bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Exodus 5
Exodus 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 6 →
1
Ebyo bwe byaggwa, Musa ne Arooni ne bagenda eri kabaka w'e Misiri, ne bagamba nti: “Mukama, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: Leka abantu bange bagende bankolere embaga mu ddungu.”
2
Kabaka n'abuuza nti: “Mukama ye ani, ndyoke mmuwulire, ndeke Yisirayeli okugenda? Nze simanyi Mukama, era sijja kuleka Yisirayeli kugenda.”
3
Musa ne Arooni ne baddamu nti: “Katonda w'Abeebureeyi yatulabikira. Tukwegayiridde, tukkirize tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ebitambiro eri Mukama Katonda waffe, aleme kutussisa ndwadde ya kawumpuli oba kutussisa lutalo.”
4
Kabaka w'e Misiri n'agamba Musa ne Arooni nti: “Lwaki mulesaayo abantu emirimu gyabwe? Mugende ku mirimu gyammwe.”
5
Kabaka era n'agamba nti: “Kaakano abantu beeyongedde obungi mu ggwanga, ate mmwe mwagala kubawummuza ku mirimu gyabwe!”
6
Ku lunaku olwo lwennyini, kabaka n'alagira abakozesa abantu n'abakulembeze baabwe nti:
7
“Mulekere awo okuwa abantu essubi ery'okubumbisa amatoffaali. Bagende balyekuŋŋaanyize bo bennyini.
8
Naye mubasalire bawezenga omuwendo gw'amatoffaali, nga gwe baabumbanga edda, muleme kugukendeezaako n'akatono, kubanga bagayaavu, kyebava basaba nti: ‘Tuleke tugende tuweeyo ebitambiro eri Katonda waffe.’
9
Abantu abo baweebwe emirimu egisingawo obukakali bagikole, baleme kuwuliriza bigambo bya bulimba.”
10
Abakozesa b'abantu n'abakulembeze baabwe ne bagenda ne bagamba abantu nti: “Kabaka agambye nti tajja kubawa ssubi.
11
Mmwe mwennyini mugende mulyereetere gye muyinza okulizuula. Naye omuwendo gw'amatoffaali ge mubumba, tegujja kukendeerako n'akatono.”
12
Awo abantu ne basaasaanira mu nsi yonna ey'e Misiri okukuŋŋaanya essubi.
13
Abakozesa ne babakubiriza nti: “Muweze omuwendo gw'amatoffaali agenkanankana n'ago ge mwabumbanga buli lunaku, essubi bwe lyabangawo.”
14
Abakozesa b'abantu ne bakuba abakulembeze b'Abayisirayeli abaateekebwawo okulabirira bannaabwe ku mulimu. Ne babagamba nti: “Lwaki olwajjo n'olwaleero temuwezezza muwendo gwa matoffaali nga ge mwabumbanga edda?”
15
Awo abakulembeze b'Abayisirayeli ne bagenda eri kabaka, ne bamugamba nti: “Lwaki ffe abaweereza bo otuyisa bw'otyo?
16
Tebatuwa ssubi, naye ate ne batugamba okubumba amatoffaali! Era tuutuno tukubibwa. Naye omusango guli ku bantu bo.”
17
Kabaka n'addamu nti: “Muli bagayaavu bugayaavu! Kyemuva musaba nti: ‘Tuleke tugende tuweeyo ebitambiro eri Mukama.’
18
Kale kaakano muddeeyo mukole. Temujja kuweebwa ssubi, naye muteekwa okubumba omuwendo gw'amatoffaali gwe gumu nga bwe mubadde mukola.”
19
Abakulembeze b'Abayisirayeli ne bategeera nga bali mu kabi, bwe baabagamba nti: “Temujja kukendeeza n'akatono ku muwendo gw'amatoffaali ogwa buli lunaku.”
20
Bwe baali bava ewa kabaka, ne basisinkana Musa ne Arooni abaali babalindiridde.
21
Ne bagamba Musa ne Arooni nti: “Mukama atunuulire kye mukoze, asale omusango, kubanga mutukyayisizza mu maaso ga kabaka ne mu maaso g'abaweereza be, ne mubawa kye baneekwasa batutte.”
22
Awo Musa n'adda eri Mukama n'agamba nti: “Ayi Mukama, lwaki oyisa obubi abantu bano? Lwaki wantuma?
23
Kubanga kasookedde nzija eri kabaka okwogera mu linnya lyo, abantu bo abayisizza bubi. Ate ggwe tolina ky'okozeewo okubawonya!”
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40