bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Exodus 11
Exodus 11
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 12 →
1
Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Nja kusindikira kabaka w'e Misiri n'abantu be ekibonerezo ekirala kimu kyokka, oluvannyuma ajja kubaleka mugende, abagobe na bugobi muno.
2
Kaakano yogera eri Abayisirayeli, ogambe abasajja n'abakazi, basabe baliraanwa baabwe, babawe ebintu ebya ffeeza n'ebya zaabu.”
3
Mukama n'awa Abayisirayeli okwagalibwa mu Bamisiri. Naddala abakungu ba kabaka n'abantu bonna, ne balaba nga Musa mukulu nnyo mu nsi ey'e Misiri.
4
Awo Musa n'agamba kabaka nti: “Mukama agamba nti: ‘Nga mu ttumbi, nja kuyita mu Misiri,
5
era abaana bonna abaggulanda ab'obulenzi mu nsi ey'e Misiri bajja kufa, okuva ku wa kabaka atuula ku ntebe ey'obwakabaka, okutuusa ku w'omuzaana asa ku lubengo. N'abaana b'ensolo ababereberye nabo bajja kufa.
6
Wajja kubaawo okukuba ebiwoobe mu nsi yonna ey'e Misiri okutabangawo, era okutaliddayo kubaawo.
7
Naye tewajja kuba wadde embwa eboggolera n'omu mu Bayisirayeli oba ensolo zaabwe, mulyoke mumanye nti nze MUKAMA ayawula Abamisiri ku Bayisirayeli.’
8
Abakungu bo bano bonna bajja kujja gye ndi banvuunamire nga bagamba nti: ‘Genda n'abantu bo bonna b'okulembera.’ Ebyo nga biwedde, nja kugenda.” Musa n'ava awali kabaka n'obusungu bungi.
9
Mukama n'agamba Musa nti: “Kabaka tajja kubawuliriza, ndyoke nnyongere okukola ebyamagero mu nsi ey'e Misiri.”
10
Musa ne Arooni ne bakola ebyamagero bino byonna mu maaso ga kabaka. Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa kabaka, n'ataleka bantu ba Yisirayeli kuva mu nsi ye.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
Recommended Reading
Commentary
Exodus Commentaries
→
Devotional
Exodus Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→