bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Chronicles 24
1 Chronicles 24
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 25 →
1
Empalo za batabani ba Alooni zaali bwe ziti. Batabani ba Alooni; Nadabu ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali.
2
Naye Nadabu ne Abiku ne basooka kitaabwe okufa nga tebalina baana; Eriyazaali ne Isamaali kyebaava bakola omulimu ogw'obwakabona.
3
Dawudi wamu ne Zadoki ow'oku batabani ba Eriyazaali ne Akimereki ow'oku batabani ba Isamaali ne baawulamu bakabona ebibinja bye banaakolerangamu okuweereza kwabwe.
4
Awo ne walabika abasajja abakulu bangi ku batabani ba Eriyazaali, okusinga ab'oku batabani ba Isamaali; era bwe bati bwe baabawulamu: ku batabani ba Eriyazaali bayawulwamu ennyumba kkumi na mukaaga (16), nga be bakulu be nnyumba za bakitaabwe; ne ku batabani ba Isamaali, nabo bayawulibwamu ennyumba munaana (8) nga be bakulu be nnyumba za bakitaabwe.
5
Olw'okubanga waaliwo abakulira ekifo ekitukuvu, n'abakulira okusinza ku njuyi zombi; ku batabani ba Eriyazaali era ne ku batabani ba Isamaali; emirimu gyonna gyagabibwanga nga bakuba bululu.
6
Awo Semaaya mutabani wa Nesaneeri omuwandiisi ow'oku Baleevi, n'abawandiikira mu maaso ga kabaka, n'abakungu ne Zadoki kabona ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali; ng'obukulu bw'ennyumba za bakitaabwe eza bakabona n'Abaleevi bwe zaali; akalulu akamu nga kalonderwa ennyumba ya Eriyazaali, n'akalala n'ekalonderwa ennyumba ya Isamaali.
7
Awo akalulu ak'olubereberye ne kagwa ku, Yekoyalibu, ak'okubiri ku Yedaya;
8
ak'okusatu ku Kalimu, ak'okuna ku Seyolimu;
9
ak'okutaano ku Malukiya; ak'omukaaga ku Miyamini;
10
ak'omusanvu ku Kakkozi, ak'omunaana ku Abiya;
11
ak'omwenda ku Yesuwa; ak'ekkumi (10) ku Sekaniya;
12
ak'ekkumi n'akamu (11) ku Eriyasibu, n'ak'ekkumi n'obubiri (12) ku Yakimu;
13
ak'ekkumi n'obusatu (13) ku Kuppa, ak'ekkumi n'obuna (14) ku Yesebeyabu;
14
ak'ekkumi n'obutaano (15) ku Biruga, ak'ekkumi n'omukaaga (16) ku Immeri;
15
ak'ekkumi n'omusanvu (17) ku Keziri, ak'ekkumi n'omunaana (18) ku Kapizzezi;
16
ak'ekkumi n'omwenda (19) ku Pesakiya, ak'abiri (20) ku Yekezukeri;
17
ak'abiri mu kamu (21) ku Yakini, ak'abiri mu obubiri (22) ku Gamuli;
18
ak'abiri mu obusatu (23) ku Deraya, ak'abiri mu obuna (24) ku Maaziya.
19
Bino bye byali ebisanja byabwe mu kuweereza kwabwe, okuyingiranga mu nnyumba ya Mukama ng'ekiragiro bwe kyali kye baaweebwa Alooni jjajjaabwe, nga Mukama Katonda wa Isiraeri bwe yali amulagidde.
20
Bano be batabani ba Leevi abalala: ku batabani ba Amulaamu, Subayeri; ku batabani ba Subayeri, Yedeya.
21
Ku batabani ba Lekabiya: mutabani we Issiya ye mukulu.
22
Ku batabani ba Bayizukali, mutabani we Seromosi; ku batabani ba Seromosi, mutabani we Yakasi.
23
Ne batabani ba Kebbulooni; mutabani we Yeriya ye mukulu, Amaliya ye w'okubiri, ne Yakaziyeeri ye w'okusatu, Yekameyamu ye w'okuna.
24
Ku batabani ba Winziyeeri, mutabani we Mikka; ku batabani ba Mikka, mutabani we Samiri.
25
Muganda wa Mikka, yali Issiya: ku batabani ba Issiya, mutabani we Zekkaliya.
26
Ku batabani ba Merali; Makuli ne Musi: ne ku batabani ba Yaaziya; mutabani we Beno.
27
Ku batabani ba Merali; mutabani we Yaaziya; era Yaaziya yalina batabani be bana be bano: Beno ne Sokamu, ne Zakkuli, ne Ibuli.
28
Ku batabani ba Makuli; Eriyazaali, teyazaala baana ba bulenzi.
29
Ku batabani ba Kiisi; mutabani we Yerameeri.
30
Ne batabani ba Musi; baali Makuli ne Ederi, ne Yerimoosi. Abo be baali batabani b'Abaleevi ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali.
31
Era ne bano bwe batyo ne bakuba obululu nga baganda baabwe batabani ba Alooni bwe bakola mu maaso ga Dawudi kabaka, ne Zadoki ne Akimereki; n'abakulu b'ennyumba za bakitaabwe eza bakabona n'Abaleevi; nga ennyumba za bakitaabwe ey'omukulu efaanana n'eya muganda we omuto.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29