bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Chronicles 4
1 Chronicles 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 5 →
1
Bano be batabani ba Yuda; Pereezi, Kezulooni, Kalumi, Kuuli ne Sobali.
2
Sobali n'azaala Leyaya; Leyaya n'azaala Yakasi; Yakasi n'azaala Akumayi ne Lakadi. Ezo ze nda omusibuka abatuuze be Zora.
3
Etamu yazaala abaana ab'obulenzi basatu. Yezuleeri, Isuma ne Idubasi. Abo baalina mwannyinaabwe erinnya lye Kazzereruponi.
4
Penueri ye kitaawe wa Gedoli, ne Ezeri ye kitaawe wa Kusa. Abo be batabani ba Kuuli omubereberye wa Efulaasa, kitaawe wa Besirekemu.
5
Asukuli kitaawe wa Tekowa yalina abakazi babiri, Keera ne Naala.
6
Naala n'amuzaalira Akuzzamu, Keferi, Temeni ne Kaakasutali.
7
Ne batabani ba Keera be bano; Zeresi, Izukaali, ne Esunani.
8
Kakkozi n'azaala Anubu, ne Zobeba, n'enda za Akalukeri mutabani wa Kalumu.
9
Yabezi yali wa kitiibwa kinene okusinga baganda be: nnyina kyeyava amutuuma erinnya eryo kubanga yamuluma nnyo ng'amuzaala.
10
Yabezi neyegayiriranga Katonda wa Isiraeri ng'asaba nti Singa ompeeredde ddala omukisa, n'ogaziya ensalo yange, n'ombeeranga n'onkuuma, buli kabi kaleme nga okuntukako! Awo Katonda n'amuwa kye yasaba.
11
Kerubu muganda wa Suwa n'azaala Mekiri, Mekiri n'azaala Esutoni.
12
Esutoni n'azaala Besulafa, ne Paseya, Tekina n'azaala Irunakasi. Abasibuka mwabo be batuuze be Leka.
13
Batabani ba Kenazi; Osunieri ne Seraya: ne mutabani wa Osunieri ye Kasasi.
14
Myonosaayi n'azaala Ofula: Seraya n'azaala Yowaabu kitaawe wa Gekalasimu; Yowaabu oyo yasibukamu bafundi ab'omu kiwonvu.
15
Batabani ba Kalebu mutabani wa Yefune be bano: Iru, Era ne Kenazi; Era n'azaala Kenazi.
16
Batabani ba Yekalereri be bano: Zifu, Zifa, Tiriya ne Asaleri.
17
Batabani ba Ezula: Yeseri, ne Meredi, ne Eferi, ne Yaloni. Meredi yawasa Bisiya muwala w'e Misiri, ne bazaala omuwala Miryamu n'abalenzi babiri: Sammayi ne Isuba. Isiba oyo ye kitaawe wa Esutemoa.
18
Meredi yawasa n'omukazi Omuyudaaya, ne bazaala abalenzi basatu: Yeredi kitaawe wa Gedoli, Keberi kitaawe wa Soko, ne Yekusyeri kitaawe wa Zanowa.
19
Kodiya yawasa mwannyina Nakamu. Batabani ba muka Kodiya oyo be basibukamu Keyira Omugalumi ne Esutemoa ow'e Maakasi.
20
Batabani ba Simooni be bano: Amunoni, Linna, Benikanani ne Tironi. Batabani ba Isi be bano: Zokesi ne Benizokesi.
21
Seera mutabani Yuda, yazaala Eri: Eri yazaala Leka ne Laada n'azaala Malesa n'ab'olulyo lwabo abaalukanga bafuta ennungi ab'ennyumba ya Asubeya.
22
Yokimu n'abatuuze ab'e Kozeba, ne Yowaasi ne Salafu abaafuganga mu Mowaabu ne Yasubirekemu. Ebyo byabaawo dda nnyo.
23
Abantu abo baali babumbi abakolera kabaka era nga babeera mu Netayimu ne mu Gedera.
24
Bano be batabani ba Simyoni: Nemweri, Yanini, Yalibu ne Zeera.
25
Sawuli n'azaala Sallumu; Sallumu n'azaala Mibusamu; Mibusamu n'azaala Misuma.
26
Bano be batabani ba Misuma; Kammweri, Zakkuli ne Simeeyi;
27
Simeeyi n'azaala abaana ab'obulenzi kkumi na mukaaga (16) n'ab'obuwala mukaaga; naye baganda be tebaazaala baana bangi, so n'ekika kyabwe kyonna tekyayala okwenkana abaana ba Yuda.
28
Abasibuka mu Simyoni baasenga mu bibuga Beeruseba, Molada, Kazalusuali,
29
Biruka, Ezemu, Toladi,
30
Bessweri, Koluma ne Zikulagi,
31
Besumalukabosi, Kazalususimu, Besubiri ne Saalayimu. Ebyo bye byali ebibuga byabwe okutuusa Dawudi lwe yafuuka kabaka.
32
Era ebyalo byabwe byali Etamu, ne Ayini, Limmoni, ne Tokeni, ne Asani, byonna wamu bitaano,
33
era n'ebitundu ebyetoolodde ebyalo ebyo okutuuka e Baali. Mu ebyo mwe baabeeranga. Bajjajjaabwe be bano:
34
Mesobabu ne Yamuleki, ne Yosa mutabani wa Amaziya,
35
ne Yoweeri, ne Yeeku mutabani wa Yosibiya, Yosibiya mutabani wa Seraya, Seraya mutabani wa Asyeri,
36
ne Eriwenayi, ne Yaakoba, ne Yesokaya, ne Asaya, ne Adyeri, ne Yesimyeri, ne Benaya,
37
ne Ziza mutabani wa Sifi, era muzzukulu wa Alloni. Alloni yali mutabani wa Yedaya era muzzukulu wa Simuli, Simuli mutabani wa Semaaya.
38
Abo abamenyeddwa amannya baabanga bakulu mu bika byabwe: n'ennyumba za bajjajjaabwe ne zeyongera nnyo okwala.
39
Ne bagenda awayingirirwa mu Gedoli, ku luuyi lw'ekiwonvu olw'ebuvanjuba, okunoonyeza ebisibo byabwe omuddo.
40
Ne balaba omuddo omugimu omulungi, ensi yali ngazi era ng'eteredde mirembe; abatuuze baamu abaasooka bali basibuka mu Kaamu.
41
Mu bufuzi bwa kabaka Keezeekiya owa Yuda, abo abamenyeddwa amannya baalumba eweema n'ensiisira z'abatuuze baayo n'ez'Abamewuni be baasangayo ne babasaanyizaawo ddala, ne basengayo mu kifo kyabwe, kubanga waaliyo omuddo ogw'okuliisa amagana gaabwe.
42
Ebikumi bitaano (500) ku bo ne bagenda ku lusozi Seyiri, nga bakulemberwa Peratiya, ne Neyaliya, ne Lefaya, ne Wuziyeeri mutabani wa Isi.
43
Eyo ne battirayo Abamaleki abaali basigaddewo, ne basenga eyo n'okutuusa kati.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29