bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Exodus 21
Exodus 21
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 22 →
1
“Gano ge mateeka g'onoowa Abayisirayeli.
2
Bw'ogula omuddu Omwebureeyi, anaakuweerezanga okumala emyaka mukaaga. Mu mwaka ogw'omusanvu anaaweebwanga eddembe lye n'agenda, nga tewali ky'asasudde.
3
Bw'aba nga we yafuukira omuddu wo teyalina mukazi, bw'abanga agenda, tagendanga na mukazi. Bw'aba nga yalina omukazi, mukazi we agendanga wamu naye.
4
Mukama we bw'aba nga ye yamuwa omukazi, n'amuzaalira abaana ab'obulenzi oba ab'obuwala, omukazi n'abaana be baliba ba mukama we, era omusajja anaagendanga bwomu.
5
Naye omuddu bw'ayatulanga mu lwatu nti: ‘Njagala mukama wange, ne mukazi wange, n'abaana bange, saagala kulekebwa kugenda mbe wa ddembe,’
6
olwo mukama we amutwalanga we basinziza, n'amuyimiriza ku luggi oba ku mufuubeeto, n'amuwummula okutu n'olukato, n'amusigaza nga muddu we ennaku zonna.
7
“Omuntu bw'atundanga muwala we abe omuzaana, omuzaana oyo taalekebwenga kugenda abe wa ddembe ng'abaddu bwe balekebwa.
8
Kyokka mukama we eyamugula ng'agenderera okumuwasa, bw'ataasiimenga muzaana oyo, anaamulekanga n'anunulibwa kitaawe, era taabenga na buyinza kumuguza bagwira, kubanga aba amuyisizza bubi nnyo.
9
Omuntu bw'agula omuzaana okumuwa mutabani we, anaamuyisanga nga muwala we.
10
Omusajja bw'awasanga omukazi owookubiri, emmere n'engoye n'ebikwata ku bufumbo by'awa mukazi we omubereberye, taabikendeezengako.
11
Bw'ataamuwenga ebyo byonsatule, anaalekanga omukazi oyo okugenda abe wa ddembe, awatali kusabayo bintu.
12
“Buli anaakubanga omuntu n'amutta, naye anattibwanga.
13
Kyokka anattanga omuntu nga tagenderedde, ndikuteerawo ekifo gy'ayinza okuddukira n'atakolebwako kabi.
14
Naye omuntu bw'attanga muntu munne mu lukwe ng'agenderedde, ne bw'abanga addukidde ku alutaari yange okuwona, aggyibwangayo n'attibwa.
15
“Buli anaakubanga kitaawe oba nnyina, anattibwanga.
16
“Buli anaabuzangawo omuntu n'amutunda, oba n'asangibwa naye, anattibwanga.
17
“Buli anaakolimiranga kitaawe oba nnyina, anattibwanga.
18
“Abantu bwe banalwanagananga, omu n'akuba munne ejjinja oba ekikonde, akubiddwa n'atafa, naye n'alwazibwa ku kitanda,
19
bw'asitukanga n'asenvulira ku muggo, eyamukuba taabonerezebwenga, wabula anaamugattanga olw'ebiseera, bye yamufiiriza, n'amujjanjaba okutuusa lw'awonera ddala.
20
“Omuntu bw'anaakwatanga omuggo, n'akuba omuddu we, oba omuzaana we, omukube n'afiirawo, omuntu oyo akubye anaabonerezebwanga.
21
Naye omuddu bw'anaamalangawo olunaku olumu oba ebbiri nga tannafa, mukama we taabonerezebwenga, kubanga gw'afiiriddwa muddu we, yamugula.
22
“Abantu bwe banaalwanagananga, ne balumya omukazi ali olubuto, olubuto ne luvaamu, naye omukazi n'atatuukibwako kabi kalala, amulumizza anaaliyisibwanga byonna bba w'omukazi by'anaamusaliranga, ne bikakasibwa abalamuzi.
23
Naye omukazi oyo bw'anaatuukibwangako akabi, olwo ekibonerezo kinaabeeranga kya kuliwa bulamu ku bulamu,
24
liiso ku liiso, linnyo ku linnyo, mukono ku mukono, kigere ku kigere,
25
kwokebwa ku kwokebwa, kiwundu ku kiwundu, kinuubule ku kinuubule.
26
“Omuntu bw'akubanga omuddu we, oba omuzaana we mu liiso ne lifa, amulekanga n'agenda nga wa ddembe olw'okuliyirira eriiso lye.
27
Omuntu bw'anaakubanga omuddu we, oba omuzaana we n'amuggyamu erinnyo, anaamulekanga n'agenda nga wa ddembe olw'okuliyirira erinnyo lye.
28
“Ente bw'eneetomeranga omusajja oba omukazi n'emutta, eneekubibwanga amayinja n'ettibwa, era ennyama yaayo teeriibwenga, kyokka nnannyiniyo taavunaanibwenga musango.
29
Naye ente bw'eba nga yamanyiira okutomeranga abantu, nnannyiniyo n'alabulwa, kyokka n'atagisiba, olwo bw'eneetomeranga omusajja oba omukazi n'emutta, ente eneekubibwanga amayinja n'ettibwa, era ne nnannyiniyo anattibwanga.
30
Naye nnannyiniyo bwe banaamusaliranga omutango okununula obulamu bwe, anaawangayo byonna bye bamusalidde.
31
“Bw'eneetomeranga omwana ow'obulenzi oba ow'obuwala n'emutta, nnannyiniyo anaavunaanibwanga mu ngeri ye emu.
32
Ente bw'eneetomeranga omuddu, oba omuzaana n'emutta, nnannyini nte anaasasulanga nnannyini muddu oba muzaana, ebitundu amakumi asatu ebya ffeeza, era ente eneekubibwanga amayinja n'ettibwa.
33
“Omuntu bw'anaabikkulanga obunnya, oba bw'anaasimanga obunnya n'atabubikkako, ente oba endogoyi n'ebugwamu,
34
anaaliwanga olw'ensolo eyo, ng'awaayo ensimbi eri nnannyiniyo, ensolo efudde n'eba yiye.
35
“Ente y'omuntu bw'eneetomeranga ey'omulala n'egitta, abo bombi banaatundanga ente ekyali ennamu, ne bagabana ensimbi ezivuddemu, era n'ente efudde banaagigabananga.
36
Naye bwe kinaamanyikanga ng'ente yamanyiira okutomeranga, nnannyiniyo n'atagisiba, anaaliwanga ng'awaayo ente ennamu, kyokka eyo efudde n'eba yiye.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40