bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Chronicles 27
1 Chronicles 27
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 28 →
1
Luno lwe lukalala lw'abakulu b'ennyumba za bakitaabwe, n'abaami b'enkumi n'ab'ebikumi, n'abakulu baabwe abaaweerezanga kabaka ku mulimu gw'obukulembeze mu ba Isiraeri bonna. Buli mwezi okumalako emyezi gyonna egy'omwaka, waabangawo ekibinja ky'abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000), ekyabanga ku luwalo olw'okuweereza okwo, nga kirina abakikulira.
2
Yasobeyamu mutabani wa Zabudyeri ye yali omukulu w'oluwalo olwolubereberye olw'omu mwezi ogwolubereberye: era ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000).
3
Oyo yali asibuka mu Pereezi, era ye yali omukulu w'abaami bonna ab'eggye eryali mu luwalo olw'omwezi ogwolubereberye.
4
Ne Dodayi Omwakowa n'oluwalo lwe ye yali omukulu w'oluwalo olw'omwezi ogwokubiri; ne Mikuloosi omukungu: ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000).
5
Benaya mutabani wa Yekoyaada kabona omukulu ye yali omwami ow'okusatu ow'eggye mu luwalo olw'omwezi ogwokusatu: n'ab'omu luwalo olwo baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000).
6
Oyo ye Benaya eyali omusajja ow'amaanyi omu ku asatu, era omukulu w'abo asatu: ne Ammizabaadi mutabani we yali wa mu luwalo lwe.
7
Asakeri muganda wa Yowaabu ye yali omukulembeze ow'okuna, era ye yakulembera oluwalo olw'omwezi ogwokuna, ne Zebadiya mutabani we ye yamuddirira: ne mu luwalo lwe mwalimu emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000).
8
Omuduumizi ow'okutaano era eyakulira oluwalo olwokutaano, ye Samukusi Omuyizula: n'ab'omu luwalo olulwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000).
9
Omuduumizi ow'omukaaga era ow'omu mwezi ogw'omukaaga, yali Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa: n'ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000).
10
Omuduumizi ow'omusanvu era ow'omu mwezi ogw'omusanvu, yali Kerezi Omuperoni ow'oku baana ba Efulayimu: n'ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000).
11
Omuduumizi ow'omunaana era ow'omu mwezi ogw'omunaana, yali Sibbekayi Omukusasi ow'oku Bazera: n'ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000).
12
Abiyezeeri Omwanasosi ow'oku ba Benyamini ye yali omuduumizi ow'omwenda ow'omu mwezi ogw'omwenda: ne mu luwalo lwe mwalimu emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000).
13
Makalayi Omunetofa ow'oku Bazera ye yali omwami ow'ekkumi ow'omu mwezi ogw'ekkumi: ne mu luwalo lwe mwalimu emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000).
14
Benaya Omupirasoni ow'oku baana ba Efulayimu ye yali omuduumizi ow'ekkumi n'omu ow'omu mwezi ogw'ekkumi n'ogumu: ne mu luwalo lwe mwalimu emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000).
15
Kerudayi Omunetofa, owa Osunieri, ye yali omuduumizi ow'ekkumi n'ababiri ow'omu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri: ne mu luwalo lwe mwalimu emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000).
16
Luno lwe lukalala lw'abaali bakulira ebika bya Isiraeri: ku ba Lewubeeni yali Eryeza mutabani wa Zikuli: ku Basimyoni yali Sefatiya mutabani wa Maaka:
17
Kasabiya mutabani wa Kemweri, ye yali akulira Abaleevi: Zadoki nga yakulira abasibuka mu Alooni.
18
Eriku, omu ku baganda ba kabaka Dawudi, ye yali akulira ekika kya Yuda: Omuli mutabani wa Mikayiri nga yakulira ekika kya Isakaali.
19
Ekika kya Zebbulooni kyali kikulirwa Isumaaya mutabani wa Obadiya: n'ekya Nafutaali nga kikulirwa Yeremoosi mutabani wa Azuliyeeri.
20
Akulira ab'ekika kya Efulayimu yali Koseya mutabani wa Azaziya: nga n'akulira ekitundu ky'ekika kya Manase yali Yoweeri mutabani wa Pedaya.
21
Yiddo mutabani wa Zekkaliya n'akulira ekitundu eky'okubiri eky'ekika kya Manase mu Gireyaadi: ekika kya Benyamini ne kikulirwa Yaasiyeri mutabani wa Abuneeri.
22
Azaleeri mutabani wa Yerokamunga ye yali akulira ekika kya Daani. Abo be baali abakulu b'ebika bya Isiraeri.
23
Naye Kabaka Dawudi n'atabala muwendo gwa ab'emyaka abiri n'abatannagiweza, kubanga Mukama yali ayogedde ng'alyongera Isiraeri ne baba bangi ng'emmunyeenye ez'omu ggulu.
24
Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'atandika okubala abantu, naye n'atamaliriza: obusungu bwa Mukama kyebwava bujja ku Isiraeri; so n'omuwendo ogwabalibwa tegwaawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya kabaka Dawudi.
25
Era Azumavesi mutabani wa Adyeri ye yali mukulu wa mawanika ga kabaka: ne Yonasaani mutabani wa Uzziya ye yali omukulu wa mawanika ag'omu bibuga, n'ag'omu byalo, n'ag'omu bigo ebigumu eby'okwerindiramu.
26
Ezuli mutabani wa Kerubu ye yali omukulu w'abo abaakolanga emirimu egy'omu nnimiro.
27
Simeeyi Omulaama ye yali omukulu w'ensuku z'emizabbibu: ne Zabudi Omusifumu ye yali omukulu w'ebibala eby'ensuku ebyanogebwanga okuteekebwa mu masogolero ag'omwenge.
28
Baalukanani Omugedera ye yali omukulu eyalabiriranga emiti emizeyituuni n'emisukomooli egyali mu nsenyi: ne Yowaasi ye yali omukulu w'amawanika g'amafuta agaavanga mu mizeyituni.
29
Situlayi Omusaloni ye yali omukulu w'ebisibo ebyalundibwa mu Saloni: ne Safati mutabani wa Adulayi ye yali omukulu w'ebisibo ebyali mu biwonvu.
30
Obiri Omuyisimaeri ye yali omukulu eyalabiriranga eŋŋamira: ne Yedeya Omumeronoosi ye yali omukulu eyalabiriranga endogoyi.
31
Yazizi Omukaguli ye yali omukulu eyalabiriranga embuzi. Abo bonna be baali abakulu abaalabiriranga ebintu ebya kabaka Dawudi.
32
Yonasaani kitaawe wa Dawudi omuto yali muwi wa magezi mulungi, omusajja omutegeevu era nga munnyonnyozi wa mateeka. Ye ne Yekyeri mutabani wa Kakumoni be baalabiriranga abaana ba kabaka.
33
Akisoferi; kabaka gwe yeebuuzangako: Kusaayi Omwaluki ye yali mukwano gwa kabaka.
34
Yekoyaada mutabani wa Benaya n'addirira Akisoferi, ne Abiyasaali: ne Yowaabu ye yali omukulu w'eggye lya kabaka.
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 28 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29