bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Chronicles 12
1 Chronicles 12
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 13 →
1
Dawudi bwe yali e Zikulagi ng'akyekwese kabaka Sawulo mutabani wa Kiisi, bano be bajja gy'ali ne bamwegattako, era be bamu ku batabaazi abaamuyambanga mu ntalo ze yalwananga.
2
Baali ba mu kika kya Benyamini nga Sawulo bwe yali. Baakwatanga emitego gy'obusaale n'envuumuulo, nga basobola bulungi okulasa obusaale n'okuvuumuula amayinja nga bakozesa omukono ogwa ddyo era n'ogwa kkono.
3
Baali bakulirwa Akiyezeeri, ng'addirirwa Yowaasi, bombi abo nga batabani ba Semaa ow'e Gibeya. Abasserikale abo be bano: Yeziyeri ne Pereti batabani ba Azumavesi, Beraka ne Yeeku ow'e Anasosi.
4
Isumaya Omugibyoni, omusajja ow'amaanyi mu abo asatu (30) era omukulembeze waabwe. Yeremiya ne Yakaziyeeri, ne Yokanani, ne Yozabadi ow'e Gederi;
5
Eruzayi ne Yerimoosi, ne Beyaliya ne Semaliya, ne Sefatiya ow'e Kalufu.
6
Erukaana ne Issiya, ne Azaleeri ne Yowezeeri, ne Yasobeyamu abasibuka mu Koola.
7
Yowera ne Zebadiya, batabani ba Yerokamu ow'e Gedoli.
8
Mu kika kya Gaadi mwavaamu abasajja abaagoberera Dawudi mu ddungu gye yali akoze ekifo ekigumu, abasajja ab'amaanyi abazira, abaayigirizibwa okulwanyisa engabo n'amafumu, abatunuza obukambwe nga empologoma, abasobola okudduka nga empeewo z'okunsozi;
9
abakulira yali Ezeri, amuddirira Obadiya, ow'okusatu Eriyaabu,
10
ow'okuna Misumanna, ow'okutaano Yeremiya,
11
ow'omukaga Attayi, ow'omusanvu Eriyeri,
12
ow'omunaana Yokanani, ow'omwenda Eruzabadi;
13
ow'ekkumi Yeremiya, n'ow'ekkumi n'omu Makubannayi.
14
Ab'omu kika kya Gaadi abo, be baali abakulu mu ggye, nga mu bo ow'amaanyi amatono asobola okulwanyisa abantu kikumi (100), ate asinga okuba ow'amaanyi, ng'asobola okulwanyisa abantu lukumi (1,000).
15
Abo be baasomoka omugga Yoludaani, mu mwezi ogusooka mu mwaka, mu kiseera omugga ogwo mwe gwanjaalira ku mbalama zaagwo zonna, ne bagoba abatuuze bonna ab'omu biwonvu ne babasaasaanyiza ebuvanjuba era n'ebugwanjuba w'omugga.
16
Awo ab'omu kika kya Benyamini n'ekya Yuda ne bagenda eri Dawudi mu ddungu eyali ekigo kye ekigumu.
17
Dawudi n'avaayo okubasisinkana, n'abagamba nti, “Oba nga muzze lwa bulungi gye ndi okunnyamba, mbaanirizza. Naye oba nga muzze kundyamu lukwe mumpeeyo eri abalabe bange nga tewali kabi ke nkoze, Katonda wa bajjajjaffe, akirabe ababonereze.”
18
Mwoyo wa Mukama n'ajja ku Amasayi, omukulu wa bali asatu (30), n'agamba nti Tuli babo, Dawudi. Tuli ku ludda lwo, mutabani wa Yese! Mirembe, emirembe gibe naawe. Era gibe n'abo abakuyamba. Kubanga Katonda wo ye muyambi wo. Awo Dawudi n'abaaniriza, n'abafuula bakulu mu ggye lye.
19
Abaava mu kika kya Manase ne begatta ku Dawudi bwe yali nga agenda n'Abafirisuuti okulwanyisa Sawulo; Abafirisuuti ne bamugoba nga batya nti ayinza okubalyamu olukwe n'abawaayo eri Sawulo ne babatemako emitwe.
20
Ku b'ekika kya Manase abeegatta ku Dawudi bwe yali nga agenda e Zikulagi be bano: Aduna, Yozabadi, Yediyayaeri, Mikayiri, Yozabadi, Eriku ne Zirresayi, abaduumiranga abasserikale olukumi lukumi mu ggye lya Manase.
21
Ne bayamba Dawudi okulwanyisa abakwekwesi, kubanga bonna baali basajja ba maanyi abazira, era nga bakulu mu ggye.
22
Buli lunaku wabangawo abeegatta ku Dawudi okumuyamba, okutuusa lwe baafuuka eggye eddene erifaanana eggye lya Katonda.
23
Bino bye bibinja by'abaserikale abajja eri Dawudi e Kebbulooni nga bakutte eby'okulwanyisa, okumuyamba okufuuka kabaka mu kifo kya Sawulo ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali.
24
Abaava mu kika kya Yuda abasobola okulwanyisa engabo n'amafumu baali kakaaga mu lunaana (6,800).
25
Ab'omu kika kya Simyoni abasajja ab'amaanyi abazira baali kasanvu mu kikumi (7,100).
26
Ab'omu kika kya Leevi baali enkumi nnya mu lukaaga (4,600).
27
Yekoyaada ye yali omukulembeze w'abo abasibuka mu nnyumba Alooni, yajja n'abasserikale enkumi ssatu mu lusanvu (3,700).
28
Zadoki, omuvubuka ow'amaanyi omuzira, n'abasserikale abaava mu nnyumba ya kitaawe baali abiri mu babiri (22).
29
Ab'omu kika kya Benyamini abaalina oluganda ku Sawulo baali enkumi ssatu (3,000), kubanga okutuusa mu kiseera ekyo abasinga obungi mu kika ekyo baali bakyanyweredde ku nnyumba ya Sawulo.
30
N'ab'omu kika kya Efulayimu abasajja ab'amaanyi abazira abaayatiikirira mu nnyumba za bajjajjaabwe baali emitwalo ebiri mu lunaana (20,800).
31
N'abo kitundu ky'ekika kya Manase abaalondebwa okujja okufuula Dawudi kabaka baali omutwalo gumu mu kanaana (18,000).
32
Ab'omu kika kya Isakaali abasajja abaategeera ebiro bwe biri, era abamanyanga Isiraeri kyagwanidde okukola, era abaagonderwanga baganda baabwe bonna baali bibiri (200).
33
Ab'omu kikya kya Zebbulooni abasobola okulwana nga bamalirivu nga bakozesa eby'okulwanyisa eby'engeri zonna emitwalo etaano (50,000).
34
Ab'omu kika kya Nafutaali baali abakulembeze lukumi (1,000) abalina abasserikale babwe abakwata engabo n'amafumu baali emitwalo esatu mu kasanvu (37,000).
35
Ab'omu kika kya Daani abaayinza okulwana baali emitwalo ebiri mu kanaana mu lukaaga (28,600).
36
Ab'omu kika kya Aseri abaayinza okulwana baali emitwalo ena (40,000).
37
N'abava mu bika ebyali ebuvanjuba wa Yoludaani, ekya Lewubeeni, ekya Gaadi n'ekitundu ky'ekika kya Manase, abasobola okulwana nga bakozesa eby'okulwanyisa eby'engeri zonna baali akasiriivu mu emitwalo ebiri (120,000).
38
Abo be basajja abalwanyi abaali abamalirivu okulwana era abeegattibwako n'aba Isiraeri abalala bonna abamalirivu abagenda e Kebbulooni okufuula Dawudi kabaka wa Isiraeri yonna.
39
Ne bamalayo ennaku ssatu nga bali ne Dawudi, nga balya era nga banywa ebyo baganda baabwe bye baali babategekedde.
40
Abantu abaali ab'okumpi, n'abaali ab'ewala ng'ab'ebika ekya Isakaali, n'ekya Zebbulooni, n'ekya Nafutaali, ne baleeta endogoyi, eŋŋamira, ennyumbu, n'ente nga zeetisse emigaati, eby'okulya eby'obutta, ebitole byettini, ebirimba bye zabbibu enkalu, omwenge n'amafuta g'emizeyituni. Ne baleeta n'ente n'endiga nnyingi ez'okutta okulya, kubanga mu Isiraeri yonna mwalimu essanyu.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29