bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Chronicles 6
1 Chronicles 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 7 →
1
Batabani ba Leevi ye; Gerusoni, Kokasi, ne Merali.
2
Batabani ba Kokasi ye; Amulaamu, Izukali, ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri.
3
Abaana ba Amulaamu ye; Alooni, Musa ne Miryamu. Batabani ba Alooni ye; Nadabu ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali.
4
Eriyazaali n'azaala Finekaasi, Finekaasi n'azaala Abisuwa;
5
Abisuwa n'azaala Bukki, Bukki n'azaala Uzzi;
6
Uzzi n'azaala Zerakiya, Zerakiya n'azaala Merayoosi;
7
Merayoosi n'azaala Amaliya, Amaliya n'azaala Akitubu;
8
Akitubu n'azaala Zadoki, Zadoki n'azaala Akimaazi;
9
Akimaazi n'azaala Azaliya, Azaliya n'azaala Yokanani;
10
Yokanani n'azaala Azaliya eyakolanga omulimu ogw'obwakabona mu nnyumba Sulemaani gye yazimbira Mukama mu Yerusaalemi.
11
Azaliya n'azaala Amaliya, Amaliya n'azaala Akitubu;
12
Akitubu n'azaala Zadoki, Zadoki n'azaala Sallumu;
13
Sallumu n'azaala Kirukiya, Kirukiya n'azaala Azaliya;
14
Azaliya n'azaala Seraya, Seraya n'azaala Yekozadaki;
15
Yekozadaki n'atwalibwa nga musibe, Mukama bwe yatwalira ddala Yuda ne Yerusaalemi n'omukono gwa Nebukadduneeza.
16
Batabani ba Leevi ye; Gerusomu, Kokasi, ne Merali.
17
Batabani ba Gerusomu ye Libuni ne Simeeyi.
18
Batabani ba Kokasi be bano; Amulaamu ne Izukali ne Kebbulooni ne Wuziyeeri.
19
Batabani ba Merali ye; Makuli ne Musi. Olwo lwe lulyo lwa ba Leevi nga bajjajjaabwe bwe baddiriŋŋana.
20
Bano be basibuka mu Gerusomu: Gerusomu yazaala Libuni, Libuni n'azaala Yakasi, Yakasi n'azaala Zimma.
21
Zimma yazaala Yowa, Yowa n'azaala Iddo, Iddo n'azaala Zeera, Zeera n'azaala Yeaserayi.
22
Bano be basibuka mu Kokasi: Kokasi yazaala Amminadaabu, Amminadaabu n'azaala Koola, Koola n'azaala Assiri.
23
Assiri yazaala Erukaana, Erukaana n'azaala Ebiyasaafu, Ebiyasaafu n'azaala Assiri, Assiri
24
n'azaala Takasi, Takasi n'azaala Uliyeri, Uliyeri n'azaala Uzziya, Uzziya n'azaala Sawuli.
25
Abasibuka mu Erukaana be bano: Erukaana yazaala Amasayi ne Akimosi, Akimosi
26
n'azaala Erukaana, Erukaana n'azaala Zofayi, Zofayi n'azaala Nakasi, Nakasi
27
n'azaala Eriyaabu, Eriyaabu n'azaala Yerokamu, Yerokamu n'azaala Erukaana.
28
Samwiri yazaala abaana babiri (2): Yoweeri ye mubereberye we, ow'okubiri ye Abiya.
29
Bano basibuka mu Merali: Merali yazaala Makuli, Makuli n'azaala Libuni, Libuni n'azaala Simeeyi, Simeeyi n'azaala Uzza. Uzza
30
yazaala Simeeya, Simeeya n'azaala Kaggiya, Kaggiya n'azaala Asaya.
31
Waliwo abantu Kabaka Dawudi be yalonda okukulira eby'okuyimba mu Yeekaalu ye Yerusaalemi, essanduuko y'endagaano ya Mukama bwe yamala okuyingizibwa mu Yeekaalu eyo.
32
Baweerezanga mu mpalo mu weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, nga bayimba, okutuusa kabaka Sulemaani bwe yamala okuzimba Yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi.
33
Era bano be baaweerezanga ne batabani baabwe. Okuva mu ba Kokasi, waaliwo Kemani omukulu w'abayimbi, mutabani wa Yoweeri, Yoweeri mutabani wa Samwiri, Samwiri
34
mutabani wa Erukaana, Erukaana mutabani wa Yerokamu, Yerokamu mutabani wa Eriyeri, Eriyeri mutabani wa Toowa, Toowa
35
mutabani wa Zufu, Zufu mutabani wa Erukaana, Erukaana mutabani wa Makasi, Makasi mutabani wa Amasayi, Amasayi
36
mutabani wa Erukaana, Erukaana mutabani wa Yoweeri, Yoweeri mutabani wa Azaliya, Azaliya mutabani wa Zeffaniya, Zeffaniya
37
mutabani wa Takasi, Takasi mutabani wa Assiri, Assiri mutabani wa Ebiyasaafu, Ebiyasaafu mutabani wa Koola, Koola
38
mutabani wa Izukali, Izukali mutabani wa Kokasi, Kokasi mutabani wa Leevi, Leevi mutabani wa Isiraeri.
39
Munne wa Kemani era eyamuyimiriranga ku mukono ogwa ddyo, yali Asafu mutabani wa Berekiya, Berekiya mutabani wa Simeeya, Simeeya
40
mutabani wa Mikayiri, Mikayiri mutabani wa Baaseya, Baaseya mutabani wa Malukiya, Malukiya
41
mutabani wa Esuni, Esuni mutabani wa Zeera, Zeera mutabani wa Adaaya, Adaaya
42
mutabani wa Esani, Esani mutabani wa Zimma, Zimma mutabani wa Simeeyi, Simeeyi
43
mutabani wa Yakasi, Yakasi mutabani wa Gerusomu, Gerusomu mutabani wa Leevi.
44
N'oyo eyayimiriranga ku gwa kkono gwa Kemani ne Asafu, yali ava mu basibuka mu Merali, nga ye Esani mutabani wa Kiisi, Kiisi mutabani wa Abudi, Abudi mutabani wa Malluki, Malluki
45
mutabani wa Kasukabiya, Kasukabiya mutabani wa Amaziya, Amaziya mutabani wa Kirukiya, Kirukiya
46
mutabani wa Amuzi, Amuzi mutabani wa Bani, Bani mutabani wa Semeri, Semeri
47
mutabani wa Makuli, Makuli mutabani wa Musi, Musi mutabani wa Merali, Merali mutabani wa Leevi.
48
Baleevi bannaabwe abalala bonna ne baweebwa emirimu emirala gyonna, eby'omu Yeekaalu.
49
Naye Alooni n'abasibuka mu ye, ne bawangaayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kyabyo era ne booterezanga obubaane, olw'omulimu gwonna ogw'omu kifo ekitukuvu ennyo, n'okutangiriranga Isiraeri, nga byonna bwe biri Musa omuddu wa Katonda bye yalagira.
50
Era bano be basibuka mu Alooni: Alooni yazaala Eriyazaali, Eriyazaali n'azaala Finekaasi, Finekaasi n'azaala Abisuwa, Abisuwa
51
n'azaala Bukki, Bukki n'azaala Uzzi, Uzzi n'azaala Zerakiya, Zerakiya
52
n'azaala Merayoosi, Merayoosi n'azaala Amaliya, Amaliya n'azaala Akitubu, Akitubu
53
n'azaala Zadoki, Zadoki n'azaala Akimaazi.
54
Bino bye bifo ab'olulyo lwa Alooni bye baweebwa okubeeramu. Akalulu kasooka kuggwa ku ba Kokasi, ne baweebwa ekitundu kyabwe;
55
ne baweebwa Kebbulooni ekiri mu Yuda, n'amalundiro agakyetoolodde:
56
naye Kalebu mutabani wa Yefune ye n'aweebwa ennimiro zaakyo ne byalo byakwo.
57
Era abasibuka mu Alooni ne baweebwa ebibuga eby'okuddukiramu, Kebbulooni, Libuna n'amalundiro gaakyo, Yattiri ne Esutemoa n'amalundiro gaabyo
58
Kireni n'amalundiro gakyo, Debiri n'amalundiro gakyo,
59
Asani n'amalundiro gakyo ne Besusemesi n'amalundiro gakyo.
60
Mu kitundu ekyagabanibwa ekika kya Benyamini, Abaleevi ne baweebwa ebibuga bino: Geba n'amalundiro gakyo, ne Allemesi n'amalundiro gakyo, ne Anasosi n'amalundiro gakyo. Ebibuga byabwe byonna ebyaweebwa ab'ennyumba zaabwe zonna, byali kkumi na bisatu (13).
61
Ebibuga kkumi mu kitundu kya Manase eky'ebugwanjuba byakubwako akalulu ne biweebwa Abakokasi abalala.
62
Ne batabani ba Gerusomu ng'enda zaabwe bwe zaali ne baweebwa ebibuga kkumi na bisatu (13), ebyaggibwa ku kika kya Isakaali ne ku kika kya Aseri ne ku kika kya Nafutaali ne ku kika kya Manase mu Basani.
63
Batabani ba Merali ne baweebwa n'obululu ng'enda zaabwe bwe zaali ebibuga kkumi na bibiri (12), ebyaggibwa ku kika kya Lewubeeni ne ku kika kya Gaadi ne ku kika kya Zebbulooni.
64
Abaana ba Isiraeri ne bawa Abaleevi ebibuga n'amalundiro gaabyo.
65
Ebibuga ebimenyeddwa amannya ebyaggyibwa ku b'ekika kya Yuda ne ku b'ekika kya Simyoni, ne ku b'ekika Benyamini byagabirwa Abaleevi nga bikubirwa kalulu.
66
Era enda ezimu ez'oku batabani ba Kokasi baalina ebibuga eby'okunsalo zaabwe ebyaggibwa ku kika kya Efulayimu.
67
Ne babawa ebibuga eby'okuddukiramu, Sekemu mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu n'amalundiro gakyo: ne Gezeri n'ebyalo byako;
68
Yokumyamu, Besukolooni n'amalundiro gaabyo;
69
Ayalooni, Gasulimmoni n'amalundiro gaabyo;
70
n'ebyaggibwa ku kitundu ky'ekika kya Manase; Aneri n'amalundiro gakyo, Biryamu n'amalundiro gakyo, ne biweebwa abaana ba Kokasi abaali basigaddewo nga tebanafuna.
71
Abasibuka mu Gerusomu ne baweebwa ebibuga bino: ebyaggibwa mu kitundu eky'ebuvanjuba ekyaweebwa ekika kya Manase: Golani eky'omu Basani, wamu n'amalundiro gaakyo, ne Asutaloosi n'amalundiro gaakyo;
72
n'ebyaggibwa ku kika kya Isakaali; Kedesi n'amalundiro gakyo, Daberasi n'amalundiro gakyo;
73
Lamosi n'amalundiro gakyo, Anemu n'amalundiro gakyo;
74
ne mu kika kya Aseri; Masali n'amalundiro gakyo, ne Abudoni n'amalundiro gakyo;
75
Kukoki n'amalundiro gakyo, Lekobu n'amalundiro gakyo:
76
ne mu kika kya Nafutaali; Kedesi eky'omu Ggaliraaya n'amalundiro gakyo, Kammoni n'amalundiro gakyo, ne Kiriyasayimu n'amalundiro gakyo.
77
Abaleevi abasigaddewo, batabani ba Merali, ne baweebwa ebyaggibwa ku kika kya Zebbulooni, Limmono n'amalundiro gakyo, Taboli n'amalundiro gakyo:
78
era emitala wa Yoludaani e Yeriko, ku luuyi lwa Yoludaani olw'ebuvanjuba, ne baweebwa ebyaggibwa ku kika kya Lewubeeni, Bezeri ekiri mu ddungu n'amalundiro gakyo, ne Yaza n'amalundiro gakyo,
79
Kedemosi n'amalundiro gakyo, ne Mefaasi n'amalundiro gakyo:
80
n'ebyaggibwa ku kika kya Gaadi; Lamosi ekiri mu Gireyaadi n'amalundiro gakyo, ne Makanayimu n'amalundiro gakyo,
81
Kesuboni n'amalundiro gakyo, ne Yazeri n'amalundiro gakyo.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29