bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Chronicles 2
1 Chronicles 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 3 →
1
Bano be batabani ba Isiraeri; Lewubeeni, Simyoni, Leevi, ne Yuda, Isakaali ne Zebbulooni;
2
Ddaani, Yusufu ne Benyamini, Nafutaali, Gaadi ne Aseri.
3
Batabani ba Yuda be bano: Eri, Onani ne Seera: abo bonsatule nnyaabwe yali Basusuwa Omukanani. Naye Eri omubereberye wa Yuda yali muntu mubi mu maaso ga Mukama; Mukama n'amutta.
4
Batabani ba Yuda abalala be bano: Pereezi ne Zeera. Abo yabazaala mu Tamali, mukaamwana we. Batabani ba Yuda bonna awamu baali bataano.
5
Batabani ba Pereezi ye Kezulooni ne Kamuli.
6
Batabani ba Zeera bali bataano be bano: Zimuli, Esani, Kemani, Kalukoli, ne Dala.
7
Mutabani wa Kalumi yali Akali, eyaleetera Abaisiraeri omutawaana bwe yasobya ebintu ebyali biwongeddwa Katonda.
8
Mutabani wa Esani ye Azaliya.
9
Batabani ba Kezulooni be bano: Yerameeri, Laamu ne Kerubayi.
10
Laamu n'azaala Amminadaabu; Amminadaabu n'azaala Nakusoni, omukulu w'abaana ba Yuda;
11
Nakusoni n'azaala Saluma, Saluma n'azaala Bowaazi;
12
Bowaazi n'azaala Obedi, Obedi n'azaala Yese;
13
Yese yazaala abaana ab'obulenzi musanvu: Eriyaabu ye mubereberye, Abinadaabu ye w'okubiri, Simeeya ye w'okusatu,
14
Nesaneeri ye w'okuna, Laddayi ye w'okutaano,
15
Ozemu ye w'omukaaga, Dawudi ye w'omusanvu,
16
Bannyinaabwe be bano; Zeruyiya ne Abbigayiri. Batabani ba Zeruyiya bali basatu be bano: Abisaayi, Yowaabu ne Asakeri.
17
Abbigayiri n'azaala Amasa: ne kitaawe wa Amasa yali Yeseri Omuisimaeri.
18
Kalebu mutabani wa Kezulooni yalina abakazi babiri, omu nga ye Azuba n'omulala nga ye Yeriyoosi: ne bazaala abaana bano: Yeseri, Sobabu ne Aludoni.
19
Azuba bwe yafa, Kalebu n'awasa Efulaasi, eyamuzaalira Kuuli.
20
Kuuli n'azaala Uli, Uli n'azaala Bezaleeri.
21
Kezulooni bwe yaweza emyaka nkaaga (60) n'awasa muwala wa Makiri, mwannyina Gireyaadi; n'amuzaalira Segubu.
22
Segubu n'azaala Yayiri, Yayiri yali nnannyini bibuga abiri mu bisatu (23) mu nsi ya Gireyaadi.
23
Obwakabaka bw'e Gesuli ne Alamu ne bunyagako ebibuga bya Yayiri, ne Kenasi n'ebyalo ebikyetoolodde, byonna awamu ebibuga nkaaga (60). Abo bonna abaali eyo be basibuka mu Makiri, kitaawe wa Gireyaadi.
24
Awo Kezulooni ng'amaze okufiira mu Kalebu-efulaasa, Abiya nnamwandu we n'amuzaalira Asukuli kitaawe wa Tekowa.
25
Batabani ba Yerameeri, omubereberye wa Kezulooni be bano; Laamu omubereberye, Buna, Oleni, Ozemu ne Akiya.
26
Era Yerameeri yalina n'omukazi ow'okubiri erinnya lye Atala; oyo ye yazaala Onamu.
27
Batabani ba Laamu omubereberye wa Yerameeri be bano: Maazi, Yamini ne Ekeri.
28
Batabani ba Onamu ye Sammayi ne Yada: ate batabani ba Sammayi ye Nadabu ne Abisuli.
29
Muka Abisuli erinnya lye Abikayiri; yamuzaalira Abani, ne Molidi.
30
Batabani ba Nadabu ye Seredi ne Appayimu: kyokka Seredi n'afa nga tazadde mwana.
31
Mutabani wa Appayimu yali Isi. Mutabani wa Isi yali Sesani. Ne mutabani wa Sesani yali Alayi.
32
Batabani ba Yada, muganda wa Sammayi be bano: Yeseri ne Yonasaani: kyokka Yeseri yafa nga tazadde mwana.
33
Batabani ba Yonasaani be bano: Peresi ne Zaza. Abo be basibuka mu Yerameeri.
34
Sesani teyazaala baana ba bulenzi wabula ba buwala bokka. Sesani oyo yalina omuddu Omumisiri, erinnya lye Yala.
35
Sesani n'addira muwala we n'amuwa Yala omuddu we amuwase, omuwala oyo n'amuzaalira Attayi.
36
Attayi n'azaala Nasani, Nasani n'azaala Zabadi;
37
Zabadi n'azaala Efulali, Efulali n'azaala Obedi;
38
Obedi n'azaala Yeeku, Yeeku n'azaala Azaliya;
39
Azaliya n'azaala Kerezi, Kerezi n'azaala Ereyaasa;
40
Ereyaasa n'azaala Sisumaayi, Sisumaayi n'azaala Sallumu;
41
Sallumu n'azaala Yekamiya, Yekamiya n'azaala Erisaama.
42
Batabani ba Kalebu muganda wa Yerameeri be bano: Mesa omubereberye we, eyazaala Zifu, Zifu n'azaala Malesa, Malesa n'azaala Kebbulooni.
43
Batabani ba Kebbulooni be bano: Koola, Tappuwa, Lekemu ne Seema.
44
Seema n'azaala Lakamu, kitaawe wa Yolukeyaamu; Lekemu n'azaala Sammayi.
45
Mutabani wa Sammayi yali Mawoni; era Mawoni yali kitaawe wa Besuzuli.
46
Kalebu yalina omuzaana erinnya lye Efa eyamuzalira; Kalani, Moza ne Gazezi.
47
Batabani ba Yadayi be bano: Legemu, Yosamu, Gesani, Pereti, Efa ne Saafu.
48
Maaka omuzaana wa Kalebu n'azaala Seberi ne Tirukaana.
49
Era n'azaala ne Saafu kitaawe wa Madumanna, Seva kitaawe wa Makubena ne Gibeya; ne muwala wa Kalebu yali Akusa.
50
Bano era be batabani ba Kalebu: Kuuli ye mubereberye we mu mukazi we Efulaasa. Kuuli yazaala Sobali kitaawe wa Kiriyasuyalimu.
51
Saluma kitaawe wa Besirekemu, Kalefu kitaawe wa Besugaderi.
52
Sobali kitaawe wa Kiriyasuyalimu ye jjajja wa Kalowe, asibukamu ekimu eky'okubiri eky'Abamenukosi.
53
Ebika by'Abakiriyasuyalimu byali: Abayisuli, n'Abapusi, n'Abasumasi, n'Abamisulayi. Mu abo mwe mwava Abazolasi, n'Abayesutawooli.
54
Batabani ba Saluma be bano: Besirekemu, n'Abanetofa, Atulosubesuyowabu, n'ekitundu ky'Abamanakasi, n'Abazooli.
55
Ebika by'abawandiisi abaabeeranga e Yabezi; Abatirasi, Abasimeyasi, Abasukasi. Abo be Bakeeni abaava ku Kammasi kitaawe w'ekika kya Lekabu.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29