bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Chronicles 11
1 Chronicles 11
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 12 →
1
Awo Abaisiraeri bonna ne bakuŋŋaanira eri Dawudi e Kebbulooni, ne bamugamba nti: Tuli baganda bo ddala.
2
Mu biro eby'edda Sawulo bwe yali nga ye kabaka, ggwe wakulemberanga Isiraeri mu ntabaalo. Mukama Katonda wo n'akugamba nti Ggwe olikulembera abantu bange Abaisiraeri, era ggwe oliba omufuzi waabwe.
3
Awo abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja eri kabaka e Kebbulooni; Dawudi n'alagaana nabo endagaano e Kebbulooni mu maaso ga Mukama; ne bafuka ku Dawudi amafuta okuba kabaka wa Isiraeri, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kyogera nga ayita mu nnabbi Samwiri.
4
Awo Dawudi ne Isiraeri yenna ne bagenda ne balumba Yerusaalemi, mu biseera ebyo kyayitibwanga Yebusi; nga abatuuze ab'omukibuga ekyo bayitibwa ba Yebusi.
5
Awo Abayebusi ne bagamba Dawudi nti Tojja kuyingira muno. Naye Dawudi n'awamba ekigo ekyo kye Sayuuni; ekyo kye kibuga kya Dawudi.
6
Dawudi n'ayogera nti Buli anaasooka okugoba Abayebusi ye aliba omukulu era omwami. Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'asooka okulumba, n'afuuka mukulu.
7
Dawudi n'abeera mu kigo; kyebaava bakiyita ekibuga kya Dawudi.
8
Dawudi n'azimba ekibuga enjuyi zonna ng'atandikira e Miiro. Yowaabu n'addaabiriza ebitundu by'ekibuga ebyasigalawo.
9
Dawudi ne yeeyongerayongeranga okuba ow'amaanyi; kubanga Mukama ow'eggye ng'ali naye.
10
Bano be baali abakulu, abasajja ab'amaanyi, abazira Dawudi be yalina. Nga bali wamu n'Abaisiraeri bonna, baamuyamba okufuuka kabaka, nga Mukama bwe yagamba ku ggwanga lya Isiraeri, era be baakuuma obwakabaka bwe nga bwa maanyi.
11
Abasajja abo abamaanyi, abazira Dawudi be yalina be bano: Yasobeyamu, omwana w'Omukakumoni, omukulu w'abasatu: olumu yakwata effumu lye n'atta abasajja bisatu (300) mu lutalo lumu.
12
Ow'okubiri ku basajja abamaanyi abazira abasatu ye Eriyazaali mutabani wa Dodo, ow'omukika kya Akowa.
13
Oyo yali wamu ne Dawudi e Pasudammimu, era Abafirisuuti bwe bakuŋŋaanira eyo okulwana mu musiri gwa sayiri; abantu ne badduka Abafirisuuti.
14
Naye Dawudi ne Eriyazaali ne bayimirira wakati mu Musiri ne bagulwanirira, ne batta Abafirisuuti; Mukama n'abawa obuwanguzi obw'amaanyi.
15
Awo abasatu ku bakulu asatu (30) ne baserengeta, ne bajja eri Dawudi mu mpuku y'e Adulamu, eggye ly'Abafirisuuti nga lisiisidde mu kiwonvu Lefayimu.
16
Mu kiseera ekyo Dawudi yali mu kigo ekigumu, ate Abafirisuuti ng'enkambi yaabwe bagikubye Besirekemu.
17
Dawudi ne yeegomba n'agamba nti Kale singa wabaddewo anandeetera amazzi ag'okunywa agava ku luzzi olw'e Besirekemu, oluli okumpi ne wankaaki.
18
Awo abo abasatu ne bawaguza mu ggye ly'Abafirisuuti, ne basena amazzi mu luzzi olw'e Besirekemu oluliraanye omulyango ogwa wankaaki, ne bagaletera Dawudi. Kyokka Dawudi n'atakkiriza kuganywako, wabula n'agayiwa ku ttaka ng'ekiweebwayo eri Mukama,
19
n'agamba nti Katonda wange aleme kunzikiriza kunywa mazzi gano, kubanga kiri ng'okunywa omusaayi gw'abasajja bano abawaddeyo obulamu bwabwe okugakima. Kyeyava agaana okuganywako. Ebyo bye by'obuzira abasajja abasatu abo ab'amaanyi bye baakola.
20
Abisaayi muganda wa Yowaabu ye yali omukulu w'abasatu: olumu yakwata effumu lye n'alwanyisa abasajja bisatu (300) n'abatta, n'ayatiikirira ku basatu.
21
Ku basatu abo, yali waakitiibwa n'afuuka omukulembeze waabwe, wabula n'ataba mututumufu nga bali abasatu ab'olubereberye.
22
Benaya ow'e Kabuzeeri mutabani wa Yekoyaada naye yali musajja muzira, eyakola ebikolwa eby'obuzira bwe yatta batabani ba Alyeri Omumowaabu ababiri era n'akka mu bunnya n'atta empologoma mu biro eby'omuzira.
23
Era n'atta Omumisiri, omusajja omuwanvu ennyo, eyali aweza emikono etaano obuwanvu; nga akutte mu ngalo ze effumu eryali ng'omuti ogulukirwako engoye; Benaya yagenda gy'ali ng'alina muggo gwokka, n'amusikako effumu lye n'alimufumisa n'amutta.
24
Ebyo Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola, n'ayatiikirira ku basajja abo ab'amaanyi abasatu.
25
Kale yalina ekitiibwa okusinga abo asatu (30), kyokka teyali mututumufu nga bali abasatu ab'olubereberye. Dawudi n'amufuula omukulu w'abakuumi be.
26
Abasajja abalala ab'amaanyi mu ab'omu ggye be bano: Asakeri muganda wa Yowaabu, Erukanani mutabani wa Dodo ow'e Besirekemu.
27
Sammosi Omukalooli, Kerezi Omuperoni;
28
Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa, Abiyezeeri Omwanasosi;
29
Sibbekayi Omukusasi, Irayi Omwakowa;
30
Makalayi Omunetofa; Keredi mutabani wa Bayaana Omunetofa;
31
Isayi mutabani wa Libayi ow'e Gibeya eky'Ababenyamini. Benaya Omupirasoni;
32
Kulayi ow'oku bugga bw'e Gaasi, Abyeri Omwaluba;
33
Azimavesi Omubakalumi, Eriyaba Omusaaluboni.
34
Batabani ba Kasemu Omugizoni, Yonasaani mutabani wa Sage Omukalali.
35
Akiyamu mutabani wa Sakali Omukalali, Erifali mutabani wa Uli;
36
Keferi Omumekera, Akiya Omuperoni;
37
Kezulo Omukalumeeri, Naalayi mutabani wa Ezubayi;
38
Yoweeri muganda wa Nasani, Mibukali mutabani wa Kaguli;
39
Zereki Omwamoni, Nakalayi Omubeerosi, eyakwatanga eby'okulwanyisa bya Yowaabu mutabani wa Zeruyiya.
40
Ira Omuyisuli, Galebu Omuyisuli;
41
Uliya Omukiiti, Zabadi mutabani wa Akulayi;
42
Adina mutabani wa Siza Omulewubeeni era omukulembeze w'Abalewubeeni wamu n'ekibinja eky'asatu (30).
43
Kanani mutabani wa Maaka, ne Yosafati Omumisuni;
44
Uzziya Omwasutaloosi, Sama ne Yeyeeri batabani ba Kosamu Omwaloweri;
45
Yediyayeri, ne Yoka batabani wa Simuli, ow'e Tiizi;
46
Eryeri Omumakavi, ne Yeribayi, ne Yosaviya, batabani ba Erunaamu, ne Isuma Omumowaabu;
47
Eryeri ne Obedi ne Yaasiyeri Omumezoba.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29