bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Exodus 19
Exodus 19
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 20 →
1
Abayisirayeli ne bava e Refidiimu, era ku lunaku olubereberye olw'omwezi ogwokusatu okuva lwe baava mu nsi ey'e Misiri, ne batuuka mu ddungu lya Sinaayi, ne basiisira mu maaso g'Olusozi Sinaayi.
3
Musa n'ayambuka ku lusozi eri Katonda. Mukama n'ayita Musa ng'asinziira ku lusozi, n'agamba nti: “Abayisirayeli bazzukulu ba Yakobo bagambe nti:
4
‘Mwalaba bye nakola Abamisiri, era nga bwe nabasitula mmwe ng'empungu bw'esitula abaana baayo ku biwawaatiro byayo, ne mbaleeta we ndi.
5
Kale kaakano, bwe munaawuliranga bye mbagamba, ne mutuukiriza endagaano yange, munaabanga bantu bange be nsinga okwagala mu bantu bonna, kubanga ensi yonna yange.
6
Munaabanga ggwanga lyange ettukuvu, era munampeerezanga mu bwakabona.’ Ebigambo ebyo by'oba otegeeza Abayisirayeli.”
7
Awo Musa n'agenda n'ayita abakulembeze b'abantu, n'abategeeza ebyo byonna, Mukama bye yamulagira.
8
Abantu bonna ne baddiramu wamu nti: “Byonna Mukama by'agambye tunaabikolanga.” Musa n'azzaayo eri Mukama ebyo abantu bye bagambye.
9
Mukama n'agamba Musa nti: “Nja kujja gy'oli mu kire ekikwafu, abantu bawulire bwe njogera naawe, balyoke bakukkirizenga bulijjo.” Musa n'abuulira Mukama ebyo abantu bye bagambye.
10
Mukama n'amugamba nti: “Genda eri abantu, obagambe beetukuze olwaleero n'olwenkya, era booze ebyambalo byabwe.
11
Babe nga beeteeseteese ku lunaku oluddirira olwenkya, kubanga ku lunaku olwo olwokusatu, nja kukka ku Lusozi Sinaayi mu maaso g'abantu bonna.
12
Bateerewo ensalo okwetooloola olusozi olwo, obagambe nti: ‘Mwekuume, muleme kwambuka ku lusozi, wadde okusemberera ensalo zaalwo. Buli anaasemberera olusozi olwo, ajja kuttibwa.
13
K'abe muntu oba nsolo, ajja kuttibwa ng'akubibwa amayinja, oba ng'alasibwa obusaale, awatali kumukwatako.’ Wabula eŋŋombe bw'eneevuga, abantu ne balyoka basemberera olusozi.”
14
Awo Musa n'akka ng'ava ku lusozi, n'ategeeza abantu beetukuze. Ne booza ebyambalo byabwe.
15
Musa n'abagamba nti: “Mweteekereteekere olunaku oluddirira olwenkya. Temusemberera mukazi.”
16
Bwe bwakya enkya ku lunaku olwokusatu, ne wabaawo okubwatuka kw'eggulu n'okumyansa. Ekire ekikwafu ne kirabika ku lusozi, era eŋŋombe ey'eddoboozi ekkangufu ennyo n'ewulirwa. Abantu bonna abaali mu lusiisira, ne bakankana.
17
Musa n'aggya abantu mu lusiisira, n'abakulembera okusisinkana Katonda, ne bayimirira wansi w'olusozi.
18
Olusozi Sinaayi lwonna ne lukankana nnyo.
19
Eddoboozi ly'eŋŋombe ne lyeyongera nnyo okuvuga. Musa n'ayogera, Katonda n'amuddamu mu kubwatuka kw'eggulu.
20
Mukama n'akka ku ntikko y'Olusozi Sinaayi, n'ayita Musa okwambuka ku ntikko y'olusozi. Musa n'ayambuka.
21
Mukama n'amugamba nti: “Serengeta olabule abantu baleme okubuuka ensalo okujja okundaba, sikulwa nga bangi mu bo bafa.
22
Era ne bakabona abansemberera beetukuze, nneme okubabonereza.”
23
Musa n'agamba Mukama nti: “Abantu tebajja kwambuka ku Lusozi Sinaayi, kubanga watukuutira nti: ‘Mumanye nti olusozi lutukuvu, era muteekeeko ensalo okulwetooloola.’ ”
24
Mukama n'amugamba nti: “Serengeta, okomewo wamu ne Arooni. Naye bakabona n'abantu tebabuuka ensalo okujja gye ndi, nneme okubabonereza.”
25
Musa n'akka eri abantu n'abategeeza.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
Recommended Reading
Commentary
Exodus Commentaries
→
Devotional
Exodus Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→