bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Chronicles 16
1 Chronicles 16
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 17 →
1
Ne bayingiza essanduuko ya Katonda, ne bagisimba wakati mu weema Dawudi gye yagikubira: ne baweerayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe mu maaso ga Katonda.
2
Awo Dawudi bwe yamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe, n'asabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama.
3
N'agabira buli muntu mu Isiraeri, abasajja n'abakazi omugabo; omugaati, ennyama n'ekitole eky'ezabbibu ekikalu.
4
N'assaawo abamu ku Baleevi okusabanga, okwebazanga n'okutenderezanga Mukama ku lwa Isiraeri.
5
Asafu ye yalondebwa okuba omukulu, ng'addirirwa Zekkaliya, Yeyeeri, Semiramoosi, Yekyeri, Mattisiya, Eriyaabu, Benaya, Obededomu ne Yeyeeri, be baali abakubi b'entongooli n'ennanga. Asafu ye yakubanga ebitaasa ebivuga ennyo.
6
Bakabona babiri Benaya ne Yakaziyeeri be bafuuwanga bulijjo amakkondeere mu maaso g'essanduuko ey'endagaano ya Katonda.
7
Ku lunaku olwo Dawudi kwe yateerawo Asafu ne baganda be, n'abalagira okuyimbiranga Mukama okumwebaza.
8
Mwebaze Mukama, Mukoowoole erinnya lye; Mumanyise ebikolwa bye mu mawanga.
9
Mumuyimbire, muyimbe okumutendereza; Mwogere ku by'amagero bye byonna.
10
Mwenyumirize olw'erinnya lye ettukuvu; Omutima gw'abo abanoonya Mukama gusanyuke.
11
Munoonye Mukama n'amaanyi ge; Munoonye amaaso ge ennaku zonna.
12
Mujjukire eby'amagero bye yakola; Eby'ekitalo bye, n'emisango; gye yasala,
13
Mmwe ezzadde lya Isiraeri omuddu we, Mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.
14
Oyo ye Mukama Katonda waffe: Ensala y'emisango gye ebuna ensi zonna.
15
Mujjukire endagaano ye ennaku zonna. Ekigambo kye yalagira emirembe olukumi (1,000):
16
(Endagaano) gye yalagaana ne Ibulayimu, N'ekirayiro kye yalayirira Isaaka;
17
N'ekyo n'akinyweza eri Yakobo okuba etteeka, Eri Isiraeri okuba endagaano eteriggwaawo:
18
Ng'ayogera nti Ggwe ndiwa ensi ya Kanani, Omugabo ogw'obusika bwammwe:
19
Mwali batono nga temwala; Era mwali batambuze mu nsi eyo;
20
nga mutambula okuva mu nsi emu okudda mu ndala, Okuva mu bwakabaka obumu okudda mu bulala.
21
Teyakkiriza muntu kubabonyaabonya; yanenya bakabaka ku lwabwe;
22
Ng'abagamba nti Temukomanga ku abo be nnafukako amafuta, So temukolanga bubi bannabbi bange.
23
Muyimbire Mukama, mmwe ensi zonna; Mwolese obulokozi bwe buli lunaku buli lunaku.
24
Mubuulire ekitiibwa kye mu mawanga, Eby'amagero bye mu bantu bonna.
25
Kubanga Mukama mukulu, era agwana okutenderezebwa ennyo: Era agwana okutiibwa okusinga bakatonda bonna.
26
Kubanga bakatonda bonna ab'amawanga bye bifaananyi: Naye Mukama ye yakola eggulu.
27
Yeetooloddwa ekitiibwa n'obukulu, obuyinza n'essanyu biri awo wali.
28
Muwe Mukama, mmwe ebika eby'amawanga, Muwe Mukama ekitiibwa n'amaanyi.
29
Muwe Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye: Muleete ekiweebwayo, mujje mu maaso ge: Musinze Mukama mu bulungi obw'obutukuvu.
30
Mukankane mu maaso ge, mmwe ensi zonna: Era n'ensi enywera n'okuyinza n'eteyinza kusagaasagana.
31
Eggulu lisanyuke, era n'ensi ejaguze; Boogere mu mawanga nti Mukama afuga.
32
Ennyanja ewuume, n'okujjula kwayo; Ennimiro ejaguze, n'ebigirimu byonna;
33
Emiti egy'omu kibira ne giryoka giyimba olw'essanyu mu maaso ga Mukama, Kubanga ajja okusalira ensi emisango.
34
Kale mwebaze Mukama; kubanga mulungi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
35
Mwogere nti Otulokole, ai Katonda ow'obulokozi bwaffe, Otukuŋŋaanye otuwonye mu mawanga, Okwebaza erinnya lyo ettukuvu, N'okujaguliza ettendo lyo.
36
Yeebazibwe Mukama, Katonda wa Isiraeri, Okuva mu mirembe gyonna okutuuka mu mirembe gyonna. Awo abantu bonna ne baddamu nti, Amiina, ne batendereza Mukama.
37
Kabaka Dawudi n'alekawo Asafu ne baganda be, bakolanga omulimu gw'obuweereza mu maaso g'essanduuko y'endagaano ya Mukama, nga bwe kyabanga kyetaagisa buli lunaku.
38
N'alekawo ne Obededomu mutabani wa Yedusuni ne Kosa n'Abaleevi bannaabwe nkaaga mu munaana (68) okuba abaggazi.
39
N'ateekawo Zadoki ne bakabona banne mu weema ya Mukama e Gibyoni mu kifo ekigulumivu eky'e Gibyoni.
40
okuweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto eky'ebiweebwayo ebyokebwa obutayosa enkya n'akawungeezi, nga byonna bwe biri ebyawandiikibwa mu mateeka ga Mukama, ge yalagira Isiraeri;
41
awamu n'abo n'ateekawo ne Kemani ne Yedusuni, n'abalala abaalondebwa, abaayawuddwa amannya gaabwe, okwebazanga Mukama olw'ekisa kye, kubanga kibeerawo emirembe gyonna;
42
Kemani ne Yedusuni era be baakuumanga amakkondeere n'ebitaasa n'ebivuga ebirala, n'abalala bonna bye baakubanga okuyimbira Katonda. Ab'ennyumba ya Yedusuni be baateekebwawo okuba abaggazi.
43
Abantu bonna ne bagenda buli muntu ewuwe: Dawudi naye n'addayo okusabira ennyumba ye omukisa.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29