bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Exodus 33
Exodus 33
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 34 →
1
Mukama n'agamba Musa nti: “Ggwe n'abantu be waggya mu nsi y'e Misiri, muve mu kifo kino, muyingire mu nsi gye nalayirira Aburahamu, Yisaaka ne Yakobo, nga ŋŋamba nti: ‘Ndigiwa bazzukulu bammwe.’
2
Ndituma malayika wange okubakulemberamu mmwe, era ndigigobamu Abakanaani, n'Abaamori, n'Abahiiti, n'Abaperizi, n'Abahiivi, n'Abayebusi.
3
Muyingire mu nsi engagga era engimu. Naye nze sijja kugenda wamu nammwe, sikulwa nga mbazikiririza mu kkubo, kubanga muli bantu ba mitima mikakanyavu.”
4
Abantu bwe baawulira ebigambo ebyo ebinakuwaza ne banakuwala, ne wataba n'omu ayambala bya kwewoomya.
5
Mukama yagamba Musa nti: “Gamba Abayisirayeli nti: ‘Muli bantu ba mitima mikakanyavu. Mbeera kugenda nammwe wadde akaseera akatono, nandibazikirizza. Kale kaakano mweyambulemu eby'okwewoomya, ndyoke ndabe kye nnaabakolera.’ ”
6
Abayisirayeli bwe baamala okuva ku Lusozi Horebu, tebaddamu kwambala bya kwewoomya.
7
Abayisirayeli buli lwe baasiisiranga, Musa yatwalanga Eweema Entukuvu, n'agisimba walako ebweru w'olusiisira. Yagituuma Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Era buli muntu eyayagalanga okwebuuza ku Mukama, yagendanga gy'eri, ebweru w'olusiisira.
8
Musa buli lwe yafulumanga olusiisira okulaga mu Weema eyo, abantu bonna baasitukanga, ne bayimirira ku mulyango gw'eweema zaabwe, ne batunuulira Musa, okutuusa lwe yamalanga okuyingiramu.
9
Musa bwe yamalanga okuyingira mu Weema Entukuvu, empagi ey'ekire yakkanga, n'eyimirira ku mulyango gw'Eweema eyo, Mukama n'ayogera ne Musa.
10
Abantu bonna bwe baalabanga empagi ey'ekire ng'eyimiridde ku mulyango gw'Eweema Entukuvu, nga basituka, ne basinziza ku miryango gy'eweema zaabwe.
11
Mukama n'ayogeranga ne Musa butereevu, ng'omuntu bw'ayogera ne mukwano gwe. Oluvannyuma Musa yaddangayo mu lusiisira. Naye omuweereza we, omuvubuka Yoswa, mutabani wa Nuuni, yasigalanga mu Weema Entukuvu.
12
Musa n'agamba Mukama nti: “Kale oŋŋamba nti: ‘Twala abantu bano.’ Naye n'otombuulira gw'onootuma wamu nange, ate nga wagamba nti ommanyi bulungi, era nsiimibwa mu maaso go.
13
Kale kaakano, nkwegayiridde, oba nga nsiimibwa mu maaso go, ntegeeza by'oyagala nkole, ndyoke nkuweereze, nnyongere okusiimibwa mu maaso go. Era jjukira ng'eggwanga lino bantu bo.”
14
Mukama n'agamba nti: “Nja kugenda wamu naawe, oleme okweraliikirira.”
15
Musa n'amugamba nti: “Ggwe bw'otogenda wamu nange, totuleka kuva wano,
16
kubanga balimanya batya nti nze n'abantu bo, tusiimibwa mu maaso go, bw'otogenda wamu naffe? Ggwe okubeera awamu naffe, kye kinaatwawulanga mu bantu abalala bonna ku nsi.”
17
Mukama n'agamba Musa nti: “Nja kukola nga bw'osabye, kubanga nkumanyi bulungi, era osiimibwa mu maaso gange.”
18
Musa n'asaba nti: “Nkwegayiridde, ndaga ku kitiibwa kyo.”
19
Mukama n'addamu nti: “Nja kuyita mu maaso go, olabe obulungi bwange bwonna, era nja kwatulira mu maaso go erinnya lyange: Nze MUKAMA. Nkwatirwa ekisa oyo gwe mba njagadde okukwatirwa ekisa, era nsaasira oyo gwe mba njagadde okusaasira.”
20
Era n'agamba nti: “Naye toyinza kundaba mu maaso, kubanga tewali muntu ayinza kundaba, n'aba omulamu.
21
Naye waliwo ekifo ekiri okumpi nange, w'onooyimirira ku jjinja.
22
Bwe nnaaba mpitawo mu kitiibwa kyange, nja kukuteeka mu mwagaanya oguli mu jjinja, nkubikkeko ekibatu kyange, okutuusa nga mmaze okuyitawo,
23
olwo nja kuggyawo ekibatu kyange, olabe amabega gange. Naye tondabe mu maaso.”
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 34 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40