bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Exodus 17
Exodus 17
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 18 →
1
Abayisirayeli bonna ne bava mu ddungu ly'e Siini, ne batambula nga bagenda basula, nga Mukama bwe yabalagiranga. Ne basiisira mu Refidiimu, naye tewaaliyo mazzi ga kunywa.
2
Abantu ne bayombesa Musa, ne bagamba nti: “Tuwe amazzi tunywe!” Musa n'abaddamu nti: “Lwaki munnyombesa? Lwaki mugeza Mukama?”
3
Abantu ne balumibwa nnyo ennyonta y'amazzi, ne beemulugunyiza Musa, ne bagamba nti: “Lwaki watuggya e Misiri okutussa ennyonta, ffe n'abaana baffe n'ensolo zaffe?”
4
Musa ne yeegayirira Mukama ng'agamba nti: “Abantu bano mbakolere ki? Banaatera okunkuba amayinja!”
5
Mukama n'agamba Musa nti: “Kwata omuggo gwe wakubya Omugga Kiyira, ogende n'abamu ku bakulembeze b'Abayisirayeli, okulemberemu abantu.
6
Nze nja kuyimirira mu maaso go eyo ku lwazi, ku Lusozi Horebu, ggwe okube olwazi, muveemu amazzi, abantu banywe.” Musa n'akola bw'atyo mu maaso g'abakulembeze b'Abayisirayeli.
7
N'atuuma ekifo ekyo erinnya Massa ne Meriba, kubanga Abayisirayeli baayomba ne bageza Mukama nga bagamba nti: “Mukama ali wamu naffe?”
8
Awo Abameleki ne bajja ne balwana n'Abayisirayeli mu Refidiimu.
9
Musa n'agamba Yoswa nti: “Tulonderemu abasajja, ogende olwane n'Abameleki. Enkya nja kuyimirira ku ntikko y'olusozi, nga nkutte mu ngalo omuggo, Katonda gwe yaŋŋamba okukwatanga.”
10
Yoswa n'akola nga Musa bwe yamulagira, n'agenda n'alwana n'Abameleki. Musa ne Arooni ne Kuri ne balinnya ku ntikko y'olusozi.
11
Musa bwe yayimusanga emikono gye, Abayisirayeli ne bawangula. Bwe yassanga wansi emikono gye, Abameleki ne bawangula.
12
Naye emikono gya Musa ne gitendewererwa. Arooni ne Kuri ne bamuleetera ejjinja n'alituulako. Bo ne bamuyimirira erudda n'erudda, ne bawanirira emikono gye okuginywereza waggulu okutuusa enjuba okugwa.
13
Yoswa bw'atyo n'awangula Ameleki n'abantu be, ng'akozesa ekitala.
14
Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Wandiika ekyo mu kitabo, kiryoke kijjukirwenga, era buulira Yoswa nti ndisaanyizaawo ddala Abameleki ku nsi.”
15
Musa n'azimba alutaari, n'agituuma erinnya “Mukama ye bbendera yange.”
16
N'agamba nti: “Muwanirire ebbendera ya Mukama! Mukama anaalwananga n'Abameleki ennaku zonna.”
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
Recommended Reading
Commentary
Exodus Commentaries
→
Devotional
Exodus Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→