bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Chronicles 19
1 Chronicles 19
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 20 →
1
Awo oluvannyuma lw'ebyo Nakasi kabaka w'abaana ba Amoni n'afa, mutabani we n'afuga mu kifo kye.
2
Dawudi n'agamba nti Nnakolera eby'ekisa Kanuni mutabani wa Nakasi, kubanga kitaawe yankolera eby'ekisa. Awo Dawudi n'atuma ababaka eri Kanuni okumukubagiza olw'okufiirwa kitaawe. Abaddu ba Dawudi ne bajja mu nsi y'abaana ba Amoni eri Kanuni, okumukubagiza.
3
Naye abakungu b'abaana ba Amoni ne bagamba Kanuni nti Olowooza nga Dawudi assaamu kitaawo ekitiibwa, n'okutuma n'akutumira okukubagiza? Abaddu be tebazze kwetegereza n'okuketta ensi balyoke bagiwambe?
4
Awo Kanuni n'akwata abaddu ba Dawudi, n'abamwako ebirevu, n'asalira ebyambalo byabwe wakati, okukoma ku butuuliro bwabwe, n'abasiibula.
5
Awo abamu ne bagenda ne babuulira Dawudi bye babakoze abasajja abo. N'atumya okubasisinkana kubanga bakwatibwa nnyo ensonyi. Kabaka n'abagamba nti Mubeere e Yeriko okutuusa ebirevu byammwe lwe birikula ne mulyoka mukomawo.
6
Awo abaana ba Amoni bwe baalaba nga banyiziiza Dawudi, Kanuni n'abaana ba Amoni ne baweereza talanta eza ffeeza lukumi (1,000) okupangisa amagaali n'abeebagala embalaasi mu Mesopotamiya ne mu Alamumaaka, ne mu Zoba.
7
Awo ne bapangisa amagaali emitwalo esatu mu enkumi bbiri (32,000), ne kabaka w'e Maaka n'abantu be; ne bajja ne basiisira okwolekera Medeba. Abaana ba Amoni ne bakuŋŋaana okuva mu bibuga byabwe ne bajja okulwana.
8
Awo Dawudi bwe yakiwulira n'aweereza Yowaabu n'eggye lyonna ery'abasajja ab'amaanyi.
9
Abamoni ne bafuluma, ne beeteekerateekera olutalo ku mulyango gw'ekibuga kyabwe ekikulu, ate bakabaka abajja, ne baba bokka mu kitundu eky'ettale.
10
Yowaabu bwe yalaba ng'abalabe bajja kumulumba nga bafuluma mu maaso n'emabega we, n'alonda mu basajja ba Isiraeri abasinga obuzira, n'abategeka okwolekera Abasuuli.
11
N'abantu abalala bonna n'abakwasa Abisaayi muganda we, ne beeteekateeka okulwanyisa abaana ba Amoni.
12
N'agamba nti Abasuuli bwe banansinga amaanyi, onojja n'onnyamba naye abaana ba Amoni bwe banaakusinga amaanyi, kale nze najja nnenkuyamba.
13
Guma omwoyo tulwane masajja ku lw'abantu baffe ne ku lw'ebibuga bya Katonda waffe. Mukama akole nga bw'asiima.
14
Awo Yowaabu n'abalwanyi be yali nabo ne basembera okulwanyisa Abasuuli, Abasuuli ne badduka okuva mu maaso gaabwe.
15
Awo abaana ba Amoni bwe baalaba Abasuuli nga badduse, nabo bwe batyo ne badduka mu maaso ga Abisaayi muganda wa Yowaabu, ne bayingira mu kibuga. Awo Yowaabu n'addayo e Yerusaalemi.
16
Awo Abasuuli bwe baalaba nga bawanguddwa aba Isiraeri, ne batuma ababaka, ne baggyayo Abasuuli abaali emitala w'Omugga, ne Sofaki omukulu w'eggye lya Kadalezeri nga ye mugabe.
17
Ne babuulira Dawudi; n'akuŋŋaanya Isiraeri yenna n'asomoka Yoludaani, n'abatuukako n'asimba ennyiriri okulwana nabo. Awo Dawudi bwe yamala okusimba ennyiriri okulwana n'Abasuuli, ne balwana naye.
18
Abasuuli ne bawangulwa aba Isiraeri; Dawudi n'atta ku Basuuli abasajja abavuzi b'amagaali kasanvu (7,000), n'abatambuza ebigere emitwalo ena (40,000), n'atta Sofaki omukulu w'eggye.
19
Awo abaddu ba Kadalezeri bwe baalaba nga bawanguddwa Isiraeri, ne batabagana ne Dawudi, ne bafuuka baddu, olwo Abasuuli ne batakkiriza kuddayo kuyamba baana ba Amoni lwa kubiri.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29