bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Chronicles 22
1 Chronicles 22
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 23 →
1
Awo Dawudi n'ayogera nti, “Eno ye nnyumba ya Mukama Katonda, era kino kye kyoto eky'ebiweebwayo ebyokebwa eri Isiraeri.”
2
Awo Dawudi n'alagira okukuŋŋaanya bannamawanga bonna abaali mu nsi ya Isiraeri; n'alondamu ab'okwasa amayinja n'okugakomola okuzimba ennyumba ya Katonda.
3
Dawudi n'ategeka ebyuma bingi eby'okuweesamu enninga n'enzigi ez'emizigo n'olw'ebigatta; n'ebikomo bingi ebitapimika;
4
era n'embaawo ez'emivule ezitabalika; kubanga Abazidoni n'Abatuulo baaleeta emivule mingi eri Dawudi.
5
Dawudi n'ayogera nti, “Sulemaani mutabani wange akyali mwana muto, n'ennyumba egenda okuzimbirwa Mukama egwana okuba ey'ekitiibwa ekinene ennyo, okwatiikirira n'okutenderezebwa mu nsi zonna; kyendiva ngitegekera.” Awo Dawudi n'ategeka bingi nnyo nga tannaba kufa.
6
Awo Dawudi n'ayita Sulemaani mutabani we n'amukuutira okuzimbira Mukama Katonda wa Isiraeri ennyumba.
7
Dawudi n'agamba Sulemaani mutabani we nti, “Nze, kyali mu mutima gwange okuzimbira erinnya lya Mukama Katonda wange ennyumba.
8
Naye Mukama n'antumira ekigambo kye nga agamba nti, ‘Wayiwa omusaayi mungi, n'olwana entalo nnyingi; tolizimbira linnya lyange nnyumba, kubanga wayiwa omusaayi mungi ku nsi mu maaso gange.
9
Laba, olizaalirwa omwana ow'obulenzi, aliba omusajja ow'emirembe; era ndimuwa emirembe eri abalabe be bonna enjuyi zonna; kubanga erinnya lye aliyitibwa Sulemaani, era ndiwa emirembe n'okutereera eri Isiraeri ku mirembe gye.
10
Oyo ye alizimbira erinnya lyange ennyumba; era anaabanga mwana wange, nange n'abanga kitaawe; era ndinyweza entebe ey'obwakabaka bwe mu Isiraeri emirembe gyonna.’
11
Kale, mwana wange Mukama abeere naawe; olabe omukisa, ozimbe ennyumba ya Mukama Katonda wo, nga bwe yakwogerako.
12
Kyokka Mukama akuwe amagezi n'okutegeera, nga bwakuwadde okufuga Isiraeri; okwatenga amateeka ga Mukama Katonda wo.
13
Bw'otyo bw'onoolabanga omukisa, bw'oneekuumanga okukola amateeka n'ebiragiro, Mukama bye yakuutira Musa ebya Isiraeri. Ba n'amaanyi, ogume omwoyo, totya, so totekemuka.
14
Laba nno, nze mu kufuba kwange kwonna ntegekedde ennyumba ya Mukama talanta eza zaabu kasiriivu (100,000), ne talanta eza ffeeza kakadde (1,000,000), n'ebikomo n'ebyuma ebitapimika; kubanga bingi nnyo; era ntegese n'emiti n'amayinja; kw'ebyo naawe kw'olyongereza.
15
Era awamu naawe waliwo abakozi b'emirimu bangi nnyo, abayasa amayinja n'abo abagazimbisa, n'ababazzi, n'abantu abalala abalina amagezi n'obumanyirivu okukola emirimu egya buli ngeri;
16
egya zaabu ne ffeeza, n'ebikomo n'ebyuma; kale situka okole omulimu, era Mukama abeere naawe.”
17
Era Dawudi n'alagira n'abakulu bonna aba Isiraeri okuyamba Sulemaani mutabani we, ng'ayogera nti,
18
“Mukama Katonda wammwe tali wamu nammwe? Era tabawadde mirembe enjuyi zonna? Kubanga agabudde ababeera mu nsi mu mukono gwange; era ensi ewanguddwa mu maaso ga Mukama, ne mu maaso g'abantu be.
19
Kale munyweze omutima gwammwe n'emmeeme yammwe okunoonya Mukama Katonda wammwe; era musituke muzimbe ekigwa kya Mukama Katonda, mulyoke muleete essanduuko ey'endagaano ya Mukama, n'ebintu ebitukuvu ebya Katonda mubiyingize mu nnyumba egenda okuzimbirwa erinnya lya Mukama.”
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29