bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Exodus 6
Exodus 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 7 →
1
Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Kaakano onoolaba kye nnaakola kabaka, kubanga nja kumuwaliriza abaleke bagende. Ddala nja kumuwaliriza abagobe na bugobi mu nsi ye.”
2
Katonda n'ayogera ne Musa n'amugamba nti: “Nze MUKAMA.
3
Nalabikira Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo, nga Katonda Omuyinzawaabyonna. Naye saabamanyisa linnya lyange, MUKAMA.
4
Era nanyweza endagaano yange nabo, okubawa ensi ya Kanaani, gye baabeerangamu ng'abayise.
5
Era kaakano mpulidde okusinda kw'Abayisirayeli, Abamisiri be baafuula abaddu, ne nzijukira endagaano yange.
6
Kale tegeeza Abayisirayeli nti: ‘Nze Mukama ndibanunula ne mbawonya okubonyaabonyezebwa Abamisiri, n'okuba abaddu baabwe. Ndigolola omukono gwange ogw'amaanyi, ne mbonereza Abamisiri, ne mbanunula mmwe.
7
Ndibafuula mmwe abantu bange, era ndiba Katonda wammwe. Mulimanya nga Nze Mukama Katonda wammwe abaggye mu kubonyaabonyezebwa Abamisiri.
8
Ndibayingiza mu nsi, gye nalayira okuwa Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo. Ndigibawa mmwe ebe obutaka bwammwe. Nze Mukama.’ ”
9
Musa n'agamba bw'atyo Abayisirayeli, kyokka ne batamukkiriza, kubanga baali baterebuse olw'okufugibwa n'okutuntuzibwa ng'abaddu.
10
Awo Mukama n'agamba Musa nti:
11
“Genda ogambe kabaka w'e Misiri, aleke Abayisirayeli bave mu nsi ye.”
12
Musa n'agamba Mukama nti: “Olaba n'Abayisirayeli tebampulirizza, kale olwo kabaka anaampuliriza atya nze atali mwogezi mulungi?”
13
Mukama n'alagira Musa ne Arooni nti: “Mugambe Abayisirayeli ne kabaka w'e Misiri nti mbalagidde mmwe okuggya Abayisirayeli mu nsi ey'e Misiri.”
14
Bano be bakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe: Rewubeeni omwana omubereberye owa Yisirayeli, yalina abaana be: Hanoki ne Pallu ne Hezirooni, ne Karumi. Abo be b'omu Kika kya Rewubeeni.
15
Abaana ba Simyoni be bano: Yemweli, ne Yamini, ne Ohadi ne Yakini, ne Zohari ne Sawuuli, omwana w'omukazi Omukanaani. Abo be b'omu Kika kya Simyoni.
16
Gano ge mannya g'abaana ba Leevi nga bwe baddiŋŋanwako mu kuzaalibwa: Gerusooni ne Kohati, ne Merari. Leevi yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu.
17
Gerusooni yazaala Libuni ne Simeeyi, abaasibukamu abazzukulu abangi.
18
Kohati yazaala Amuraamu ne Yizuhaari ne Heburooni ne Wuzziyeeli. Kohati yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu esatu.
19
Merari yazaala Mahuli ne Musi. Abo be b'ennyumba ya Leevi wamu ne bazzukulu baabwe.
20
Amuraamu n'awasa Yokebedi ssengaawe, n'amuzaalira Arooni ne Musa. Amuraamu yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu.
21
Yizuhaari yazaala Koora ne Nefegi ne Zikiri.
22
Wuzziyeeli yazaala Misayeli ne Elizafani ne Sitiri.
23
Arooni yawasa Eliseeba, muwala wa Amminadabu era mwannyina Nahusooni, n'amuzaalira Nadabu ne Abihu ne Eleyazaari ne Yitamaari.
24
Koora yazaala Assira ne Elukaana ne Abiyasaafu. Abo be b'omu lunyiriri lwa Koora.
25
Eleyazaari omwana wa Arooni, n'awasa muwala wa Putiyeeli, n'amuzaalira Finehaasi. Abo be bakulu b'ennyumba n'ab'ennyiriri z'ekika kya Leevi.
26
Abo ye Arooni ne Musa, Mukama be yagamba nti: “Muggyeeyo ebika by'Abayisirayeli mu nsi y'e Misiri.”
27
Abo be baagamba kabaka w'e Misiri okuggya Abayisirayeli mu Misiri.
28
Ku lunaku Mukama lwe yayogera ne Musa mu nsi y'e Misiri,
29
Mukama yagamba Musa nti: “Nze MUKAMA. Tegeeza kabaka w'e Misiri buli kye nkugamba.”
30
Musa n'agamba Mukama nti: “Nzuuno siri mwogezi mulungi, kale kabaka anampuliriza atya?”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40