bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Chronicles 14
1 Chronicles 14
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 15 →
1
Kiramu kabaka w'e Ttuulo n'atumira Dawudi ababaka, n'amuweereza emivule, abazimbi b'amayinja, n'ababazzi, okumuzimbira ennyumba.
2
Awo Dawudi n'ategeera nga Mukama amunywezezza okuba kabaka wa Isiraeri, kubanga obwakabaka bwe yabugulumiza ku lw'abantu be Isiraeri.
3
Awo Dawudi ng'ali e Yerusaalemi, ne yeeyongera okuwasa abakazi abalala n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
4
Gano ge mannya g'abaana be yazaalira e Yerusaalemi; Sammuwa, Sobabu, Nasani, Sulemaani;
5
Ibukali, Eriswa, Erupereti;
6
Noga, Nefegi, Yafiya;
7
Erisaama, Beeriyadda ne Erifereti.
8
Awo Abafirisuuti bwe baawulira Dawudi ng'afukiddwako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri yenna, ne bambuka okumuwamba: Dawudi bwe yakiwulira n'agenda abalwanyise.
9
Era Abafirisuuti, baali bamaze okuzinda ekiwonvu Lefayimu.
10
Dawudi n'abuuza Katonda ng'ayogera nti Ntabaale Abafirisuuti? era onoobagabula mu mukono gwange? Mukama n'amuddamu nti Tabaala; kubanga ndibagabula mu mukono gwo.
11
Awo Dawudi n'abalwanyisa, n'abawangulira e Baaluperazimu; Dawudi n'ayogera nti Katonda amenye abalabe bange n'omukono gwange ng'amazzi bwe gamenya ebbibiro. Ekifo ekyo kyebaava bakituuma erinnya Baaluperazimu.
12
Abafirisuuti bwe badduka ne baleka eyo bakatonda baabwe ab'ebifaananyi; Dawudi n'alagira ne babookya omuliro.
13
Abafirisuuti ne bazinda nate ekiwonvu olwokubiri.
14
Dawudi nate n'abuuza Katonda; Katonda n'amuddamu; Tobawondera: kyuka obaveeko. Naye weetooloole obalumbe nga ofuluma mu maaso g'emitugunda.
15
Awo bw'onoowulira enswagiro ku masanso g'emitugunda, n'olyoka olumba, kubanga nze Katonda nkukulembeddemu okuwangula eggye ly'Abafirisuuti.
16
Dawudi n'akola nga Katonda bwe yamulagira: ne bakuba eggye ery'Abafirisuuti ne baliwangula okuva e Gibyoni okutuuka e Gezeri.
17
Ettutumo lya Dawudi ne libuna ensi zonna; Mukama n'aleetera amawanga gonna okutya Dawudi.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29