bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Exodus 34
Exodus 34
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 35 →
1
Mukama n'agamba Musa nti: “Bajja ebipande bibiri eby'amayinja, ebiri nga biri ebyasooka, nje mbiwandiikeko ebigambo ebyali ku bipande by'amayinja ebyasooka, bye wayasa.
2
Enkya ku makya, obe nga weeteeseteese, oyambuke ku Lusozi Sinaayi, weeyanjule gye ndi ku ntikko yaalwo.
3
Tewaba muntu ayambuka naawe, era tewaba n'omu alabikako mu bitundu byonna eby'olusozi, era tewaba endiga wadde ente eziriira mu maaso g'olusozi olwo.”
4
Musa n'abajja ebipande bibiri eby'amayinja, ebiri nga biri ebyasooka. Enkeera ku makya n'abikwata, n'ayambuka nabyo ku Lusozi Sinaayi, nga Mukama bwe yamulagira.
5
Mukama n'akkira mu kire, n'ayimirira eyo wamu naye, n'ayatula erinnya lye, MUKAMA.
6
Mukama n'ayita mu maaso ga Musa n'ayatula nti: “Nze MUKAMA. Mukama, Katonda omusaasizi era ow'ekisa, alwawo okusunguwala, alina okwagala okungi n'obwesigwa,
7
addiramu abantu enkumi n'enkumi, asonyiwa okwonoona, obujeemu n'ebibi, atalema kubonereza oyo azzizza omusango, era abonereza abaana n'abazzukulu, okutuusa ku bannakasatwe ne ku bannakana, olw'ebibi bya bazadde baabwe.”
8
Musa n'ayanguwa, n'akutamya omutwe gwe, n'asinza.
9
N'agamba nti: “Ayi Mukama, oba nga ddala nsiimibwa mu maaso go, nkwegayiridde, genda wamu naffe. Abantu bano ba mitima mikakanyavu, naye tusonyiwe ebibi byaffe n'okwonoona kwaffe, era tukkirize okuba abantu bo.”
10
Mukama n'agamba nti: “Kaakano nkola endagaano n'Abayisirayeli. Mu maaso gaabwe bonna, nnaakolanga ebyamagero ebitakolebwanga mu nsi yonna, wadde mu ggwanga eddala lyonna. Era abantu bonna ababeetoolodde, banaalabanga ebikulu, Nze Mukama bye nkola, kubanga kye ndibakolera mmwe kya ntiisa.
11
Mukuumenga ebyo bye mbalagira leero. Nga mmwe mutuuka, ndigobawo Abaamori, n'Abakanaani, n'Abahiiti, n'Abaperizi, n'Abahiivi, n'Abayebusi.
12
Mwekuume, muleme okukola endagaano n'abantu abali mu nsi gye mulagamu, endagaano eyo ereme kubasuula mmwe mu mutego.
13
Naye mulimenya alutaari zaabwe, mulizikiriza empagi zaabwe, era mulitemaatema ebifaananyi bya lubaale waabwe Asera.
14
“Temuubengako mulala gwe musinza nga Katonda, kubanga Nze Mukama, ndi wa buggya, sivuganyizibwa.
15
Temuukolenga ndagaano na bannansi, sikulwa nga bwe baliba bawaayo ebitambiro eri balubaale baabwe be basinza, balibayita okulya ku bitambiro ebyo.
16
Era sikulwa nga muwasiza batabani bammwe abakazi mu bantu abo, abakazi ne baleetera batabani bammwe okunvaako, ne basinza balubaale baabwe.
17
“Temwekolerenga balubaale mu kyuma ekisaanuuse.
18
Mukuumenga Embaga ey'Emigaati Egitazimbulukusiddwa. Ennaku musanvu mu mwezi gwa Abibu, munaalyanga migaati egitazimbulukusiddwa, nga bwe nabalagira, kubanga mu mwezi ogwo, mwe mwaviira mu Misiri.
19
Buli mwana ow'obulenzi omuggulanda, anaabanga wange, era ne mu nsolo zammwe, buli nnume esooka okuzaalibwa k'ebe ndiga oba nte, eneebanga yange.
20
Naye endogoyi esooka okuzaalibwa, munaaginunulanga nga muwaayo omwana gw'endiga. Bwe munaabanga temwagala kuginunula, munaagimenyanga ensingo. Buli mwana ow'obulenzi omuggulanda, munaamununulanga. Tewaabenga ajja mu maaso gange ngalo nsa.
21
“Mulina ennaku mukaaga ez'okukoleramu emirimu, naye ku lunaku olw'omusanvu temuukolenga mirimu, ne bwe bibanga biseera bye balimiramu oba bye bakunguliramu.
22
“Mukuumanga Embaga ey'Amakungula, bwe mutandikanga okukungula ebibala byammwe ebisooka eby'eŋŋaano, era mukuumanga Embaga ey'Ensiisira, nga mutereka ebibala byammwe, ku nkomerero y'amakungula.
23
“Emirundi esatu buli mwaka, abasajja bonna mu mmwe banajjanga okunsinza Nze Mukama, Katonda wa Yisirayeli.
24
Bwe ndimala okugoba ab'amawanga amalala nga mulaba, ne ngaziya ensalo z'ensi yammwe, tewaabenga n'omu agezaako kuwangula nsi yammwe, bwe munaabanga muzze okunsinza nze Mukama, Katonda wammwe, emirundi esatu buli mwaka.
25
“Ekitambiro ky'ensolo kye mumpa, temuukimpeerengako migaati gizimbulukusiddwa. Era temuukuumenga okutuusa enkeera ekitundu ky'ensolo gye mutta ku Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako.
26
Muleetanga mu nnyumba ya Mukama, Katonda wammwe, ebibala by'ennimiro zammwe ebisooka okukungulwa. “Temuufumbenga mbuzi nto mu mata ga nnyina waayo.”
27
Mukama n'agamba Musa nti: “Wandiika ebigambo ebyo, kubanga ebigambo ebyo bye neesigamizzaako endagaano gye nkoze naawe, era ne Yisirayeli.”
28
Musa n'amala eyo wamu ne Mukama ennaku amakumi ana emisana n'ekiro, nga talya era nga tanywa. N'awandiika ku bipande by'amayinja ebigambo eby'endagaano, Ebiragiro Ekkumi.
29
Musa bwe yakka okuva ku Lusozi Sinaayi, ng'akutte ebipande by'amayinja, ebiriko Ebiragiro Ekkumi, teyamanya nti ekyenyi kye kyali kyakaayakana, kubanga yali ayogedde ne Mukama.
30
Arooni n'Abayisirayeli bonna bwe baatunula ku Musa, ne balaba ng'amaaso ge gaakaayakana, ne batya okumusemberera.
31
Naye Musa n'abayita, Arooni n'abakulembeze bonna ab'ekibiina ne bagenda gy'ali, Musa n'ayogera nabo.
32
Oluvannyuma Abayisirayeli bonna ne basembera w'ali. Musa n'abawa ebiragiro byonna, Mukama bye yamuweera ku Lusozi Sinaayi.
33
Musa bwe yamala okwogera nabo, ne yeebikka ekitambaala mu maaso.
34
Naye buli lwe yayingiranga mu Weema Entukuvu okwogera ne Mukama, nga yeggyako ekitambaala, okutuusa lwe yafulumanga. Bwe yafulumanga, n'ategeezanga Abayisirayeli byonna Mukama bye yabanga amulagidde okwogera.
35
Abayisirayeli baalabanga ekyenyi kye nga kyakaayakana. Olwo Musa ne yeebikkanga ekitambaala mu maaso, okutuusa lwe yayingiranga okwogera ne Mukama.
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 35 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
Recommended Reading
Commentary
Exodus Commentaries
→
Devotional
Exodus Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→