bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Chronicles 23
1 Chronicles 23
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 24 →
1
Awo Dawudi yali ng'akaddiye era ng'awangadde ennaku nnyingi; n'afuula Sulemaani mutabani we kabaka wa Isiraeri.
2
Kabaka Dawudi n'akuŋŋaanya abakulu bonna aba Isiraeri ne bakabona n'Abaleevi.
3
Abaleevi bonna abawezezza emyaka asatu (30) n'okusingawo ne babalibwa: n'omuwendo gwabwe kinnoomu gwali emitwalo esatu mu kanaana (38,000).
4
Ku abo emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000), ba kulabirira mulimu gwa mu nnyumba ya Mukama; n'akakaaga (6,000), n'abawa gwa bwami n'akusalanga misango,
5
enkumi nnya (4,000), n'abawa gwa buggazi; era nate enkumi nnya (4,000), n'abawa gwa kutenderezanga Mukama n'ebivuga kabaka bye yateekawo olw'omulimu ogwo.
6
Dawudi n'abagabanya mu mpalo ng'abaana ba Leevi bwe baali; Gerusoni, Kokasi, ne Merali.
7
Batabani ba Gerusoni baali; Ladani ne Simeeyi.
8
Batabani ba Ladani baali basatu; omukulu ye Yekyeri, ne Zesamu, ne Yoweeri.
9
Batabani ba Simeeyi baali basatu (3). Seromosi, ne Kaziyeri, ne Kalani. Abo be baali emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe abasibuka mu Ladani.
10
Ne batabani ba Simeeyi, baali bana era be bano: Yakasi, Zina, ne Yewusi, ne Beriya.
11
Yakasi ye yali omukulu, ne Ziza ye yali ow'okubiri; naye Yewusi ne Beriya tebaalina baana bangi; kyebaava babalibwa ng'ennyumba emu eya bakitaabwe.
12
Batabani ba Kokasi baali bana (4) era be bano: Amulaamu, Izukali, Kebbulooni, ne Wuziyeeri.
13
Batabani ba Amulaamu baali: Alooni ne Musa; Alooni n'ayawulibwa atukuzenga ebintu ebitukuvu ennyo, ye ne batabani be emirembe gyonna, okwoterezanga obubaane mu maaso ga Mukama, okumuweerezanga, n'okusabanga omukisa mu linnya lye emirembe gyonna.
14
Naye Musa omusajja wa Katonda, batabani be baabalirwa mu kika kya Leevi.
15
Batabani ba Musa baali; Gerusomu ne Eryeza.
16
Sebweri ye yali mutabani wa Gerusomu omukulu.
17
Eryeza yalina mutabani we omu yekka ye Lekabiya. Eryeza n'ataba na baana balala ba bulenzi; kyokka batabani ba Lekabiya ne baba bangi nnyo.
18
Seromisi ye yali mutabani wa Izukali omukulu.
19
Kebbulooni yalina batabani be bana; Yeriya omukulu, Amaliya ow'okubiri, Yakaziyeeri ow'okusatu, ne Yekameyamu ow'okuna.
20
Batabani ba Wuziyeeri baali; Mikka omukulu, ne Issiya ye w'okubiri.
21
Batabani ba Merali baali; Makuli ne Musi. Batabani ba Makuli baali; Eriyazaali ne Kiisi.
22
Eriyazaali n'afa, nga talina baana ba bulenzi, wabula ab'obuwala abeereere; Bannyinaabwe batabani ba Kiisi ne babawasa.
23
Batabani ba Musi baali basatu be bano: Makuli, Ederi, ne Yeremoosi.
24
Abo be baali batabani ba Leevi ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, era nga be bakulira ennyumba ezo. Bonna abaabalibwa ku bo, omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, abawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo ne bawandiikibwa nga be b'okukola omulimu ogw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Mukama.
25
Kubanga Dawudi yayogera nti, “Mukama Katonda wa Isiraeri awadde abantu be emirembe; era abeera mu Yerusaalemi emirembe gyonna.
26
N'olwekyo Abaleevi tekikyabagwaniranga kusitula eweema n'ebintu byonna ebikozesebwa olw'okuweereza kwayo.”
27
Kubanga mu bigambo bya Dawudi eby'enkomerero yalagira abaana ba Leevi, abawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo be baba babalibwa.
28
Kubanga omulimu gwabwe gwali gwa kuyambanga batabani ba Alooni olw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Mukama, mu mpya zaayo ne mu bisenge, ne mu kutukuzanga ebintu byonna ebitukuvu, gwe mulimu ogw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Katonda;
29
era n'okulabiriranga emigaati egy'okulaga n'olw'obutta obulungi obw'ekiweebwayo eky'obutta, oba migaati gya mpewere egitazimbulukuswa oba ekyo ekisiikibwa ku kikalango, oba ekyo ekinnyikibwa, n'olw'engeri zonna ekigero bwe kyenkana n'obunene nga bwe bwenkana;
30
balinanga n'okuyimiriranga buli nkya okwebazanga n'okutenderezanga Mukama, era n'okukola bwe batyo buli akawungeezi;
31
n'okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa byonna eri Mukama, ku Ssabbiiti, n'emyezi nga kye gijje giboneke, ne ku mbaga ezaateekebwawo, omuwendo gwabyo ng'ekiragiro kyabyo bwe kiri, obutayosanga mu maaso ga Mukama:
32
era bakuumenga eweema ey'okusisinkanirangamu gye baateresebwa, n'ekifo ekitukuvu kye baateresebwa, n'ebyo batabani ba Alooni baganda baabwe bye baateresebwa, olw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Mukama.
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29