bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Chronicles 17
1 Chronicles 17
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 18 →
1
Awo olwatuuka Dawudi bwe yali mu nnyumba ye, n'agamba Nasani nnabbi nti Laba, nze mbeera mu nnyumba ey'emivule, naye essanduuko ey'endagaano ya Mukama eri mu weema.
2
Nasani n'agamba Dawudi nti Kola byonna ebiri mu mutima gwo; kubanga Katonda ali wamu naawe.
3
Awo olwatuuka mu kiro ekyo ekigambo kya Katonda ne kimujjira Nasani
4
“Genda ogambe Dawudi omuddu wange nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, ‘Tojja kunzimbira nnyumba ya kubeeramu;
5
kubanga sibeeranga mu nnyumba okuviira ku lunaku lwe nnaggya aba Isiraeri mu Misiri n'okutuusa leero, wabula n'abeeranga mu weema, era n'avanga mu kifo ekimu, ne nzira mu kifo ekirala.
6
Mu bifo byonna gye nnaakatambula ne Isiraeri yenna nali njogedde ekigambo n'omulamuzi yenna ku balamuzi ba Isiraeri, be nnalagira okuliisa abantu bange, nga njogera nti Kiki ekyabalobera okunzimbira ennyumba ey'emivule?’
7
Kale nno bw'otyo bw'onoogamba omuddu wange Dawudi, nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama ow'eggye nti Nnakuggya ku kisibo ky'endiga, okugoberera endiga, obeere omulangira w'abantu bange Isiraeri:
8
era n'abeeranga naawe buli gye wagendanga, ne mmalawo abalabe bo bonna mu maaso go; era ndikuwa erinnya okufaanana erinnya ly'abakulu abali mu nsi.
9
Era ndibateekerawo ekifo abantu bange Isiraeri, era ndibasimba babeere mu kifo kyabwe bo, baleme okujjulukuka nate; so n'abaana b'obubi tebaabazikirizenga nate, ng'olubereberye,
10
era (nga bwe kyali) okuva ku lunaku lwe nnalagira abalamuzi okufuga abantu bange Isiraeri; era ndiwangula abalabe bo bonna. Era nkugamba nga Mukama alikuzimbira ennyumba.
11
Ennaku zo bwe ziriggwako n'ogenda eri bajjajja bo, omu ku batabani bo, ndimussaawo okuba kabaka, era ndinyweza obwakabaka bwe.
12
Oyo ye alinzimbira ennyumba, era ndinyweza entebe y'obwakabaka bwe emirembe gyonna.
13
Nze n'abeeranga kitaawe, naye anaabanga mwana wange: so siimuggyengako kusaasira kwange, nga bwe nnakuggya ku oyo eyakusooka:
14
naye n'amutuuzanga mu nnyumba yange ne mu bwakabaka bwange emirembe gyonna: n'entebe ye eneenywezebwanga emirembe gyonna.”
15
Ng'ebigambo ebyo byonna bwe byali era ng'okwolesebwa okwo kwonna bwe kwali, bw'atyo Nasani bwe yagamba Dawudi.
16
Awo kabaka Dawudi n'ayingira mu weema, n'atuula mu maaso ga Mukama; n'agamba nti Ayi Mukama Katonda, nze n'ab'ennyumba yange tetusaanidde bino byonna bye wankolera.
17
Era ekigambo kino kyali kitono mu maaso go, ayi Katonda; ate oyogedde ne ku bantu ab'ennyumba y'omuddu wo nga bwe baliba mu biro ebingi ebigenda okujja, era onkuzizza, ayi Mukama Katonda n'onfuula omuntu ow'ekitiibwa ennyo.
18
Kale ate kiki ekirala nze Dawudi omuddu wo ky'enyinza okukugamba olw'ekitiibwa ky'onzisizaamu! Kubanga ggwe omanyi omuddu wo.
19
Ayi Mukama okoledde omuddu wo ebintu bino byonna ebikulu n'obimanyisa nga ggwe bw'oyagala.
20
Ayi Mukama, tewali akufaanana, so tewali Katonda wabula ggwe, nga byonna bwe biri bye twawulira n'amatu gaffe.
21
Era ggwanga ki erimu eriri mu nsi erifaanana abantu bo Isiraeri, ggwe Katonda be wagenda n'ob'enunulira okuba eggwanga, okwefunira erinnya n'ebigambo eby'entiisa ng'ogoba amawanga mu maaso g'abantu bo, be wanunula ng'obaggya e Misiri?
22
Kubanga abantu ba Isiraeri wabafuula abantu bo emirembe gyonna naawe, Mukama, n'ofuuka Katonda waabwe.
23
Kale nno, ayi Mukama, ekigambo ky'oyogedde ku muddu wo ne ku nnyumba ye kinywezebwenga emirembe gyonna, era okolanga nga bw'oyogedde.
24
N'erinnya lyo linywezebwenga ligulumizibwenga emirembe gyonna, nga boogera nti Mukama ow'eggye ye Katonda wa Isiraeri, Katonda eri Isiraeri: era ennyumba ya Dawudi omuddu wo enywezebwa mu maaso go.
25
Kubanga ggwe, ayi Katonda wange, obikkulidde omuddu wo ng'olimuzimbira ennyumba: omuddu wo kyavudde afuna amaanyi ag'okusaba mu maaso go.
26
Era nno, ayi Mukama, ggwe Katonda, era osuubizizza omuddu wo ekigambo ekyo ekirungi:
27
era kaakano osiimye okuwa omukisa ennyumba y'omuddu wo, ebeerere mu maaso go emirembe gyonna: kubanga ggwe, ayi Mukama, owadde omukisa, era eweereddwa omukisa emirembe gyonna.
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29