bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Exodus 18
Exodus 18
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 19 →
1
Yetero kabona w'e Midiyaani, kitaawe wa muka Musa, n'awulira byonna Katonda bye yakolera Musa n'Abayisirayeli, abantu be, bwe yabaggya mu Misiri.
2
Awo Yetero n'ajja eri Musa ng'aleese Zippora muka Musa, Musa gwe yali agobye,
3
n'abaana be ababiri. Erinnya ly'omwana omu ye Gerusoomu, kubanga Musa yagamba nti: “Mbadde mugwira mu nsi eteri yange.”
4
N'erinnya ery'omwana omulala ye Eliyezeeri, kubanga Musa yagamba nti: “Katonda wa kitange yannyamba, n'amponya okuttibwa kabaka w'e Misiri.”
5
Yetero n'ajja ne muka Musa ne batabani ba Musa bombi, okulaba Musa mu ddungu, Musa gye yali asiisidde ku lusozi olutukuvu.
6
N'atumira Musa nti: “Nze Yetero, kitaawe wa mukazi wo, ne batabani bo bombi.”
7
Musa n'avaayo okumusisinkana, n'akutamya ku mutwe okumussaamu ekitiibwa, n'amunywegera, ne babuuzagana nti: “Otya nno?” Ne bayingira mu weema.
8
Musa n'anyumiza Yetero byonna Mukama bye yakola kabaka w'e Misiri n'abantu be, okununula Abayisirayeli. Era n'amunyumiza ebizibu byonna, ebyabatuukako nga bali mu kkubo, era nga Mukama bwe yabawonya.
9
Yetero n'asanyuka okuwulira ebirungi byonna Mukama bye yakolera Abayisirayeli, bwe yabawonya okufugibwa Abamisiri.
10
N'agamba nti: “Mukama atenderezebwe, eyabawonya kabaka n'abantu b'e Misiri!
11
Kaakano ntegedde nga Mukama ye mukulu okusinga balubaale bonna, kubanga yawonya abantu okufugibwa Abamisiri abaabeekulumbalizaako.”
12
Yetero, kitaawe wa muka Musa, n'aleeta ekirabo ekiweebwayo eky'okwokya nga kiramba, n'ebitambiro ebirala eby'okuwaayo eri Katonda. Arooni n'abakulembeze bonna ab'Abayisirayeli ne bajja okulya ekijjulo awamu ne kitaawe wa muka Musa, mu maaso ga Katonda.
13
Ku lunaku olwaddirira, Musa n'atuula okulamula abantu. Abantu ne babeera awo nga bamwetoolodde, okuva ku makya okutuusa olweggulo.
14
Yetero bwe yalaba byonna Musa by'akolera abantu, n'abuuza nti: “Kiki kino ky'okolera abantu? Lwaki okola obw'omu wekka, abantu ne babeera awo nga bakwetoolodde okuva ku makya okutuusa olweggulo?”
15
Musa n'addamu nti: “Kubanga abantu bajja gye ndi okumanya Katonda by'ayagala.
16
Bwe baba n'obutategeeragana, bajja gye ndi ne mbasalirawo ensonga zaabwe, era mbategeeza amateeka ga Katonda n'ebiragiro bye.”
17
Awo Yetero n'amugamba nti: “Tewandikoze bw'otyo.
18
Ojja kwekooya nnyo ggwe n'abantu bano, abali awamu naawe. Omulimu guno muzibu nnyo, toyinza kugukola bwomu wekka.
19
Kaakano wuliriza, nze ka nkuwe amagezi, Katonda alyoke abeere naawe. Ggwe beera mubaka wa bantu eri Katonda, era otuuse ensonga zaabwe gy'ali.
20
Obayigirize amateeka n'ebiragiro, era obagunjule mu mpisa ze basaanidde okuyisa, ne mu mirimu gye basaanidde okukola.
21
Era mu bantu bonna, londamu abasajja ab'amagezi, abassaamu Katonda ekitiibwa ab'amazima era abakyawa enguzi, obateekewo okukulira abantu. Wabeewo abakulira enkumi, n'abakulira ebikumi, n'abakulira amakumi ataano ataano, n'abakulira ekkumi kkumi,
22
balamulenga abantu ebiseera byonna. Ensonga ennene ze baba bakuleeteranga, naye ensonga entono bazimalenga bo bennyini. Bwe batyo banaakwetikkirako omugugu, ne kikwanguyiza ku mulimu.
23
Bw'onookola ekyo, era nga Katonda ky'akulagidde, teweemalengamu ndasi, era abantu bano bonna banaddangayo mu maka gaabwe nga balina emirembe.”
24
Awo Musa n'akkiriza amagezi, Yetero ge yamuwa, n'akola byonna bye yamugamba.
25
N'alonda mu Bayisirayeli bonna abasajja ab'amagezi, n'abateekawo okukulira enkumi, n'okukulira ebikumi, n'okukulira amakumi ataano ataano, n'okukulira ekkumi kkumi.
26
Ne balamulanga abantu ebiseera byonna. Ensonga enzibu ne bazireeteranga Musa, naye ensonga entono, ne bazeemaliranga bokka.
27
Awo Musa n'asiibula Yetero, Yetero n'addayo mu nsi y'ewaabwe.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
Recommended Reading
Commentary
Exodus Commentaries
→
Devotional
Exodus Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→