bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Chronicles 7
1 Chronicles 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 8 →
1
Batabani ba Isakaali baali bana (4) be bano: Tola, Puwa, Yasubu, ne Simuloni.
2
Batabani ba Tola be bano: Uzzi, Lefaya, Yeryeri, Yamayi, Ibusamu ne Semweri; abo be baali abakulu b'ennyumba zabwe abasibuka mu Tola; bali basajja abazira, ab'amaanyi mu mirembe gyabwe. Ku mulembe gwa Dawudi abamusibukamu bali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu lukaaga (22,600).
3
Uzzi yazaala omwana omu ye Izulakiya: Izulakiya yazaala abaana bana be bano: Mikayiri, Obadiya, Yoweeri, Issiya; abo bali bakulu b'ennyumba zabwe.
4
Baawasa abakazi bangi era baazaala abaana bangi, abasibuka mu bo ne basobola okuvaamu egye ly'abaserikale emitwalo esatu mu kakaaga (36,000).
5
Bonna abasibuka mu Isakaali abasajja abamaanyi abazira baali emitwalo munaana mu kasanvu (87,000).
6
Batabani ba Benyamini baali basatu (3) be bano: Bera, Bekeri, ne Yediyayeri.
7
Batabani ba Bera be bano: Ezuboni, Uzzi, Wuziyeeri, Yerimoosi ne Iri bali bakulu be nnyumba mu kika kyabwe, bali basajja abamaanyi abazira. Abamusibukamu baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu asatu mu bana (22,034), abasobola okulwana mu lutalo.
8
Batabani ba Bekeri be bano: Zemira, Yowaasi, Eryeza, Eriwenayi, Omuli, Yeremoosi, Abiya, Anasosi ne Alemesi.
9
Baabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, nga bwe baaliraana, bali bakulu b'ennyumba zabwe mu kika kyabwe, abasajja ab'amaanyi abazira. Abamusibukamu abali basobola okulwana baali emitwalo ebiri mu bibiri (20,200).
10
Yediyayeri yazaala omwana omu ye Birukani, batabani ba Birukani be bano: Yewusi, Benyamini, Ekudi, Kenaana, Zesani, Talusiisi ne Akisakali.
11
Abo bonna abasibuka mu Yediyayeri bali bakulu mu nnyumba zabwe mu kika kyabwe, bali basajja bazira ab'amaanyi. Abamusibukamu abasajja abalwanyi bali omutwalo gumu mu kasanvu mu bibiri (17,200).
12
Batabani ba Iri bali Kuppimu ne Suppimu, ne mutabani wa Akeri yali Kusimu.
13
Batabani ba Nafutaali baali bana (4) be bano: Yaziyeri, Guni, Yazeri ne Sallumu baali bazzukulu ba Biruka.
14
Manase yalina omukazi Omusuuli, eyamuzaalira Asuliyeri, ne Makiri kitaawe wa Gireyaadi.
15
Makiri n'awasa omukazi mwannyina Kuppimu ne Suppimu, erinnya lye Maaka. Omwana ow'obulenzi ow'okubiri owa Makiri yali Zerofekadi. Zerofekadi oyo yazaala abaana ba buwala bokka.
16
Maaka muka Makiri n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Peresi. Ne muganda w'oyo yali Seresi. Batabani ba Peresi: Ulamu ne Lakemu.
17
Ulamu yazaala Bedani. Abo be basibuka mu Gireyaadi mutabani wa Makiri, Makiri mutabani wa Manase.
18
Gireyaadi yalina mwannyina erinnya lye Kammolekesi eyazaala Isukodi, Abiezeri ne Makula.
19
Batabani ba Semida be bano: Akyani, Sekemu, Liki ne Aniyamu.
20
Efulayimu yazaala Susera, Susera n'azaala Beredi, Beredi n'azaala Takasi, Takasi n'azaala Ereyadda, Ereyadda n'azaala Takasi, Takasi
21
n'azaala Zabadi, Zabadi n'azaala Susera. Efulayimu era yalina batabani abalala babiri: Ezeri ne Ereyaddi abattibwa abasajja ab'e Gaasi bwe bali bagenze okunyaga ente ez'abazaliranwa be nsi eyo.
22
Efulayimu kitaabwe n'akungubagira ennaku nnyingi, baganda be ne bajja okumukubagiza.
23
Efulayimu neyeegatta ne mukazi we n'aba olubuto n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya lye Beriya, kubanga ab'omu nnyumba ye baalaba akabi.
24
Ne muwala we yali Seera, n'azimba ebibuga Besukolooni ekya wansi n'eky'engulu, ne Uzzenuseera.
25
Efulayimu era yalina mutabani we omulala, erinnya lye Leefa. Leefa oyo yazaala Lesefu, Lesefu n'azaala Teera, Teera n'azaala Takani,
26
Takani n'azaala Ladani, Ladani n'azaala Ammikudi, Ammikudi n'azaala Erisaama, Erisaama
27
n'azaala Nuuni, Nuuni n'azaala Yoswa.
28
Ebifo bye baweebwa era bye baatulangamu bye bino: Beseri n'ebibuga byako, n'ebuvanjuba Naalani, n'ebugwanjuba Gezeri, n'ebibuga byako; era ne Sekemu n'ebibuga byako, okutuusa ku Azza n'ebibuga byako:
29
n'awali ensalo ez'abaana ba Manase, Besuseyani n'ebibuga byako, Taanaki n'ebibuga byako, Megiddo n'ebibuga byako, Doli n'ebibuga byako. Omwo abaana ba Yusufu mutabani wa Isiraeri mwe baabeeranga.
30
Batabani ba Aseri be bano: Imuna, Isuva, Isuvi, Beriya; ne Seera mwannyinaabwe.
31
Batabani ba Beriya be bano: Keberi ne Malukiyeeri, Malukiyeeri ye kitaawe wa Biruzayisi.
32
Keberi n'azaala Yafuleti, Somera, Kosamu ne Suwa, mwannyinaabwe.
33
Batabani ba Yafuleti be bano: Pasaki, Bimukali ne Asuvasi.
34
Batabani ba Semeri be bano: Aki, Loga, Yekubba, ne Alamu.
35
Batabani ba Keremu muganda we be bano: Zofa, Imuna, Seresi ne Amali.
36
Batabani ba Zofa be bano: Suwa, Kaluneferi, Swali, Beeri ne Imula;
37
Bezeri, Kodi, Samma, Sirusa, Isulani ne Beera.
38
Batabani ba Yeseri be bano: Yefune, Pisupa ne Ala.
39
Batabani ba Ulla be bano: Ala, Kanyeri ne Liziya.
40
Abo bonna be basibuka mu Aseri, baali bakulu ba nnyumba zabwe mu kika kyabwe, abasajja abazira, abalonde ab'amaanyi nga bakulembeze batutumufu. Baalimu abasajja abasobola okulwana mu lutalo emitwalo ebiri mu kakaaga (26,000).
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29