta n'ab'omu maka ga muliraanwa we, okusinziira ku bantu nga bwe benkana obungi, ne ku buli omu nga bw'asobola okulya.
5
Muyinza okulonda endiga ento oba embuzi ento eya sseddume, nga ya mwaka gumu, era nga teriiko kamogo.
6
Mugikuume okutuuka ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi guno, olwo eya buli maka eryoke ettibwe olweggulo ng'ekibiina kyonna ekya Yisirayeli kikuŋŋaanye.
7
Abantu batoole ku musaayi basiige ku myango gyombi egy'enzigi, ne waggulu w'enzigi ez'ennyumba mwe banaaguliira.
8
Balye ennyama yaagwo mu kiro ekyo nga njokye, era bagiriireko emigaati egitazimbulukusiddwa, n'enva ezikaawa.
9
Temugirya nga mbisi oba nga nfumbe mu mazzi, wabula nga njokye yonna ku muliro: n'omutwe n'ebigere, n'ebyomunda.
10
Era temubaako gye mulekawo okutuusa enkya. Bwe wabaawo esigaddewo, mugisaanyeewo n'omuliro.
11
Munaagirya mangu mangu, nga mwetegekedde olugendo: nga mwesibye ebimyu, nga mwambadde n'engatto mu bigere, era nga mukutte n'omuggo mu ngalo. Eyo y'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako kwa Mukama,
12
kubanga mu kiro ekyo nja kuyita mu nsi ey'e Misiri, nzite buli mwana omuggulanda ow'abantu n'ow'ensolo, era mbonereze balubaale bonna ab'e Misiri, Nze Mukama.
13
Bwe nnaaba mbonereza ensi ey'e Misiri, omusaayi ku myango gy'enzigi, gwe gunaaba akabonero akalaga ennyumba ze mulimu. Bwe nnaalaba omusaayi, mbayiteko mmwe nneme kubakolako kabi.
14
Olunaku olwo munaalukuumanga okujjukira ebyo Nze Mukama bye nkoze. Munaalukuumanga ennaku zonna, nga lunaku lukulu, era nga lwa tteeka ery'olubeerera.
15
“Okumala ennaku musanvu, munaalya migaati egitazimbulukusiddwa. Ku lunaku olw'olubereberye, munaggya ekizimbulukusa mu nnyumba zammwe, kubanga mu nnaku ezo omusanvu, buli anaalya emigaati egizimbulukusiddwa, anaaba takyabalirwa mu Bayisirayeli.
16
Ku lunaku olw'olubereberye n'olw'omusanvu, munaakuŋŋaana okusinza. Tewaabe mirimu gikolebwa mu nnaku ezo, okuggyako egyetaagisa okuteekateeka emmere gye munaalya.
17
“Mukuumanga Embaga ey'Emigaati Egitazimbulukusiddwa, kubanga ku lunaku olwo lwennyini lwe nnaggyirako ebika byammwe mu nsi ey'e Misiri, kyemunaavanga mulukuuma ennaku zonna nga lwa tteeka ery'olubeerera.
18
Okuva mu kawungeezi ak'olunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi omubereberye, okutuusa ku kawungeezi ak'olunaku olw'amakumi abiri mu olumu, munaalyanga migaati egitazimbulukusiddwa.
19
Mu nnaku ezo omusanvu, ekizimbulukusa tekiibeerenga mu nnyumba zammwe, kubanga buli alirya ekizimbulukusiddwa, k'abe mugwira oba mwana nzaalwa, aliba takyabalirwa mu kibiina kya Yisirayeli.
20
Temuulyenga kizimbulukusiddwa; naye mu maka gammwe, mulyenga migaati egitazimbulukusiddwa.”
21
Musa n'ayita abakulembeze bonna ab'Abayisirayeli, n'abagamba nti: “Buli omu mu mmwe alonde omwana gw'endiga oba embuzi ento, amaka gakuze Okuyitako.
22
Munaakwata akaganda k'obuti obuyitibwa yisopo, ne mukannyika mu musaayi oguli mu kibya, mugusiige ku myango gyombi egy'enzigi, ne waggulu w'enzigi z'ennyumba zammwe. Tewaba n'omu ku mmwe afuluma nnyumba ye, okutuusa ku makya.
23
Mukama bw'anaayita okutta Abamisiri, n'alaba omusaayi waggulu w'enzigi ne ku myango gyombi, anaayita ku mulyango, n'ataleka muzikiriza kuyingira mu nnyumba zammwe kubatta.
24
Ekyo linaabanga tteeka, mmwe n'abaana bammwe lye munaakuumanga ennaku zonna.
25
Awo bwe muliba mutuuse mu nsi, Mukama gy'alibawa nga bwe yasuubiza, munaakuumanga omukolo ogwo.
26
Abaana bammwe bwe banaababuuzanga nti: ‘Omukolo guno gutegeeza ki?’
27
Munaddangamu nti: ‘Kye kitambiro eky'Okuyitako kwa Mukama, kubanga yayita ku nnyumba z'Abayisirayeli mu Misiri, bwe yatta Abamisiri, naye n'ataliza ennyumba zaffe.’ ” Abayisirayeli ne bakutamya emitwe gyabwe ne basinza.
28
Awo ne bagenda ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa ne Arooni.
29
Awo mu ttumbi, Mukama n'atta abaana bonna abaggulanda ab'omu nsi ey'e Misiri, okuva ku mwana omuggulanda owa kabaka eyali atudde ku ntebe ey'obwakabaka, okutuusa ku mwana ow'omusibe mu kkomera. Era n'abaana ababereberye ab'ensolo nabo ne bafa.
30
Mu kiro ekyo kabaka n'abakungu be era n'Abamisiri bonna ne bagolokoka. Ne wabaawo okukuba ebiwoobe mu Misiri, kubanga tewaali nnyumba etaafaamu muntu.
31
Mu kiro ekyo kabaka n'ayita Musa ne Arooni n'agamba nti: “Musituke, muve mu bantu bange, mmwe mwembi n'Abayisirayeli, mugende muweereze Mukama, nga bwe mwasaba.
32
Mutwale endiga n'embuzi n'ente zammwe nga bwe mwasaba, mugende. Nange munsabire omukisa.”
33
Abamisiri ne bakubiriza abantu banguwe okuva mu Misiri, kubanga baagamba nti: “Tujja kufa ffenna!”
34
Abantu ne bajjuza ebibbo byabwe obuwunga obw'eŋŋaano obugoyeddwa, naye nga tebuzimbulukusiddwa, ebibbo ne babisiba mu ngoye zaabwe, ne basitulira ku bibegabega byabwe.
35
Abayisirayeli baali bakoze nga Musa bwe yabagamba: nga basabye Abamisiri ebintu ebya ffeeza n'ebya zaabu era n'engoye.
36
Mukama n'abawa okwagalibwa mu Bamisiri, ne babawa bye baasaba. Bwe batyo Abayisirayeli ne batwala ebyobugagga by'Abamisiri.
37
Abayisirayeli ne batambuza bigere okuva e Rameseesi okutuuka e Sukkoti. Baali abasajja emitwalo nga nkaaga, nga tobaze bakazi na baana.
38
Abantu bangi nnyo ab'ekintabuli ne bagenda wamu nabo, n'amagana g'endiga n'embuzi n'ente.
39
Ne bafumba emigaati egitazimbulukusiddwa, nga batoola ku buwunga obugoyeddwa, bwe baggya mu Misiri, kubanga baagobwa mangu mu Misiri nga tebannaba kubuteekamu kizimbulukusa, era nga tebannaba kwefumbira mmere.
40
Abayisirayeli baali bamaze emyaka ebikumi bina mu asatu mu Misiri.
41
Ku lunaku olwo lwennyini emyaka egyo ebikumi ebina mu asatu lwe gyaggwaako, ebika byonna eby'abantu ba Mukama ne biryoka biva mu Misiri.
42
Kyali ekiro Mukama kye yakuumiramu okubaggya mu Misiri. N'olwekyo ekiro ekyo kyennyini kinaakuumibwanga Abayisirayeli nga kya Mukama mu biseera byabwe byonna eby'omu maaso.
43
Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti: “Gano ge mateeka ag'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Omugwira taagiryengako.
44
Naye omuddu gwe mwagula anaagiryangako, nga mumaze kumukomola.
45
Omugenyi n'omukozi akolera empeera, nabo tebaagiryengako.
46
Eneeriirwanga mu nnyumba mw'eteekeddwateekeddwa. Temuufulumyenga bweru wa nnyumba ku nnyama ya mbaga eyo, era temuumenyenga ggumba na limu ery'ennyama eyo.
47
Ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli kinaakuzanga embaga eno.
48
Naye omusajja atali mukomole taagiryengako. Omugwira asenze mu mmwe, bw'anaayagalanga okukuza Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, okugulumiza Mukama, abasajja bonna ab'omu maka ge, banaamalanga kukomolebwa. Olwo anaayisibwanga ng'Omuyisirayeli enzaalwa, n'akkirizibwa okugikuza. Naye atali mukomole, taagiryengako.
49
Amateeka ago ganaakuumibwanga Abayisirayeli enzaalwa, n'abagwira abasenze mu mmwe.”
50
Abayisirayeli bonna ne bawulira, ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa ne Arooni.
51
Ku lunaku olwo Mukama n'aggya ebika by'Abayisirayeli mu nsi ey'e Misiri.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
Recommended Reading
Commentary
Exodus Commentaries
→
Devotional
Exodus Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→