bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Chronicles 28
1 Chronicles 28
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 29 →
1
Dawudi n'akuŋŋaanya abakungu bonna aba Isiraeri, abakulu b'ebika, abaami b'ebitongole abaaweerezanga kabaka mu mpalo, abaduumizi b'enkumi n'ab'ebikumi, n'abawanika b'ebintu byonna eby'obugagga ebya kabaka, batabani be, wamu n'abaami n'abasajja bonna ab'amaanyi, era abazira e Yerusaalemi.
2
Awo Dawudi kabaka n'ayimirira ku bigere bye n'ayogera nti, “Mumpulire, baganda bange era abantu bange; nze kyali mu mutima gwange okuzimbira essanduuko ey'endagaano ya Mukama n'entebe y'ebigere eya Katonda waffe ennyumba ey'okuwummuliramu; era nali ntegese okuzimba.
3
Naye Katonda n'aŋŋamba nti,‘Tozimbira linnya lyange nnyumba, kubanga ggwe oli musajja mulwanyi wa ntalo, era wayiwa omusaayi mungi.’
4
Naye Mukama Katonda wa Isiraeri yannonda ng'anzijja mu nnyumba yonna eya kitange okuba kabaka wa Isiraeri emirembe gyonna: kubanga yalonda Yuda okuba omulangira; ne mu nnyumba ya Yuda n'alondamu ennyumba ya kitange; ne mu baana bakitange n'ansanyukira nze okunfuula kabaka wa Isiraeri yenna:
5
ne ku batabani bange bonna, kubanga Mukama ampadde abaana bangi, n'alondamu Sulemaani mutabani wange okutuula ku ntebe ey'obwakabaka bwa Mukama okufuga Isiraeri.
6
Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Sulemaani mutabani wo ye alizimba ennyumba yange n'empya zange, kubanga nnamulonda okuba mutabani wange, nange n'abanga kitaawe.
7
Era nnaanywezanga obwakabaka bwe emirembe gyonna, bw'anaanyiikiranga okugonderanga amateeka gange n'ebiragiro byange nga bw'akola kaakano.’
8
Kale nno mu maaso ga Isiraeri yenna, Mukama gw'akkuŋŋaanyizza, mbakuutira era nga ne Katonda waffe awulira, mukwatenga era mugonderenga ebiragiro byonna ebya Mukama Katonda wammwe: mulye ensi eno ennungi era mugirekere abaana bammwe, n'abanabaddiriranga okuba obusika bwabwe emirembe gyonna.
9
Naawe, Sulemaani, mutabani wange, tegeera Katonda wa kitaawo, omuweerezenga n'omutima ogutuukiridde n'emmeeme esanyuka: kubanga Mukama akebera emitima gyonna, era ategeera okufumiitiriza kwonna okw'ebirowoozo: bw'onoomunoonyanga, anaalabikanga gy'oli; naye bw'onoomuvangako, anaakwabuliranga emirembe gyonna.
10
Weekuume nno; kubanga Mukama alonze ggwe okuzimba ennyumba ey'ekigwa: ba n'amaanyi, okukikolanga.”
11
Awo Dawudi n'awa Sulemaani mutabani we ekifaananyi ky'Ennyumba ya Katonda, nga bweribeera: ekisasi kyakwo, n'ennyumba zaakwo, n'amawanika gaakwo, n'enju zaakwo eza waggulu n'ebisenge byakwo eby'omunda n'ekifo eky'entebe ey'okusaasira.
12
N'amuwa n'ekifaananyi ky'ebyo byonna bye yalina ku mwoyo, bye yali alowoozezza eby'empya ez'ennyumba ya Mukama n'ebisenge byonna ebyetoolodde n'amawanika g'ennyumba ya Katonda n'amawanika g'ebintu ebiwongebwa:
13
era n'amuwa n'entegeka zonna ez'empalo za bakabona n'Abaleevi n'eby'omulimu gwonna ogw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Mukama, n'eby'ebintu byonna ebikozesebwa mu nnyumba ya Mukama.
14
Era n'alagira obuzito bwa zaabu ne ffeeza epimibwa, obw'okukozesa ebintu byonna ebya zaabu, n'ebya ffeeza ebikozesebwa ku buli mulimu ogw'okuweereza:
15
era n'obuzito bw'ebikondo by'ettaala eza zaabu era n'obwettaala zaakyo, n'obuzito bw'ebikondo by'ettaala eza ffeeza n'obwettaala zaabyo, okusinziira nga bwe bikozesebwa ku mulimu gwakyo ogw'okuweereza okwa buli kikondo:
16
n'obuzito bwa zaabu ow'okukolamu buli mmeeza ez'emigaati egy'okulaga, egiweebwayo eri Katonda, n'obuzito obwa ffeeza ow'okukolamu emmeeza, eza ffeeza.
17
Okwo ssaako zaabu omuyooyoote ow'okukolamu ebyuma eby'okukwasa ennyama, n'ow'okukolamu ebibya n'ebikompe ebya zaabu ennungi: era okwo ssaako n'obuzito bwa zaabu ne ffeeza ow'okukolamu ebbakuli n'ensaniya eza zaabu, n'eza ffeeza.
18
Era n'alagira n'obuzito bwa zaabu omulongoose ow'okukolamu ekyoto eky'okwotereezaako obubaane; era n'obuzito bwa zaabu ow'okukolamu eggaali, eriko bakerubi abanjuluza ebiwawaatiro byabwe ne babikka ku ssanduuko ey'endagaano ya Mukama.
19
Ebyo byonna, Dawudi, bye yayogera nabibategeeza nga biri mu buwandiike, era nga by'esigamiziddwa ku biragiro Mukama, yennyini bye yamulagira okutuukiriza.
20
Dawudi n'agamba Sulemaani mutabani we nti, “Ba n'amaanyi, ogume omwoyo, okikolenga; totyanga so totekemukanga, kubanga Mukama Katonda, Katonda wange, ali naawe; taakwabulirenga so taakulekenga okutuusa omulimu gwonna ogw'okuweereza okw'omu nnyumba ya Mukama lwe gulituukirira.
21
Era, laba, bakabona n'Abaleevi baweereddwa empalo olw'okuweereza kwonna okw'omu nnyumba ya Katonda: era abakozi abakugu abamanyi okukola buli mulimu, weebali abeetegese okukuyamba; era n'abaami n'abantu bonna banaagonderanga ddala okulagira kwo.”
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 29 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29