bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Exodus 13
Exodus 13
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 14 →
1
Mukama n'agamba Musa nti:
2
“Onompanga abaana bonna abaggulanda ab'obulenzi. Mu Bayisirayeli buli mwana ow'obulenzi omuggulanda wange. Era n'ensolo ennume esooka okuzaalibwa yange.”
3
Musa n'agamba abantu nti: “Mujjukirenga olunaku luno lwe mwaviirako mu Misiri, ensi gye mwafugirwamu obuddu. Mukama yabaggya mu nsi eyo ng'akozesa obuyinza bwe obw'amaanyi. Ku lunaku luno temuulyenga migaati gizimbulukusiddwa.
4
Ku lunaku luno mu mwezi ogwa Abibu, lwe munaagenda.
5
Mukama bw'alibatuusa mu nsi y'Abakanaani n'Abahiiti, n'Abahiivi, n'Abayebusi, gye yalayirira bajjajjammwe nti aligibawa mmwe, ensi engagga era engimu, munaakolanga omukolo guno mu mwezi guno.
6
Okumala ennaku musanvu, munaalyanga migaati egitazimbulukusiddwa, era ku lunaku olw'omusanvu, wanaabangawo embaga okugulumiza Mukama.
7
Emigaati egitazimbulukusiddwa gye ginaaliibwanga mu nnaku ezo omusanvu. Tewaabenga migaati gizimbulukusiddwa, wadde ekizimbulukusa mu nsi yammwe yonna.
8
Ku lunaku olwo, munannyonnyolanga abaana bammwe nti: ‘Kino tukikola olw'ebyo Mukama bye yatukolera bwe twava mu Misiri.’
9
Kino kinaabanga ng'akabonero akateekeddwa ku mukono gwo oba mu kyenyi kyo, kikujjukizenga okwatulanga amateeka ga Mukama, ge wayiga, kubanga Mukama yakuggya mu Misiri ng'akozesa obuyinza bwe obw'amaanyi.
10
Buli mwaka kyonoovanga okuuma etteeka lino mu biseera byalyo ebyaliteekerwawo.
11
“Mukama bw'alibatuusa mu nsi y'Abakanaani nga bwe yabalayirira mmwe ne bajjajjammwe nti aligibawa,
12
munaawangayo eri Mukama abaana abaggulanda bonna ab'obulenzi. Abaana abaggulanda bonna ab'obulenzi banaabanga ba Mukama, era n'ensolo eza sseddume ezisooka okuzaalibwa, zinaabanga zize.
13
Naye omwana gw'endogoyi ogwa sseddume ogusooka okuzaalibwa, munaagununulanga nga muwaayo omwana gw'endiga. Era oba nga temwagala kugununula, mugumenyanga ensingo. Era munaanunulanga abaana bammwe abaggulanda bonna ab'obulenzi.
14
Era mu biseera ebijja, abaana bammwe bwe banaababuuzanga nti: ‘Kino kitegeeza ki?’ Munaabaddangamu nti: ‘Mukama yakozesa obuyinza bwe obw'amaanyi n'atuggya mu Misiri, mwe twafugirwanga obuddu.
15
Kabaka w'e Misiri bwe yaguguba, n'agaana okutuleka okugenda, Mukama n'atta mu nsi y'e Misiri abaana abaggulanda bonna ab'obulenzi, n'ensolo zonna eza sseddume ezisooka okuzaalibwa. Kyetuva tuwaayo ekitambiro eri Mukama ekya buli kisolo ekya sseddume ekisooka okuzaalibwa, naye ne tununula abaana baffe abaggulanda bonna ab'obulenzi.’
16
Era ekyo kinaabanga ng'akabonero akateekebwa ku mikono gyammwe, oba mu byenyi byammwe, okubajjukizanga nga Mukama bwe yabaggya mu Misiri, ng'akozesa obuyinza bwe obw'amaanyi.”
17
Awo kabaka w'e Misiri bwe yamala okuleka abantu okugenda, Katonda n'atabayisa mu kkubo eriyita mu nsi y'Abafilistiya, newaakubadde nga lye lyali ery'okumpi, kubanga Katonda yagamba nti: “Sikulwa ng'abantu bakyusa ebirowoozo byabwe, ne baddayo e Misiri, bwe baliraba nga bateekwa okulwana.”
18
Kyeyava abeekooloobesa mu kkubo ery'omu ddungu, ku mabbali g'Ennyanja Emmyufu. Abayisirayeli baava mu nsi ey'e Misiri nga balina ebyokulwanyisa.
19
Bwe baali nga bagenda, Musa n'atwala amagumba ga Yosefu, nga Yosefu bwe yalayiza Abayisirayeli ng'agamba nti: “Katonda bw'alibanunula, mutwalanga amagumba gange nga muva wano.”
20
Abayisirayeli ne bava mu Sukkoti nga batambula, ne basula mu Etamu, ku nsalo n'eddungu.
21
Emisana Mukama n'abakulemberamu ng'ali mu mpagi ey'ekire okubalaga ekkubo, ekiro n'abakulemberamu ng'ali mu mpagi ey'omuliro okubawa ekitangaala, balyoke basobole okutambula emisana n'ekiro.
22
Bulijjo empagi ey'ekire yabakulemberangamu emisana, empagi ey'omuliro n'ebakulemberangamu ekiro.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
Recommended Reading
Commentary
Exodus Commentaries
→
Devotional
Exodus Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→