bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Exodus 9
Exodus 9
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 10 →
1
Mukama n'agamba Musa nti: “Genda eri kabaka omugambe nti: ‘Mukama Katonda w'Abeebureeyi agamba nti: Leka abantu bange bagende bampeereze.
2
Bw'onooyongera okubagaana okugenda,
3
Nze MUKAMA nja kukubonereza nga nsindika obulwadde obw'akabi ennyo mu magana go, agali mu malundiro: embalaasi n'endogoyi, eŋŋamiya n'ente, endiga era n'embuzi.
4
Nja kwawulamu ensolo z'Abayisirayeli n'ezo ez'Abamisiri, waleme kufa n'emu ku z'Abayisirayeli.’ ”
5
Mukama n'assaawo ekiseera ng'agamba nti: “Enkya, nze MUKAMA nja kukola ekyo mu ggwanga.”
6
Bwe bwakya enkya, Mukama n'akola ekyo kye yagamba: ensolo zonna ez'Abamisiri ne zifa. Naye ku z'Abayisirayeli ne kutafa n'emu.
7
Kabaka n'atuma okubuuza ekibaddewo, ne bamutegeeza nti mu magana g'Abayisirayeli tewali wadde nsolo emu efudde. Naye kabaka n'akakanyaza omutima gwe, n'ataleka bantu kugenda.
8
Awo Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti: “Mutwale embatu z'evvu ery'omu kyoto, Musa alimansize waggulu nga kabaka alaba.
9
Lijja kufuumuuka ng'enfuufu, libune mu nsi yonna ey'e Misiri, era buli wantu mu Misiri lireete ku bantu ne ku nsolo amayute agaabika ne gafuuka amabwa.”
10
Ne batwala evvu ery'omu kyoto, ne bayimirira mu maaso ga kabaka. Musa n'alimansa waggulu. Ne lireeta ku bantu ne ku nsolo amayute agaayabika ne gafuuka amabwa.
11
Abasawo ne batayinza kulabikako mu maaso ga Musa, kubanga baali bajjudde amayute ng'Abamisiri abalala bonna.
12
Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa kabaka, n'atabawuliriza, nga Mukama bwe yali agambye Musa.
13
Mukama n'agamba Musa nti: “Ogolokoka enkya mu makya, n'ogenda eri kabaka, n'omugamba nti: ‘Mukama Katonda w'Abeebureeyi agamba nti: Leka abantu bange bagende bampeereze.
14
Ku mulundi guno nja kukubonereza nnyo ggwe, n'abakungu bo n'abantu bo, olyoke omanye nga tewali mulala ali nga nze mu nsi yonna,
15
kubanga kaakano nandisobodde okukozesa obuyinza bwange ne nkusindikira ggwe n'abantu bo obulwadde bwa kawumpuli ne bubazikiriza ku nsi;
16
naye okukulaga obuyinza bwange, nkulese ng'oli mulamu, ndyoke ngulumizibwe mu nsi yonna.
17
N'okutuusa kaakati okyagugubye, n'ogaana abantu bange okugenda?
18
Kale, enkya mu kiseera nga kino, nja kutonnyesa omuzira omuzito ennyo, ogutalabikangako mu Misiri kasookedde ebeerawo.
19
Kale kaakano lagira bayingize amagana n'ebintu byo byonna ebiri ebweru, omuzira gujja kukuba era gutte buli kiramu ekinaasangibwa ebweru nga tekiyingiziddwa mu nnyumba, k'abe muntu oba nsolo.’ ”
20
Mu bakungu ba kabaka, buli eyatya ebyo Mukama bye yayogera, n'addusiza abaddu be n'amagana ge mu nnyumba.
21
Naye abataatya ebyo Mukama bye yayogera, ne baleka abaddu baabwe n'amagana gaabwe ebweru.
22
Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Golola omukono gwo eri eggulu, omuzira gugwe mu nsi yonna ey'e Misiri, ku bantu ne ku nsolo, ne ku bimera byonna ebiri mu nnimiro.”
23
Musa n'agolola omuggo gwe eri eggulu. Mukama n'aleeta okubwatuka n'omuzira, omuliro ne gukka ku nsi. Mukama n'atonnyesa omuzira mu nsi ey'e Misiri.
24
Ne waba omuliro ogwakira mu muzira omuzito ennyo, ogutabangawo mu nsi yonna ey'e Misiri kasookedde ebaawo ng'eggwanga.
25
Mu nsi yonna ey'e Misiri omuzira ne gukuba buli kintu ekyali wabweru, nga mw'otwalidde abantu n'ensolo. Ne gukuba ebimera byonna mu nnimiro, era ne gumenya emiti gyonna.
26
Ekitundu ky'e Goseni, Abayisirayeli mwe baali, kye kyokka ekitaalimu muzira.
27
Awo kabaka n'atumya Musa ne Arooni, n'abagamba nti: “Ku mulundi guno nsobezza, Mukama ye mutuufu. Nze n'abantu bange ffe basobya.
28
Musabe Mukama, akomye okubwatuka okw'amaanyi n'omuzira. Nja kubaleka mugende muleme kwongera kusigala wano.”
29
Musa n'agamba nti: “Olunaava mu kibuga nga ngolola emikono gyange eri Mukama. Okubwatuka kunaakoma, n'omuzira gujja kuggwaawo, olyoke omanye ng'ensi ya Mukama.
30
Naye mmanyi nga ggwe n'abakungu bo temunnaba kutya Mukama Katonda.”
31
Obugoogwa ne bbaale ne bizikirizibwa, kubanga bbaale yali atandika okubala, n'obugoogwa nga busansudde.
32
Naye tewaaliwo ŋŋaano yazikirizibwa, yo yali nga tennamera.
33
Musa n'ava awali kabaka n'afuluma ekibuga, n'agolola emikono gye eri Mukama, okubwatuka n'omuzira ne bikoma, n'enkuba n'erekera awo okutonnya.
34
Naye kabaka bwe yalaba ng'enkuba n'omuzira era n'okubwatuka bikomye, n'ayongera okwonoona. Ye n'abakungu be ne bakakanyaza emitima gyabwe.
35
Era nga Mukama bwe yayogerera mu Musa, kabaka n'akakanyaza omutima gwe, n'ataleka Bayisirayeli kugenda.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40