bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Chronicles 21
1 Chronicles 21
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 22 →
1
Awo Setaani n'asituka okuleetera Isiraeri emitawaana, n'asendasenda Dawudi okubala Isiraeri.
2
Dawudi n'agamba Yowaabu n'abakulu abalala mu ggye nti, “Mugende mubale abantu ba Isiraeri bonna okuva e Beeruseba okutuusa e Ddaani; mukomewo muntegeeze omuwendo gwabwe.”
3
Yowaabu n'ayogera nti, “Mukama ayaze abantu be, beeyongere obungi emirundi kikumi (100); mukama wange kabaka, bonna si bantu bo? Naye mukama wange kiki ekimulagizza ekigambo kino? Kiki ekimwagaza okukola ekyo ekinaaletera Isiraeri yonna omusango?”
4
Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga ekya Yowaabu. Yowaabu kyeyava agenda n'abuna Isiraeri yonna n'alyoka akomawo e Yerusaalemi.
5
Yowaabu n'aleetera Dawudi omuwendo ogw'abantu ababalibwa. Abantu bonna aba Isiraeri baali kakadde mu kasiriivu (1,100,000). Abasajja abaali basobola okulwana, mu Yuda baali abasajja obusiriivu buna mu emitwalo musanvu (470,000) abasobola okulwana.
6
Naye ab'omu kika kya Leevi ne Benyamini teyababaliramu, kubanga ekigambo kya kabaka Yowaabu teyakisiima.
7
Katonda n'anyiiga olw'ekyo ekyakolebwa; kyeyava abonyaabonya Isiraeri.
8
Dawudi n'agamba Katonda nti, “Nnyonoonye nnyo, kubanga nnakola ekigambo ekyo; naye kaakano, nkwegayiridde ggyawo obutali butuukirivu bw'omuddu wo; kubanga nnakola eky'obusirusiru.”
9
Mukama n'agamba Gaadi nnabbi wa Dawudi nti,
10
“Genda ogambe Dawudi nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Nkuteekeddewo ebigambo bisatu; weerobozeeko ekimu, kyemba nkukola.’ ”
11
Awo Gaadi n'ajja eri Dawudi n'amugamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, ‘Weerobozeeko ky'onooyagala;
12
oba emyaka esatu egy'enjala; oba emyezi esatu (3) ng'oyigganyizibwa abalabe bo, oba ennaku ssatu (3) nga Mukama akulumba n'ekitala kye, asindike kawumpuli mu nsi yo, ne malayika wa Mukama agende ng'azikiriza abantu mu nsalo zonna eza Isiraeri.’ Kale nno, lowooza bwe mba mmuddamu oyo antumye.”
13
Dawudi n'agamba Gaadi nti, “Nsobeddwa nnyo; wakiri ngwe nno mu mukono gwa Mukama mbonerezebwe, kubanga okusaasira kwe kungi nnyo; nneme okugwa mu mukono gw'abantu.”
14
Awo Mukama n'aleeta kawumpuli ku Isiraeri; awo mu Isiraeri ne mufaamu abasajja emitwalo musanvu (70,000).
15
Katonda n'atuma malayika e Yerusaalemi okukizikiriza; awo bwe yali ng'anaatera okukizikiriza, Mukama n'atunula, ne yejjusa akabi ako, n'agamba malayika azikiriza nti, “Kinaamala; zzaayo kaakano omukono gwo oguzikiriza.” Malayika wa Mukama yali ayimiridde awali egguuliro lya Olunaani Omuyebusi.
16
Dawudi n'ayimusa amaaso ge n'alaba malayika wa Mukama ng'ayimiridde wakati w'ensi n'eggulu, ng'akutte ekitala ekisowoddwa mu ngalo ze, ekigoloddwa ku Yerusaalemi. Awo Dawudi n'abakadde, nga bambadde ebibukutu, ne balyoka bavuunama amaaso gaabwe.
17
Dawudi n'agamba Katonda nti, “Si nze nnalagira okubala abantu? Nze nnyonoonye ne nkola eby'ekyejo bingi; naye endiga zino bakoze ki bo? Nkwegayiridde, ayi Mukama Katonda wange, omukono gwo gube ku nze ne ku nnyumba ya kitange; naye guleme okuba ku bantu bo obawonye kawumpuli.”
18
Awo malayika wa Mukama n'alagira Gaadi okugamba Dawudi, agende, azimbire Mukama ekyoto mu gguuliro lya Olunaani Omuyebusi.
19
Dawudi n'agenda nga Gaadi, bwe yamugamba mu linnya lya Mukama.
20
Olunaani n'akyuka n'alaba malayika; ne batabani be abana abaali naye ne beekweka. Era Olunaani yali ng'awuula eŋŋaano.
21
Awo Dawudi bwe yajja eri Olunaani, Olunaani n'atunula n'alaba Dawudi, n'ava mu gguuliro, n'avuunama mu maaso ga Dawudi.
22
Awo Dawudi n'agamba Olunaani nti, “Nguza ekibanja eky'egguuliro lino, nzimbirewo Mukama ekyoto, nja kukisasula omuwendo gwennyini ogukigyamu; kawumpuli aziyizibwe mu bantu.”
23
Awo Olunaani n'agamba Dawudi nti, “Mukama wange Kabaka, ekibanja ekirimu egguliro kyetwalire, okole ekyo ky'onoosiima; laba, nkuwadde ente okuba ebiweebwayo ebyokebwa n'ebintu ebiwuula okuba enku n'eŋŋaano okuba ekiweebwayo eky'obutta; byonna mbikuwadde buwa.”
24
Kabaka Dawudi n'agamba Olunaani nti, “Nedda; naye mazima nnaabigula omuwendo gwennyini ogubigyamu; kubanga sitoole ku bibyo okuwa Mukama, so siweeyo ekiweebwayo ekyokebwa kyesisasulidde.”
25
Awo Dawudi n'asasula Olunaani sekeri eza zaabu ezipimibwa lukaaga (600), okugula ekibanja.
26
Dawudi n'azimbira Mukama ekyoto eyo, n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe, n'asaba Mukama; Mukama n'amuddamu n'omuliro ng'ayima mu ggulu ku kyoto eky'ebiweebwayo ebyokebwa.
27
Mukama n'alagira malayika; malayika n'azza ekitala kye mu kiraato kyakyo.
28
Mu biro ebyo Dawudi bwe yalaba nga Mukama amuzzeemu ky'amusabye ng'ali mu gguuliro lya Olunaani Omuyebusi, n'aweerangayo ssaddaaka mu kifo ekyo.
29
Kubanga eweema ya Mukama, Musa gye yakola mu ddungu, n'ekyoto eky'ebiweebwayo ebyokebwa, mu biro ebyo byali nga biri mu kifo ekigulumivu e Gibyoni.
30
Kyokka nga Dawudi tayinza kugenda mu maaso gaayo okubuuza Katonda; kubanga yali atidde ekitala kya malayika wa Mukama.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29