bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Chronicles 13
1 Chronicles 13
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 14 →
1
Awo Dawudi n'ateesa n'abakulu b'enkumi n'ab'omu ggye lye.
2
Dawudi n'agamba abantu ba Isiraeri bonna abaali bakuŋŋaanye nti Bwe muba nga mukisiima era nga kivudde eri Mukama Katonda waffe, tutumire baganda baffe abalala mu bitundu bya Isiraeri byonna, ne bakabona n'Abaleevi be bali nabo mu bibuga byabwe ne mu byalo bajje batwegatteko:
3
tukomyewo essanduuko ya Katonda waffe gye twali tulagajalidde ku mirembe gya Sawulo.
4
Bonna abaali bakuŋŋaanye ne bakisiima, kubanga baalaba nga kituufu.
5
Awo Dawudi n'akuŋŋaanya Abaisiraeri bonna, okuva kagga Sikoli akali ku nsalo n'e Misiri okutuuka awayingirirwa e Kamasi, okuleeta essanduuko y'endagaano ya Katonda eyo nga bagiggya e Kiriyasuyalimu.
6
Awo Dawudi n'agenda n'Abaisiraeri bonna e Baala, ye Kiriyasuyalimu, eky'omu Yuda, okukimayo essanduuko ey'endagaano eya Katonda, eyitibwa Erinnya lya Mukama atuula ku bakerubi.
7
Essanduuko ya Katonda ne bagitwalira ku kigaali ekiggya, nga bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu. Uzza ne Akiyo ne bavuga ekigaali ekyo.
8
Dawudi n'Abaisiraeri bonna ne bazina n'amaanyi gaabwe gonna mu maaso ga Katonda, nga bayimba era nga bakuba ennanga n'entongooli, n'ebitaasa n'ensaasi, n'amakondeere.
9
Awo bwe baatuuka mu gguuliro lya Kidoni, ente ne zeesittala, Uzza n'agolola omukono gwe n'akwata essanduuko okugiziyiza okugwa.
10
Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira Uzza, n'amutta, kubanga yakwata ku ssanduuko: n'afiira awo mu maaso ga Katonda.
11
Dawudi n'anyiiga, kubanga Mukama yabonereza Uzza mu busungu n'obukambwe. Okuva olwo ekifo ekyo ne kiyitibwa Perezuzza.
12
Dawudi n'atya Katonda ku lunaku olwo, ng'ayogera nti n'akomyawo ntya essanduuko ya Katonda eka ewange?
13
Awo Dawudi n'ataleeta ssanduuko ewuwe mu kibuga kya Dawudi naye n'agikyamya n'agiteeka mu nnyumba ya Obededomu Omugitti.
14
Essanduuko ya Katonda n'emala emyezi esatu n'eba ne Obededomu mu nnyumba ye: Mukama n'awa omukisa ennyumba ya Obededomu ne byonna bye yalina.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29