bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Chronicles 29
1 Chronicles 29
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
1
Dawudi kabaka n'agamba ekibiina kyonna nti, “Sulemaani mutabani wange Katonda gw'alonze yekka akyali mwana muto, n'omulimu munene: kubanga ennyumba egenda okuzimbibwa si ya bantu naye ya Mukama Katonda.
2
Nze nno ntegekedde ennyumba ya Katonda wange n'amaanyi gange gonna zaabu ey'ebintu ebya zaabu, ne ffeeza ey'ebintu ebya ffeeza, ebikomo ne byuma, n'emiti egy'ebintu eby'emiti; amayinja aga onuku n'amayinja ag'okutona, amayinja ag'omulimu ogw'enjola n'ag'amabala mangi, n'amayinja ag'omuwendo omungi ag'engeri zonna, n'amayinja amanyirivu mangi nnyo.
3
Era nate kubanga ntadde okwagala kwange ku nnyumba ya Katonda wange, kubanga nnina obugagga bwange ku bwange obwa zaabu ne ffeeza, mbuwa ennyumba ya Katonda wange, okusukkiriza byonna bye ntegekedde ennyumba entukuvu;
4
mpaddeyo talanta eza zaabu enkumi ssatu (3,000), zaabu ya Ofiri, ne talanta eza ffeeza eyalongoosebwa kasanvu (7,000), okubikka ku bisenge by'ennyumba,
5
n'okukolamu ebintu byonna ebya zaabu, n'ebya ffeeza, abafundi bye balikola. Kale kaakano ani omulala awaayo ku bubwe okwewonga leero eri Mukama?”
6
Awo abakulu b'ennyumba za bakitaabwe n'abakulu b'ebika bya Isiraeri n'abaami b'enkumi n'ab'ebikumi wamu n'abalabirizi b'emirimu gya kabaka, ne bawaayo ku bwabwe;
7
ne bawaayo olw'omulimu ogw'Ennyumba ya Katonda: zaabu talanta enkumi ttaano (5,000) ne daliki omutwalo gumu (10,000), ne ffeeza talanta omutwalo gumu (10,000), n'ebikomo talanta omutwalo gumu mu kanaana (18,000), n'ebyuma talanta kasiriivu (100,000).
8
N'abo abaalabika nga balina amayinja ag'omuwendo omungi ne bagawaayo mu ggwanika ery'Ennyumba ya Mukama eryali lirabirirwa Yekyeri Omugerusoni.
9
Awo abantu bonna ne basanyuka kubanga baawaayo ku byabwe, eri Mukama, nga beeyagalidde n'omutima ogutuukiridde; era ne Dawudi kabaka n'asanyuka nnyo.
10
Dawudi kyeyava yeebaliza Mukama mu maaso g'ekibiina kyonna; Dawudi n'ayogera nti, “Weebazibwe, ayi Mukama, Katonda wa Isiraeri jjajjaffe, emirembe n'emirembe.
11
Obukulu bubwo n'amaanyi n'ekitiibwa n'okuwangula n'okugulumizibwa: kubanga byonna ebiri mu ggulu n'ebiri mu nsi bibyo; obwakabaka bubwo, ayi Mukama, era ogulumizibwa okuba Kabaka asukkulumye era akulira ebintu byonna.
12
Obugagga era n'ekitiibwa biva gyoli, era ggwe ofuga bonna; era mu mukono gwo mwe muli obuyinza n'amaanyi; era mu mukono gwo mwe muli okukuza n'okuwa bonna amaanyi.
13
Kale nno, Katonda waffe, tukwebaza ne tutendereza erinnya lyo ery'ekitiibwa.
14
Naye nze ani n'abantu bange kye ki, ffe okuyinza okuwaayo bwe tutyo ku bwaffe ddala? Kubanga byonna biva gyoli, era tukuwadde ku bibyo.
15
Kubanga ffe tuli bagenyi mu maaso go era batambuze nga bajjajjaffe bonna bwe baali: ennaku zaffe ez'oku nsi ziri ng'ekisiikirize, so si za lubeerera.
16
Ayi Mukama Katonda waffe, ebintu bino byonna bye tutegese okukuzimbira ennyumba enaweesa erinnya lyo ettukuvu ekitiibwa biva mu mukono gwo, era byonna bibyo.
17
Era mmanyi, Katonda wange, nga ggwe okebera mutima era osanyukira amazima. Nze, nga nnina omutima ogw'amazima, mpaddeyo ku bwange bino byonna: era kaakano ndabye abantu bo abali wano nga bawaayo ku bwabwe gyoli ne nsanyuka.
18
Ayi Mukama, Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka, era owa Isiraeri, bajjajjaffe, onyweze kino mu kufumiitiriza kw'ebirowoozo eby'omu mutima gw'abantu bo, oteeketeeke omutima gwabwe gyoli:
19
era ow'e Sulemaani mutabani wange omutima ogutuukiridde okukwata ebiragiro byo, n'ebyo bye wategeeza, n'amateeka go, n'okukola ebyo byonna, n'okuzimba ennyumba eno gye ntegekedde ebintu.”
20
Dawudi n'agamba ekibiina kyonna nti, “Kaakano mwebaze Mukama Katonda wammwe.” Ekibiina kyonna ne beebaza Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, ne bakutama emitwe gyabwe ne basinza Mukama ne kabaka.
21
Ne bawaayo ssaddaaka eri Mukama, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama. Ku lunaku olwaddirira, ne bawaayo: ente lukumi (1,000), endiga ennume lukumi (1,000), n'endiga ento lukumi (1,000), n'ebiweebwayo byakwo eby'okunywa, ne ssaddaaka nnyingi nnyo olwa Isiraeri yenna;
22
ne baliira era ne banywera mu maaso ga Mukama, ku lunaku olwo ne basanyuka nnyo. Ne bafuula Sulemaani mutabani wa Dawudi kabaka omulundi ogwokubiri, ne bamufukako amafuta okubafuganga mu linnya lya Mukama ne Zadoki okuba kabona.
23
Awo Sulemaani n'atuula ku ntebe ey'obwakabaka, Mukama gye yateekawo, n'aba Kabaka mu kifo kya Dawudi kitaawe, n'alaba omukisa; Isiraeri yenna ne bamugondera.
24
Abakulu bonna n'abasajja ab'amaanyi era ne batabani ba Dawudi kabaka bonna ne bagondera Sulemaani kabaka.
25
Mukama n'agulumiza nnyo Sulemaani mu maaso ga Isiraeri yenna era n'amuwa ekitiibwa eky'obwakabaka ekitalabwanga ku kabaka yenna eyamusooka mu Isiraeri.
26
Era Dawudi mutabani wa Yese yafuga Isiraeri yenna.
27
N'ebiro bye yafugira Isiraeri byali emyaka ana (40). Yafugira emyaka musanvu (7) e Kebbulooni, era yafugira emyaka asatu mu esatu (33) mu Yerusaalemi.
28
N'afa ng'akaddiye bulungi, ng'awangadde era nga agaggawadde, nga alina n'ekitiibwa. Sulemaani mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
29
Era ebikolwa bya Dawudi kabaka, ebyasooka n'ebyeyamalirako, laba, byonna byawandiikibwa mu biwandiiko bya Samwiri omulabi ne mu biwandiiko bya Nasani nnabbi ne mu biwandiiko bya Gaadi omulabi.
30
Ebiwandiiko ebyo biraga okufuga kwe kwonna n'amaanyi ge n'ebintu byonna ebyamutuukako n'ebyatuuka ku Isiraeri, n'amatwale gonna ag'ensi ezeetooloddewo.
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29