bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Exodus 16
Exodus 16
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 17 →
1
Ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne kiva mu Elimu, era ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwokubiri kasookedde bava mu nsi ey'e Misiri, ne batuuka mu ddungu ly'e Siini, eriri wakati wa Elimu ne Sinaayi.
2
Eyo mu ddungu, Abayisirayeli bonna ne beemulugunyiza Musa ne Arooni,
3
nga bagamba nti: “Waakiri Mukama yandituttidde mu nsi ey'e Misiri, gye twatuulanga awali entamu z'ennyama n'emmere, ne tulya ne tukkuta. Naye mwatuleeta mu ddungu lino, mulyoke mussise ekibiina kino kyonna enjala.”
4
Mukama n'agamba Musa nti: “Kaakano ŋŋenda okubatonnyeseza emmere okuva mu ggulu. Abantu banaafulumanga buli lunaku okukuŋŋaanya emmere ebamala olunaku olwo. Mu ngeri eyo ndyoke mbageze, ndabe oba nga banaakuumanga amateeka gange.
5
Ku lunaku olw'omukaaga banaakuŋŋaanyanga ne bayingiza ya mirundi ebiri ku eyo gye bakuŋŋaanya buli lunaku.”
6
Awo Musa ne Arooni ne bagamba Abayisirayeli bonna nti: “Olwaleero olweggulo munaamanya nga Mukama ye yabaggya mu nsi ey'e Misiri.
7
Era enkya munaalaba ekitiibwa kya Mukama, kubanga awulidde bwe mumwemulugunyiza. Kale ffe baani, mulyoke mwemulugunyize ffe?”
8
Awo Musa n'agamba nti: “Olweggulo Mukama ye anaabawa ennyama, ne mulya, n'enkya ye anaabawa emmere ne mukkuta, kubanga awulidde bwe mumwemulugunyiza. Naye ffe baani? Temwemulugunyiza ffe, wabula mwemulugunyiza Mukama.”
9
Musa n'agamba Arooni nti: “Gamba ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli nti: ‘Musembere mu maaso ga Mukama, kubanga awulidde okwemulugunya kwammwe.’ ”
10
Arooni bwe yali ng'ayogera n'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli, ne bakyuka ne batunula mu ddungu, amangwago ekitiibwa kya Mukama ne kirabika mu kire.
11
Mukama n'agamba Musa nti:
12
“Mpulidde okwemulugunya kw'Abayisirayeli. Bagambe nti: ‘Olweggulo munaalya ennyama, n'enkya munaalya emmere ne mukkuta. Olwo munaamanya nga Nze MUKAMA Katonda wammwe.’ ”
13
Olweggulo entiitiri ne zijja, ne zibikka olusiisira. Ku makya, omusulo ne gugwa okwetooloola olusiisira lwonna.
14
Omusulo bwe gwaggwaawo, akantu akatono akeekulungirivu ne kalabika ku ttaka mu ddungu. Kaali kagonvu ng'omusulo, naye nga kakwafu.
15
Abayisirayeli bwe baakalaba, ne batakategeera. Ne beebuuzaganya nti: “Kiki kino?” Musa n'abagamba nti: “Eyo ye mmere, Mukama gy'abawadde okulya.
16
Mukama alagidde nti buli omu ku mmwe akuŋŋaanyeeko gy'anaalya n'amalawo. Buli omu atwalire ab'omu weema ye, nga buli muntu amutwalira kilo bbiri.”
17
Abayisirayeli ne bakola bwe batyo. Abamu ne bakuŋŋaanya nnyingi, abalala ntono.
18
Bwe baagipimanga, eyabanga akuŋŋaanyizza ennyingi, nga temuyitirirako, n'eyabanga akuŋŋaanyizza entono, ng'afuna emumala.
19
Musa n'abagamba nti: “Tewaba n'omu alekawo ya nkya.”
20
Naye abamu ne batawulira Musa, ne balekawo ey'enkya. N'ezaala envunyu, n'ewunya. Musa n'abasunguwalira.
21
Buli nkya buli muntu yakuŋŋaanyanga gy'anaalya n'amalawo. Omusana bwe gwayakanga, esigadde ku ttaka n'esaanuuka.
22
Ku lunaku olw'omukaaga, baakuŋŋaanya ya mirundi ebiri, kilo nnya eza buli omu. Abakulembeze ne bajja, ne bategeeza Musa.
23
Musa n'abagamba nti: “Ekyo Mukama kye yalagira, nti enkya lunaku lukulu, lwa kuwummulirako, Sabbaato, olunaku lwa Mukama olutukuvu. Mufumbe bye mwagala okufumba, mubugumye bye mwagala okubugumya. Emmere yonna esigalawo mugikuume, mugiterekere olwenkya.”
24
Ne bagitereka okutuusa enkeera, nga Musa bwe yalagira, n'etewunya, era n'etebaamu nvunyu.
25
Musa n'agamba nti: “Mulye eno olwaleero, kubanga olwaleero ye Sabbaato, olunaku lwa Mukama olutukuvu. Olwaleero temujja kusangayo mmere ebweru.
26
Mukuŋŋaanye emmere mu nnaku mukaaga, naye ku lunaku olw'omusanvu, olwa Sabbaato emmere tebaayo.”
27
Ku lunaku olw'omusanvu, abamu ne bagenda okukuŋŋaanya emmere, ne batagisangayo.
28
Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Mulituusa wa okugaana okuwulira amateeka gange n'ebiragiro byange?
29
Mulabe, Nze MUKAMA, mbawadde Sabbaato, kyenva mbawa ku lunaku olw'omukaaga, emmere eneebamazaako ennaku ebbiri.
30
Buli muntu asigale w'ali, tavanga waka we ku lunaku olw'omusanvu.”
31
Abayisirayeli ne batuuma emmere eyo erinnya Mannu. Yali efaanana ng'akasigo akatono akeeru, era ng'ewoomerera ng'obugaati obukoleddwa mu mubisi gw'enjuki.
32
Musa n'agamba nti: “Mukama alagidde nti: ‘Mulekewo ku mannu, eterekebwe olwa bazzukulu bammwe, balyoke balabenga emmere gye nabawa mmwe okulyanga mu ddungu, bwe nabaggya mu nsi ey'e Misiri.’ ”
33
Musa n'agamba Arooni nti: “Twala ekibya, oteekemu kilo bbiri eza mannu, okiteeke mu maaso ga Mukama, kiterekebwe olwa bazzukulu baffe.”
34
Arooni n'akiteeka mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano, kiterekebwe, nga Mukama bwe yalagira Musa.
35
Abayisirayeli ne baliira mannu emyaka amakumi ana, okutuusa lwe baatuuka mu nsi ya Kanaani ebeerekamu abantu.
36
Ekipimo ekyakozesebwanga, nga kyenkana kilo bbiri.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40