bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Chronicles 10
1 Chronicles 10
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 11 →
1
Awo Abafirisuuti ne balwana ne Isiraeri ku lusozi Girubowa. Abaisiraeri bangi ne battibwa, abasigalawo nga mwe muli ne kabaka Sawulo ne batabani be ne badduka.
2
Abafirisuuti ne bawondera Sawulo ne batabani be, ne batta batabani be abasatu: Yonasaani, Abinadaabu ne Malukisuwa.
3
Olutalo neruba lwa maanyi nnyo awaali Sawulo. Abalasi ne bamulasa obusaale n'alumizibwa nnyo.
4
Awo Sawulo n'agamba oyo eyasitulanga eby'okulwanyisa bye nti Sowola ekitala kyo onfumite onzitte; abatali bakomole abo baleme okujja ne banswaza. Naye eyasitulanga eby'okulwanyisa bye n'agaana; kubanga yatya nnyo. Sawulo kyeyava addira ekitala kye n'akyetungako naafa.
5
Awo eyasitulanga eby'okulwanyisa bye bwe yalaba Sawulo ng'afudde, era naye kyeyava addira ekitala kye n'akyetungako n'afa.
6
Sawulo n'afa bw'atyo ne batabani be bonsatule; n'ab'omu nnyumba ye bonna ne bafiira wamu.
7
Abaisiraeri abaali mu kiwonvu bwe baalaba ng'eggye lya Isiraeri lidduse era nga Sawulo ne batabani be bafudde, ne baabulira ebibuga byabwe, ne badduka. Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu.
8
Awo olwatuuka ku lunaku olwaddirira, Abafirisuuti bwe bajja okwambula abattiddwa, ne basanga Sawulo ne batabani be nga bafiridde ku lusozi Girubowa.
9
Sawulo ne bamwambula, ne bamutemako omutwe, ne bagutwala awamu n'eby'okulwanyisa bye. Ne batuma ababaka wonna mu nsi y'Abafirisuuti, okutuusaayo amawulire ago, eri ebifaananyi bye basinza, ne mu bantu.
10
Ne bateeka eby'okulwanyisa bye mu ssabo lya bakatonda baabwe, ne basimba omutwe gwe mu ssabo lya Dagoni.
11
Awo ab'e Yabesugireyaadi bonna bwe baawulira byonna Abafirisuuti bye bakoze Sawulo,
12
abazira bonna ne bagolokoka ne baggyayo omulambo gwa Sawulo n'emirambo gya batabani be, ne bagireeta e Yabesi, ne baziika amagumba gaabwe wansi w'omwera e Yabesi, ne basiibira ennaku musanvu.
13
Bw'atyo Sawulo n'afa olw'okusobya kwe, kwe yasobya Mukama, olw'ekigambo kya Mukama ky'ataakwata; n'okugenda okwebuuza ku mukazi eyaliko omuzimu,
14
n'atebuuza eri Mukama: Mukama kyeyava amutta, n'akyusa obwakabaka n'abuwa Dawudi mutabani wa Yese.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29