bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Exodus 35
Exodus 35
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 34
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 36 →
1
Musa n'ayita ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli. Ne bakuŋŋaana, n'abagamba nti: “Bino Mukama by'abalagidde mmwe okukola.
2
Ennaku omukaaga ze zinaakolerwangamu emirimu, naye olunaku olw'omusanvu lunaabanga lunaku lwammwe, lukulu lwa kuwummula, oluweereddwayo eri Mukama. Buli anaakolanga omulimu ku lunaku olwo, anattibwanga.
3
Temuukumenga muliro mu nnyumba zammwe ku lunaku olwa Sabbaato.”
4
Musa n'agamba ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli nti: “Kino Mukama ky'alagidde.
5
Muweeyo ekirabo eri Mukama. Buli alina omutima omugabi, aleetere Mukama ekirabo: zaabu, ffeeza n'ekikomo,
6
olugoye olulungi olweru, n'olwa bbululu, n'olwa kakobe, n'olumyufu, n'olukoleddwa mu byoya by'embuzi;
7
amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'embuzi, omuti ogwa akasiya,
8
amafuta g'ettaala, ebyakawoowo ebitabulwa mu muzigo ogusiigibwa, ne mu bubaane obw'okunyookeza;
9
amayinja ag'omuwendo agayitibwa onika, n'amayinja amalala ag'omuwendo, ag'okuwunda ku kkanzu ne ku kyambalo eky'omu kifuba, ebya ssaabakabona.
10
“Buli mukozi omukugu mu mmwe, ajje akole byonna Mukama by'alagidde:
11
Eweema Entukuvu n'eky'okubikkako, amalobo gaayo n'embaawo zaayo, emikiikiro gyayo, n'ebikondo byayo, n'ebinnya byayo;
12
Essanduuko ey'Endagaano n'emisituliro gyayo, n'entebe ey'obusaasizi, n'olutimbe olwawulamu;
13
emmeeza n'emisituliro gyayo, n'ebintu byayo byonna, n'emigaati egiweebwayo eri Katonda,
14
ekikondo ky'ettaala n'ebintu byakyo, ettaala zaakyo n'amafuta g'ettaala;
15
n'ekyoterezo ky'obubaane n'emisituliro gyakyo, omuzigo ogusiigibwa, n'obubaane obw'akawoowo, n'olutimbe olw'omu mulyango gw'Eweema Entukuvu,
16
alutaari eyokerwako ebiweebwayo, era n'ekitindiro kyayo eky'ekikomo; n'emisituliro gyayo, n'ebintu byayo byonna; ebbenseni ne ky'etuulako;
17
entimbe ez'okutimba oluggya, n'ebikondo byalwo n'ebinnya byabyo, n'olutimbe olw'omu mulyango gw'oluggya;
18
enkondo ez'Eweema Entukuvu, n'ez'oluggya, n'emiguwa gyabyo;
19
n'ebyambalo ebirungi ebya bakabona, eby'okuweererezaamu mu Kifo Ekitukuvu, ebyo bye byambalo ebitukuvu, Arooni ne batabani be bye bambala nga baweereza mu bwakabona.”
20
Ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne kiva mu maaso ga Musa.
21
Buli muntu eyayagala, n'aleetera Mukama ekirabo, olw'omulimu ogw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, n'okukola ebyetaagibwa mu yo, era n'okukola ebyambalo bya bakabona.
22
Abasajja n'abakazi bonna abaayagala, ne baleeta ebikwaso, empeta ez'oku matu n'ez'oku ngalo, emikuufu egy'omu bulago, n'eby'omuwendo byonna ebya zaabu, ne babiwaayo eri Mukama.
23
Buli muntu eyalina olugoye olulungi olweru, olwa bbululu, olwa kakobe, olumyufu, n'olukoleddwa mu byoya by'embuzi; amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'embuzi; n'abireeta.
24
Buli muntu eyasobola okuwaayo ekirabo ekya ffeeza oba eky'ekikomo, n'akireetera Mukama. Buli muntu eyalina omuti ogwa akasiya oguyinza okukozesebwa ku mulimu, n'aguleeta.
25
Abakazi bonna abamanyi eby'emikono, ne baleeta engoye eza bbululu, n'eza kakobe, n'Emmyufu, n'enjeru, ze baakola.
26
Era ne bakola engoye mu byoya by'embuzi.
27
Abakulembeze ne baleeta amayinja ag'omuwendo agayitibwa onika n'amalala ag'okuwunda ku kkanzu ne ku kyambalo eky'omu kifuba.
28
Ne baleeta n'ebyakawoowo, n'amafuta, eby'okuteeka mu ttaala, ne mu muzigo ogw'okusiigibwa, ne mu bubaane obuwunya obulungi.
29
Abayisirayeli bonna abasajja n'abakazi abaayagala okubaako bye baleeta ebyetaagibwa ku mulimu, Mukama gwe yalagira Musa okukola, ne babireetera Mukama, awatali kuwalirizibwa.
30
Musa n'agamba Abayisirayeli nti: “Mukama alonze Bezaleeli, mutabani wa Wuuri, era muzzukulu wa Huri, ow'omu Kika kya Yuda.
31
Katonda amujjuzizza mwoyo we, era amuwadde amagezi n'okutegeera, era n'okumanya okukola emirimu egya buli ngeri,
32
n'okutetenkanya eby'okukola mu zaabu ne mu ffeeza ne mu kikomo;
33
n'okusala amayinja ag'omuwendo ag'okuwanga, n'okwola emiti, n'okukola emirimu egy'amagezi egya buli ngeri.
34
Mukama amuwadde ye, ne Oholiyaabu, mutabani wa Ahisamaki, ow'omu Kika kya Daani, amagezi okuyigiriza abalala.
35
Abawadde amagezi okukola emirimu egya buli ngeri, egikolebwa abasazi b'amayinja n'abayiiya; n'abalusi b'engoye ennungi eza bbululu, n'eza kakobe, n'Emmyufu, n'engoye endala. Basobola okukola emirimu gyonna egya buli ngeri, era n'okuyiiya eby'amagezi.
← Chapter 34
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 36 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40