bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Chronicles 9
1 Chronicles 9
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 10 →
1
Awo abaana ba Isiraeri bonna ne bawandiikibwa amannya mu nkalala eziraga obuzaale bwabwe. Enkalala ezo neziwandiikibwa mu Kitabo kya Bassekabaka ba Isiraeri. Era Yuda yaatwalibwa mu buwaŋŋanguse e Babbulooni olw'obutaba beesigwa.
2
Abantu abaasooka okukomawo mu bifo byabwe ne mu bibuga byabwe be bano: Abaisiraeri aba bulijjo, bakabona, Abaleevi, n'abaweereza ab'omu Yeekaalu.
3
Abatuula mu Yerusaalemi mwalimu abamu abaava mu bika bino: ekya Yuda, ekya Benyamini, n'ekya Manase;
4
era ne bano Usayi mutabani wa Ammikudi era muzzukulu wa bano nga bwe baddiriŋŋana: Omuli, ne Imuli, ne Bani, ne Pereezi mutabani wa Yuda;
5
Abasibuka mu Seera mutabani wa Yuda mwalimu Asaya omubereberye we ne batabani be.
6
Ku batabani ba Zeera era mutabani wa Yuda: Yeweri ne baganda be, bonna awamu abantu lukaaga mu kyenda (690).
7
Ku basibuka mu Benyamini: Sallu mutabani wa Mesullamu, era muzzukulu wa Kodaviya mutabani wa Kassenuwa;
8
Ibuneya mutabani wa Yerokamu, ne Era mutabani wa Uzzi era muzzukulu wa Mikuli, ne Mesullamu mutabani wa Sefatiya era muzzukulu wa Leweri, mutabani wa Ibuniya.
9
Abasajja Ababenyamini bonna awamu, baali lwenda mu ataano mu mukaaga (956). Abo bonna baali bakulu ba nnyumba za bajjajjaabwe.
10
Bano be bakabona abaabeeranga mu Yerusaalemi: Yedaya, ne Yekoyalibu, ne Yakini,
11
ne Azaliya mutabani wa Kirukiya era muzzukulu wa bano nga bwe baddiriŋŋana: Mesullamu, Zadoki, Merayoosi ne Akituubu eyalabiriranga Yeekaalu.
12
Bakabona abalala baali: Adaaya mutabani wa Yerokamu, Yerokamu mutabani wa Pasukuli, Pasukuli mutabani wa Malukiya; ne Maasayi mutabani wa Adyeri era muzzukulu wa bano nga bwe baddiriŋŋana: Yazera, Mesullamu, Mesiremisi ne Immeri.
13
Bakabona abo baali bakulu mu nnyumba za bajjajjaabwe, era wamu ne baganda baabwe, baali lukumi mu lusanvu mu nkaaga (1,760). Baali basobolera ddala okukola obulungi emirimu gyonna egy'omu Yeekaalu.
14
Bano be Baleevi, abaabeeranga mu Yerusaalemi: Semaaya mutabani wa Kassubu, Kassubu mutabani wa Azulikamu, Azulikamu mutabani wa Kasabiya asibuka mu Merali:
15
ne Bakubakkali, Keresi, ne Galali, ne Mattaniya mutabani wa Mikka, Mikka mutabani wa Zikuli, Zikuli mutabani wa Asafu;
16
ne Obadiya mutabani wa Semaaya era muzzukulu wa Galali, Galali mutabani wa Yedusuni, ne Berekiya mutabani wa Asa era muzzukulu wa Erukaana, eyabeeranga mu byalo by'Abanetofa.
17
Abaggazi: Sallumu, ne Akkubu, ne Talumooni, ne Akimani, ne baganda baabwe. Sallumu ye yali abakulira.
18
Abo be baggazi abaakumanga omulyango ogw'ebuvanjuba ogwayitibwanga Omulyango gwa Kabaka. Era be baali abaggazi ku miryango egyayingiranga mu buli lusiisira lw'Abaleevi.
19
Sallumu mutabani wa Koole, era muzzukulu wa Ebiyasaafu mutabani wa Koola, wamu n'ab'olulyo lwe abasibuka mu jjajjaabwe Koola, be baalabiriranga omulimu gw'obuweereza, nga be baggazi b'emiryango gy'eweema, nga bajjajjaabe bwe baalabiriranga olusiisira lwa Mukama nga be bakuumi b'omulyago.
20
Finekaasi mutabani wa Eriyazaali ye yakuliranga abaggazi abo mu biseera eby'edda, Mukama ng'ali naye.
21
Zekkaliya mutabani wa Meseremiya ye yali omuggazi w'omulyango oguyingira mu weema ey'okusisinkanirangamu.
22
Abo bonna abaalondebwa okuba abaggazi b'emiryango, baali bibiri mu kkumi na babiri (212). Bawandiikibwa amannya gaabwe okusinziira ku buzaale bwabwe mu byalo byabwe gye baabeeranga. Abo be bantu kabaka Dawudi na nnabbi Samwiri be baalonda okukolanga omulimu ogwo ogwateekebwawo.
23
Abantu abo wamu ne bazzukulu baabwe ne babeeranga abaggazi b'emiryango gya Yeekaalu mu mpalo.
24
Abaggazi abo baabeeranga ku njuyi zonna eza Yeekaalu: ebuvanjuba, n'ebugwanjuba, n'ebukiikakkono, n'ebukiikaddyo.
25
Ab'eŋŋanda zaabwe abaabeeranga mu byalo, bajjanga ne babayamba mu mpalo ku mulimu ogw'obuggazi, okumala ennaku musanvu musanvu.
26
Omulimu guno ogwateekebwawo gwaliko abaggazi abakulu bana Abaleevi, era be baalabiriranga ebisenge n'amawanika eby'oku Yeekaalu.
27
Baasulanga awo nga beetoolodde Yeekaalu, kubanga be baakwasibwa omulimu ogw'okugikuuma, n'okugiggulangawo buli nkya.
28
Abamu ku Baleevi bakwasibwa ogw'okulabiriranga ebintu ebikozesebwa mu kusinza, kubanga byabalibwanga nga bitwalibwa okukozesebwa, era ne bibalibwanga nga nga babikomezzaawo okubitereka.
29
Abalala ne bakwasibwa ogw'okulabiriranga ebintu byonna ebikozesebwa mu watukuvu, obutta obulungi, omwenge, amafuta, omugavu, n'eby'akaloosa.
30
Era abamu ku baana ba bakabona be baatabulanga eby'akaloosa.
31
Ne Mattisiya, omu ku Baleevi, omubereberye wa Sallumu asibuka mu Koora, ye yakolanga omulimu ogwateekebwawo ogw'okufumba obugaati obw'empewere.
32
Abamu ku baganda baabwe ab'olulyo lwa Kokasi, be baateekateekanga emigaati emitukuvu egiweebwayo eri Katonda egyateekebwanga ku mmeeza buli Ssabbiiti.
33
N'abamu ku Baleevi baali bayimbi era nga bakulu ba nnyumba za bajjajjaabwe. Baasulanga mu bisenge by'oku Yeekaalu, era tebaaweebwa mulimu mulala gwonna, kubanga omulimu ogwabwe baagukolanga emisana n'ekiro.
34
Abo baali bakulu ba ennyumba za bajjajjaabwe mu lulyo lw'Abaleevi, mu nnyiriri z'obuzaale bwabwe. Baali bakulembeze, era baabeeranga Yerusaalemi.
35
Yeyeeri kitaawe wa Gibyoni yabeeranga mu Gibyoni. Erinnya lya mukazi we, nga ye Maaka.
36
Mutabani wa Yeyeeri omubereberye ye Abudoni, Zuuli, Kiisi, Baali, Neeri, Nadabu;
37
Gedoli, Akiyo, Zekkaliya ne Mikuloosi.
38
Mikuloosi n'azaala Simyamu. Abo nabo babeeranga mu Yerusaalemi wamu ne baganda baabwe, okumpi n'ab'eŋŋanda zaabwe abalala.
39
Neeri n'azaala Kiisi; Kiisi n'azaala Sawulo; Sawulo n'azaala abaana be bano: Yonasaani, Malukisuwa, Abinadaabu ne Esubaali.
40
Ne Meribubaali ye yali mutabani wa Yonasaani; Meribubaali n'azaala Mikka.
41
Batabani ba Mikka baali: Pisoni, Mereki, Taleya ne Akazi.
42
Akazi n'azaala Yala; Yala n'azaala abaana basatu be bano: Alemesi, Azumavesi ne Zimuli; Zimuli n'azaala Moza;
43
Moza n'azaala Bineya, Bineya n'azaala Lefaya, Lefaya n'azaala Ereyaasa, Ereyaasa n'azaala Azeri.
44
Azeri n'azaala batabani be mukaaga be bano: Azulikamu, Bokeru, Isimaeri, Seyaliya, Obadiya ne Kanani.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29