bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Exodus 15
Exodus 15
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 16 →
1
Awo Musa n'Abayisirayeli ne bayimbira Mukama oluyimba luno: “Ka nnyimbire Mukama, kubanga awangulidde ddala! Asudde mu nnyanja embalaasi n'abeebagazi baazo.
2
Mukama ye w'amaanyi era ye andokola. Ye Katonda wa kitange, nnaayimbanga okumugulumiza.
3
Mukama ye mulwanyi omuzira, erinnya lye ye MUKAMA.
4
“Asudde mu nnyanja amagaali ga kabaka w'e Misiri n'eggye lye. Abakungu be abalondemu basaanyeewo mu Nnyanja Emmyufu!
5
Ennyanja ey'eddubi ebasaanikidde, basse mu buziba ng'ejjinja.
6
“Omukono gwo ogwa ddyo, ayi Mukama, gwa kitiibwa, gwa maanyi. Omukono gwo ogwa ddyo, ayi Mukama, gubetenta omulabe.
7
Mu buwanguzi bwo obujjuvu omegga abalabe bo. Obusungu bwo bubuubuuka, ne bubookya ng'ebisasiro.
8
Wafuuwa omukka gwo ku nnyanja, amazzi ne geetuuma entuumu, ne gayimirira ng'ekisenge. Ennyanja ey'eddubi ne yeekwata ng'ekitole.
9
Omulabe yagamba nti: ‘Nja kubawondera mbakwate, nja kugabanyaamu ebyobugagga byabwe, nneetwalire byonna bye njagala. Nja kugolola ekitala kyange, ntwale ebyabwe byonna.’
10
Wakunsa omuyaga gwo, ennyanja n'ebasaanikira. Baasaanawo ng'ekyuma ekizito mu mazzi ag'amaanyi.
11
“Mu balubaale ani ali nga ggwe, Mukama? Ani ali nga ggwe, oweekitiibwa, omuutukirivu, ow'entiisa era ow'ettendo, akola ebyewuunyisa?
12
Wagolola omukono gwo ogwa ddyo, ensi n'ebamira.
13
“Mu kisa kyo, wakulembera abantu be wanunula, n'obatuusa mu kifo kyo ekitukuvu.
14
Amawanga gaawulira ne gakankana. Ab'omu Filistiya bajjula okutya.
15
Abakungu b'omu Edomu beewuunya, abakulembeze ab'e Mowaabu baakwatibwa ensisi. Abatuuze b'omu Kanaani baggwaamu amaanyi.
16
Okutekemuka n'entiisa bibaguddeko olw'obuyinza bwo obw'amaanyi. Bali ng'amayinja agateenyeenya, okutuusa abantu bo lwe bayitawo. Ne baleka abantu bayitewo, abantu be wanunula, ayi Mukama.
17
Olibayingiza n'obateeka ku lusozi lwo, ekifo, ggwe ayi Mukama, kye walonda okubeerangamu: ekifo ekitukuvu kye weezimbira.
18
Mukama alifuga emirembe n'emirembe.”
19
Abayisirayeli baayita mu nnyanja nga batambulira ku ttaka ekkalu. Naye amagaali ga kabaka w'e Misiri awamu n'embalaasi ze n'abazeebagala, olwayingira mu nnyanja, Mukama n'azzaawo amazzi, ne gababuutikira.
20
Awo Miriyamu omulanzi, mwannyina wa Arooni, n'akwata ensaasi, abakazi bonna ne bamugoberera nga bakuba ensaasi era nga bazina.
21
Miriyamu n'abayimbira oluyimba nti: “Muyimbire Mukama, kubanga awangulidde ddala. Asudde mu nnyanja embalaasi n'abeebagazi baazo.”
22
Awo Musa n'akulembera Abayisirayeli okuva ku Nnyanja Emmyufu, ne batuuka ku ddungu ly'e Suuri. Ne batambulira ennaku ssatu mu ddungu, ne batazuula mazzi.
23
Bwe baatuuka e Mara, ne batayinza kunywa mazzi gaayo, kubanga gaali gakaawa. Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Mara.
24
Abantu ne beemulugunyiza Musa nga bagamba nti: “Tunaanywa ki?”
25
Musa ne yeegayirira Mukama, Mukama n'amulaga omuti, Musa n'agusuula mu mazzi ne gafuuka amalungi. Eyo Mukama gye yabaweera amateeka ge banaagobereranga, era eyo gye yabagereza.
26
N'agamba nti: “Bwe muliwulira n'obwegendereza, nze Mukama Katonda wammwe bye mbagamba, ne mukola ebituufu mu maaso gange, ne mutuukiriza amateeka gange, era ne mukwata bye mbalagira byonna, siribalwaza ndwadde ze nalwaza Abamisiri, kubanga Nze Mukama abawonya mmwe.”
27
Awo ne batuuka mu Elimu, awali ensulo z'amazzi ekkumi n'ebbiri, n'emikindu ensanvu, ne basiisira awo awali amazzi.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40